Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 17

Yakuwa Akutwala ng’Oli wa Muwendo!

Yakuwa Akutwala ng’Oli wa Muwendo!

“Yakuwa asanyukira abantu be.”​—ZAB. 149:4.

OLUYIMBA 108 Okwagala kwa Katonda Okutajjulukuka

OMULAMWA *

Kitaffe ow’omu ggulu “asanyukira” buli omu ku ffe (Laba akatundu 1)

1. Kiki Yakuwa ky’alaba mu bantu be?

YAKUWA KATONDA “asanyukira abantu be.” (Zab. 149:4) Ekyo nga kituzzaamu nnyo amaanyi! Yakuwa alaba engeri ennungi ze tulina, amanyi ekyo kye tusobola okuba, era atuyamba okufuuka mikwano gye. Bwe tusigala nga tuli beesigwa gy’ali, ajja kweyongera okuba mukwano gwaffe emirembe gyonna!​—Yok. 6:44.

2. Lwaki abamu kibazibuwalira okukkiriza nti Yakuwa abaagala?

2 Abamu bayinza okugamba nti, ‘Nkimanyi nti Yakuwa ayagala abantu be okutwalira awamu, naye nnyinza ntya okuba omukakafu nti Yakuwa anjagala nga nze kinnoomu?’ Kiki ekiyinza okuleetera abamu okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo? Oksana, * eyayita mu mbeera enzibu ennyo ng’akyali muto agamba nti: “Nnasanyuka nnyo bwe nnabatizibwa era ne ntandika okuweereza nga payoniya. Naye nga wayise emyaka 15 nnaddamu okujjukira embeera enzibu gye nnayitamu nga nkyali muto. Nnatandika okulowooza nti Yakuwa yali takyansiima era nti yali tasobola kunjagala.” Mwannyinaffe Yua aweereza nga payoniya era naye eyayita mu mbeera enzibu ng’akyali muto agamba nti: “Nneewaayo eri Yakuwa kubanga nnali njagala okumusanyusa. Naye muli nnali mpulira nti tasobola n’akamu kunjagala.”

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Okufaananako bannyinaffe ababiri aboogeddwako waggulu, naawe oyagala Yakuwa naye oyinza okuba ng’obuusabuusa obanga ddala ye akwagala. Lwaki osaanidde okuba omukakafu nti ddala Yakuwa akufaako? Era kiki ekiyinza okukuyamba bwe weesanga ng’olowooza nti Yakuwa takwagala? Ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.

KYA KABI OKUBUUSABUUSA NTI YAKUWA AKWAGALA

4. Lwaki kya kabi nnyo okubuusabuusa nti Yakuwa atwagala?

4 Okwagala kintu kikulu nnyo. Bwe tuba abakakafu nti Yakuwa atwagala era nti atufaako, tujja kuba bamalirivu okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna wadde nga twolekagana n’embeera enzibu. Naye bwe tuba nga tubuusabuusa nti Katonda atufaako, ‘amaanyi gaffe gajja kuba matono.’ (Nge. 24:10) Era bwe tuggwaamu amaanyi nga tulowooza nti Katonda tatwagala, kiba kizibu okulwanyisa Sitaani.​—Bef. 6:16.

5. Kiki ekituuse ku bamu olw’okubuusabuusa nti Katonda abaagala?

5 Abamu ku Bakristaayo abeesigwa ab’omu kiseera kyaffe banafuye mu by’omwoyo olw’okulowooza nti Yakuwa tabaagala. Ow’oluganda James aweereza ng’omukadde mu kibiina agamba nti: “Wadde nga nnali mpeerereza ku Beseri nga nnyumirwa okuweerereza mu kibiina ekyogera olulimi olugwira, nnali mbuusabuusa obanga ddala Yakuwa yali asiima obuweereza bwange. Nnatuuka n’okubuusabuusa obanga ddala Yakuwa yali awuliriza essaala zange.” Mwannyinaffe Eva, naye ali mu buweereza obw’ekiseera kyonna agamba nti: “Nnalaba nti kya kabi okubuusabuusa nti Yakuwa atwagala, kubanga kikosa byonna bye tukola mu buweereza bwaffe. Kikendeeza okwagala kwe tulina eri ebintu eby’omwoyo, era kitumalako essanyu.” Michael, aweereza nga payoniya owa bulijjo era nga mukadde mu kibiina agamba nti: “Bw’oba tokikkiriza nti Katonda akufaako, oyinza okuwaba mpolampola n’omuvaako.”

