Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri Gye Twambala Omuntu Omuggya era ne Tumukuuma

Engeri Gye Twambala Omuntu Omuggya era ne Tumukuuma

“Mwambale omuntu omuggya.”​—BAK. 3:10.

ENNYIMBA: 126, 28

1, 2. (a) Lwaki ffenna tusobola okwambala omuntu omuggya? (b) Bintu ki ebizingirwa mu kwambala omuntu omuggya ebyogerwako mu Abakkolosaayi 3:10-14?

EBIGAMBO “omuntu omuggya” birabika emirundi ebiri mu Enkyusa ey’Ensi Empya. (Bef. 4:24; Bak. 3:10) Omuntu omuggya ze ngeri ezituukagana n’ebyo Katonda by’ayagala. Ffenna tusobola okwambala omuntu omuggya. Lwaki? Kubanga Katonda yatonda abantu mu kifaananyi kye ne kiba nti basobola okwoleka engeri ze.​—Lub. 1:26, 27; Bef. 5:1.

2 Kyo kituufu nti olw’okuba twasikira ekibi okuva ku Adamu ne Kaawa, oluusi tufuna okwegomba okubi. Ate era abantu be tubaamu nabo bayinza okutuleetera okwoleka engeri ezitali nnungi. Naye Yakuwa asobola okutuyamba okwoleka engeri ze. Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebintu ebitali bimu ebizingirwa mu kwambala omuntu omuggya Pawulo bye yayogerako. (Soma Abakkolosaayi 3: 10-14.) Era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okwoleka omuntu omuggya mu buweereza bwaffe.

“MMWENNA MULI OMUNTU OMU”

3. Ekimu ku bintu ebizingirwa mu kwambala omuntu omuggya kye kiruwa?

3 Oluvannyuma lw’okutukubiriza okwambala omuntu omuggya, Pawulo yakiraga nti obutasosola kye kimu ku bintu ebizingirwa mu kwambala omuntu omuggya. Yagamba nti: “Tewakyaliwo Muyonaani wadde Omuyudaaya, okukomolebwa oba obutakomolebwa, omugwira, Omusukusi, omuddu, oba ow’eddembe.” * Lwaki mu kibiina temulina kubaamu kusosola mu bantu olwa langi zaabwe, amawanga gaabwe, oba olwa ssente n’obuyigirize bwe balina? Ekyo kiri kityo kubanga abagoberezi ba Kristo ab’amazima ‘bonna bali omuntu omu.’​—Bak. 3:11; Bag. 3:28.

4. (a) Abaweereza ba Yakuwa balina kuyisa batya abalala? (b) Kiki ekiyinza okutaataaganya obumu bw’ekibiina?

4 Abo abambadde omuntu omuggya bassa ekitiibwa mu bakkiriza bannaabwe ne mu bantu abalala, ka babe ba langi ki oba ka babe nga baakulira mu mbeera ki. (Bar. 2:11) Naye kino si kyangu mu bitundu ebimu eby’ensi. Ng’ekyokulabirako, edda mu South Africa, ab’obuyinza baali bassaawo etteeka ng’abantu aba langi emu balina kubeera mu kitundu kyabwe bokka. Abantu abasinga obungi leero mu South Africa, nga mwe muli n’Abajulirwa ba Yakuwa, bakyabeera mu bitundu ng’ebyo. N’olwekyo, okusobola okuyamba ab’oluganda mu nsi eyo ‘okugaziwa,’ kwe kugamba, okwongera okumanyagana, mu Okitobba 2013, Akakiiko Akafuzi kalina enteekateeka ey’enjawulo gye kassaawo. (2 Kol. 6:13) Biki ebyali bizingirwa mu nteekateeka eyo?

5, 6. (a) Okusobola okwongera okunyweza obumu mu bantu ba Katonda abali mu South Africa, nteekateeka ki eyakolebwa? (Laba ekifaananyi ku lupapula 22.) (b) Biki ebivuddemu?

5 Enteekateeka yakolebwa ng’ebibiina bibiri bibiri ebyogera ennimi ez’enjawulo oba eby’abantu aba langi ez’enjawulo bibeerako wamu ku wiikendi ezimu. Ab’oluganda ne bannyinaffe mu bibiina byombi baakolerangako wamu mu mulimu gw’okubuulira, baafuniranga wamu enkuŋŋaana, era baasembezeganyanga mu maka gaabwe. Ebibiina bingi byenyigira mu nteekateeka eyo, era ofiisi y’ettabi yafuna lipoota nnyingi ennungi ezaalaga nti bangi baasiima nnyo enteekateeka eyo, nga mwe muli n’abo abatali Bajulirwa ba Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, omukulu w’eddiini omu yagamba nti: “Siri Mujulirwa wa Yakuwa, naye nkirabye nti mukola omulimu gw’okubuulira mu ngeri entegeke obulungi, era temusosolagana mu langi.” Enteekateeka eyo yakwata etya ku Bajulirwa ba Yakuwa?

6 Mu kusooka, mwannyinaffe omu ayitibwa Noma ow’omu kibiina ekyogera Oluzosa yali atya okukyaza mu maka ge ab’oluganda abazungu abaali mu kibiina ky’Olungereza, kubanga yali mwavu. Naye oluvannyuma lw’okubuulirako awamu n’ab’oluganda abazungu era n’okukyalako mu maka gaabwe, Noma yagamba nti: “Mbadde simanyi nti nabo bantu ba bulijjo nga ffe!” Ekiseera bwe kyatuuka ng’ekibiina eky’Oluzosa kye kirina okusembeza ab’oluganda ab’omu kibiina eky’Olungereza, Noma yateekateeka ekijjulo n’ayita abamu ku b’oluganda okuva mu kibiina ekyo. Omu ku abo abajja mu maka ge yali wa luganda muzungu ate nga mukadde mu kibiina. Noma yagamba nti, “Nneewuunya nnyo okulaba nti ow’oluganda oyo yakkiriza okutuula ku kakuleeti akampi.” Enteekateeka eyo esobozesezza ab’oluganda ne bannyinaffe bangi okufuna emikwano emirala, era bamalirivu okweyongera okumanya bakkiriza bannaabwe ab’omu bitundu ebirala.

‘OBUSAASIZI N’EKISA’

7. Lwaki twetaaga okuba abasaasizi?

7 Ng’ensi ya Sitaani ekyaliwo, tujja kweyongera okufuna ebizibu. Twolekagana n’ebizibu gamba ng’ebbula ly’emirimu, obulwadde obw’amaanyi, okuyigganyizibwa, obutyabaga, okufiirwa ebintu byaffe olw’obumenyi bw’amateeka obuliwo, n’ebizibu ebirala. Okusobola okuzziŋŋanamu amaanyi, tulina okuba abasaasizi. Okusaasira abalala kituleetera okubalaga ekisa. (Bef. 4:32) Okwoleka engeri ezo kitusobozesa okukoppa Katonda waffe n’okubudaabuda abalala.​—2 Kol. 1:3, 4.

8. Bwe tulaga bonna mu kibiina obusaasizi n’ekisa birungi ki ebiyinza okuvaamu? Waayo ekyokulabirako.

8 Tuyinza tutya okulaga abalala ekisa, naddala abagwira oba abo abali mu mbeera ezitali nnyangu? Tusaanidde okufuula abantu ng’abo mikwano gyaffe era tubayambe okukiraba nti ba mugaso mu kibiina. (1 Kol. 12:22, 25) Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Dannykarl eyava mu Philippines n’agenda okubeera mu Japan. Ku mulimu gye yali akola yali tayisibwa bulungi nga bakozi banne abalala Abajapaani. Naye lumu yagendako mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Dannykarl agamba nti: “Kyenkana bonna abaali mu lukuŋŋaana olwo baali Bajapaani, naye bannyaniriza n’essanyu nga balinga abaali bamaze ebbanga nga bammanyi.” Ab’oluganda beeyongera okumulaga ekisa, era ekyo kyamuleetera okukulaakulana mu by’omwoyo. Yabatizibwa era kati aweereza ng’omukadde mu kibiina. Abakadde abalala mu kibiina Dannykarl mw’ali basanyufu nnyo okuba nti Dannykarl ne mukyala we Jennifer bali mu kibiina kyabwe. Bagamba nti: “Dannykarl ne mukyala we beerekerezza bingi okusobola okuweereza nga bapayoniya era basizzaawo ekyokulabirako ekirungi mu kusooka okunoonya Obwakabaka.”​—Luk. 12:31.

9, 10. Waayo ebyokulabirako ebiraga ebirungi ebiva mu kulaga abantu be tubuulira obusaasizi.

9 Okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka kituwa akakisa ‘okukolera bonna ebirungi.’ (Bag. 6:10) Abajulirwa ba Yakuwa bangi balaga abagwira obusaasizi nga bafuba okuyiga ennimi endala. (1 Kol. 9:23) Ekyo kivuddemu ebirungi bingi. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe Tiffany abeera mu Australia yayiga Oluswayiri asobole okuyambako mu kibiina ky’Oluswayiri ekiri mu kibuga Brisbane. Wadde nga Tiffany tekyamubeerera kyangu kuyiga Luswayiri, afunye emikisa mingi. Agamba nti: “Bw’oba oyagala okufuna essanyu eritagambika mu buweereza bwo, gezaako okuweereza mu kibiina ekyogera olulimi olugwira. Obanga agenze mu kitundu ekirala kyokka nga tovudde w’obeera. Ofuna akakisa okulaba obulungi oluganda lwaffe olw’ensi yonna n’obumu bwe tulina.”

Kiki ekireetera Abakristaayo okuyamba abagwira? (Laba akatundu 10)

10 Ate era lowooza ku maka agamu mu Japan. Omu ku baana ab’omu maka ago ayitibwa Sakiko agamba nti: “Mu myaka gya 1990, bwe twabanga tubuulira, twateranga okusanga abantu enzaalwa za Brazil. Bwe twabasomeranga ebyawandiikibwa gamba nga Okubikkulirwa 21:3, 4 oba Zabbuli 37:10, 11, 29 nga tukozesa Bayibuli ey’Olupotugo, bassangayo nnyo omwoyo era oluusi baakulukusanga n’amaziga.” Naye ab’omu maka ago balina n’ekintu ekirala kye baakola. Sakiko agamba nti: “Bwe twalaba ng’abantu abo balina ennyonta ey’eby’omwoyo, ffenna ng’amaka twatandika okuyiga Olupotugo.” Oluvannyuma ab’omu maka ago baayamba mu kutandikawo ekibiina ky’Olupotugo. Emyaka bwe gizze giyitawo, ab’omu maka ago bayambye abagwira bangi okufuuka abaweereza ba Yakuwa. Sakiko agamba nti: “Tekyali kyangu kuyiga Lupotugo, naye emikisa gye tufunye mingi nnyo. Twebaza nnyo Yakuwa.”​—Soma Ebikolwa 10:34, 35.

‘MWAMBALE OBWETOOWAZE’

11, 12. (a) Kiki ekyanditukubirizza okwambala omuntu omuggya, era lwaki? (b) Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli beetoowaze?

11 Ekintu ekyanditukubirizza okwambala omuntu omuggya kwe kuweesa Yakuwa ekitiibwa, so si okwagala okutenderezebwa abantu. Kijjukire nti n’ekitonde eky’omwoyo ekyali kituukiridde kyayonoona olw’okuba kyafuna amalala. (Geraageranya ne Ezeekyeri 28:17.) Bwe kiba nti ekitonde ekyo ekyali kituukiridde kyafuna amalala, ate olwo ffe abantu abatatuukiridde! Naye wadde nga tetutuukiridde, tusobola okwambala obwetoowaze. Kiki ekinaatuyamba okwambala obwetoowaze?

12 Okusobola okusigala nga tuli beetoowaze, tulina okufunangayo akadde buli lunaku okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma mu Kigambo kya Katonda. (Ma. 17:18-20) Kikulu okufumiitiriza ku ebyo Yesu bye yayigiriza ne ku kyokulabirako ekirungi kye yassaawo mu kwoleka obwetoowaze. (Mat. 20:28) Yesu yatuuka n’okunaaza ebigere by’abatume be. (Yok. 13:12-17) Era tulina n’okusabanga Yakuwa atuwe omwoyo omutukuvu gutuyambe okwewala okwetwala nti tuli ba waggulu ku balala.​—Bag. 6:3, 4; Baf. 2:3.

13. Birungi ki ebiva mu kwoleka obwetoowaze?

13 Soma Engero 22:4. Ffenna abaweereza ba Yakuwa tulina okuba abeetoowaze, era bwe tuba abeetoowaze kivaamu ebirungi bingi. Bwe tuba abeetoowaze, kituyamba okuleetawo emirembe n’obumu mu kibiina. Ate era bwe twoleka obwetoowaze, Yakuwa atulaga ekisa kye eky’ensusso. Omutume Peetero yagamba nti: “Mmwenna mwambale obuwombeefu nga mukolagana n’abalala, kubanga Katonda alwanyisa ab’amalala naye abawombeefu abalaga ekisa eky’ensusso.”​—1 Peet. 5:5.

“MWAMBALE . . . OBUKKAKKAMU N’OBUGUMIIKIRIZA”

14. Ani assizzaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwoleka obukkakkamu n’obugumiikiriza?

14 Leero abantu abasinga obungi balowooza nti omuntu omukkakkamu oba omugumiikiriza aba munafu. Naye ekyo si kituufu n’akamu! Yakuwa ye nsibuko y’obukkakkamu n’obugumiikiriza, naye y’asingayo okuba ow’amaanyi. Yakuwa ataddewo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwoleka obukkakkamu n’obugumiikiriza. (2 Peet. 3:9) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Yakuwa gye yayolekamu obugumiikiriza ng’akolagana ne Ibulayimu ne Lutti. (Lub. 18:22-33; 19:18-21) Ate era Yakuwa yamala emyaka egisukka mu 1,500 ng’agumiikiriza eggwanga lya Isirayiri eryali ejjeemu.​—Ezk. 33:11.

15. Yesu yassaawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obukkakkamu n’obugumiikiriza?

15 Yesu naye mukkakkamu. (Mat. 11:29) Yesu yagumiikiriza nnyo obunafu bw’abagoberezi be. Mu kiseera kyonna kye yamala ku nsi ng’aweereza, abalabe be baamwogereranga bubi. Wadde kyali kityo, yasigala nga mukkakkamu era nga mugumiikiriza okutuusiza ddala lwe yattibwa. Bwe yali ku muti ng’ali mu bulumi obw’ekitalo, Yesu yasaba Kitaawe asonyiwe abaamutta kubanga baali “tebamanyi kye bakola.” (Luk. 23:34) Nga Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo mu kwoleka obukkakkamu n’obugumiikiriza!​—Soma 1 Peetero 2:21-23.

16. Tuyinza tutya okwoleka obukkakkamu n’obugumiikiriza?

16 Tuyinza tutya okwoleka obukkakkamu n’obugumiikiriza? Pawulo yayogera ku ngeri emu gye tuyinza okukikolamu bwe yagamba nti: “Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne. Era nga Yakuwa bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo.” (Bak. 3:13) Twetaaga okuba abakkakkamu era abagumiikiriza okusobola okugondera ekiragiro ekyo. Bwe tusonyiwa abalala, kituyamba okukuuma obumu bw’ekibiina.

17. Lwaki kikulu okwoleka obukkakkamu n’obugumiikiriza?

17 Buli Mukristaayo ateekeddwa okwambala obukkakkamu n’obugumiikiriza. Ekyo kiri kityo kubanga bwe tuba ab’okulokolebwa tulina okwoleka engeri ezo. (Mat. 5:5; Yak. 1:21) N’ekisinga obukulu, bwe twoleka engeri ezo, tuweesa Yakuwa ekitiibwa era kisobola n’okuleetera abalala okuzooleka.​—Bag. 6:1; 2 Tim. 2:24, 25.

“MWAMBALE OKWAGALA”

18. Kakwate ki akaliwo wakati w’okwagala n’obutaba basosoze?

18 Engeri zonna ze tulabye mu kitundu kino zirina akakwate n’okwagala. Ng’ekyokulabirako, omuyigirizwa Yakobo yanenya bakkiriza banne abamu kubanga baafangayo nnyo ku bagagga okusinga abaavu. Yakiraga nti ekyo kyali kikontana n’etteeka lya Kabaka ekkulu erigamba nti: “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.” Yagattako nti: “Bwe mweyongera okusosolagana, muba mwonoona.” (Yak. 2:8, 9) Bwe tuba n’okwagala tetujja kusosola bantu olw’obuyigirize bwabwe, langi yaabwe, oba olwa ssente ze balina. Obutali busosoze bwaffe tebulina kuba bwa kungulu. Bulina kuviira ddala ku mutima.

19. Lwaki kikulu nnyo okwambala okwagala?

19 Era okwagala “kugumiikiriza era kwa kisa,” ate era “tekwegulumiza.” (1 Kol. 13:4) Omuntu okusobola okweyongera okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka alina okuba omugumiikiriza, ow’ekisa, era omwetoowaze. (Mat. 28:19) Engeri ezo era zituyamba okukolagana obulungi ne bakkiriza bannaffe bonna mu kibiina. Birungi ki ebiva mu kwoleka okwagala ng’okwo? Kiviirako ebibiina okuba obumu, ne kiweesa Yakuwa ekitiibwa era ne kireetera abalala okukkiriza amazima. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Pawulo bwe yali akomekkereza okwogera ku bintu ebizingirwa mu kwambala omuntu omuggya yagamba nti: “Okugatta ku ebyo byonna, mwambale okwagala kubanga kwe kunywereza ddala obumu.”​—Bak. 3:14.

‘MWEYONGERE OKUFUULIBWA ABAGGYA’

20. (a) Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza, era lwaki? (b) Kiki kye twesunga?

20 Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti, ‘Nkyukakyuka ki endala ze nneetaaga okukola okusobola okweyambulirako ddala omuntu ow’edda?’ Tulina okunyiikira okusaba Katonda atuyambe era tulina okufuba ennyo okweggyamu endowooza embi n’okulekayo emize emibi ebiyinza okutulemesa okusikira Obwakabaka bwa Katonda. (Bag. 5:19-21) Era tulina okwebuuza, ‘Nneeyongera okufuulibwa omuggya mu ndowooza yange?’ (Bef. 4:23, 24) Ffenna Abakristaayo tulina okweyongera okwambala omuntu omuggya n’okumukuuma okutuusa lwe tulifuuka abantu abatuukiridde. Lowooza ku bulamu bwe buliba nga buli omu ku nsi ayambadde omuntu omuggya era ng’ayoleka engeri za Yakuwa mu ngeri etuukiridde!

^ lup. 3 Mu biseera by’edda, Abasukusi baali banyoomebwa nga batwalibwa ng’abantu abatali bagunjufu.