6. Kiki kye tusaanidde okukola singa tutandika okubuusabuusa nti Katonda atwagala?

6 Ebyokulabirako ebyo bye tulabye biraga nti bwe tubuusabuusa nti Katonda atwagala, kitukosa nnyo mu by’omwoyo. Naye kiki kye tusaanidde okukola singa tutandika okubuusabuusa nti Katonda atwagala? Ebirowoozo ng’ebyo tusaanidde okubyeggyamu amangu! Ate era tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe ‘emirembe egisingira ewala okutegeera kwonna gikuume emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe.’ (Baf. 4:6, 7; Zab. 139:23) Ate era kijjukire nti toli wekka. Baganda baffe bangi balwanagana n’endowooza ng’ezo ezitali nnungi. N’abaweereza ba Yakuwa ab’edda baafunanga enneewulira ng’ezo. Lowooza ku ekyo kye tuyigira ku mutume Pawulo.

KYE TUYIGIRA KU PAWULO

7. Bizibu ki Pawulo bye yayolekagana nabyo?

7 Ebiseera ebimu owulira ng’obuvunaanyizibwa bukuyitiriddeko era nti tosobola kutuukiriza buli kimu ky’olina okukola? Bwe kiba kityo, osobola okutegeera obulungi embeera Pawulo gye yalimu. Yali yeeraliikirira, si lwa kibiina kimu kyokka, naye “olw’ebibiina byonna.” (2 Kol. 11:23-28) Olina obulwadde obukumazeeko essanyu? Pawulo yalina ekizibu ekyali ‘ng’eriggwa mu mubiri.’ Buyinza okuba nga bwali bulwadde era nga yali ayagala bumuveeko. (2 Kol. 12:7-10) Oluusi owulira ng’oweddemu amaanyi olw’obutali butuukirivu bwo? Ebiseera ebimu ne Pawulo yawuliranga bw’atyo. Yagamba nti yali “muntu munaku,” kubanga buli kiseera yalina okulwanyisa obutali butuukirivu bwe.​—Bar. 7:21-24.

8. Kiki ekyayamba Pawulo okwaŋŋanga ebizibu bye yalina?

8 Wadde nga Pawulo yayolekagana n’ebizibu ebitali bimu, yeeyongera okuweereza Yakuwa. Kiki ekyamuyamba? Wadde nga yali ekimanyi nti yalina obunafu, yalina okukkiriza okw’amaanyi mu kinunulo. Yali amanyi bulungi ebigambo bya Yesu ebigamba nti, ‘buli muntu yenna akkiririza mu Yesu ajja kufuna obulamu obutaggwaawo.’ (Yok. 3:16; Bar. 6:23) Pawulo y’omu ku abo abaakiraga nti bakkiririza mu kinunulo. Yali mukakafu nti Yakuwa mwetegefu okusonyiwa n’abo ababa bakoze ebibi eby’amaanyi kasita beenenya.​—Zab. 86:5.

9. Kiki kye tuyigira ku bigambo bya Pawulo ebiri mu Abaggalatiya 2:20?

9 Pawulo yali mukakafu nti Katonda amwagala nnyo, kubanga yatuma Yesu okumufiirira. (Soma Abaggalatiya 2:20.) Weetegereze ebigambo ebizzaamu amaanyi ebiri ku nkomerero y’olunyiriri olwo. Pawulo yagamba nti: ‘Omwana wa Katonda yanjagala ne yeewaayo ku lwange.’ Pawulo teyalowooza nti yali mubi nnyo ne kiba nti Katonda yali tasobola kumwagala. Teyagamba nti, ‘Ndaba ensonga lwaki Yakuwa asobola akwagala baganda bange, naye nze tasobola kunjagala.’ Pawulo yagamba Abaruumi nti: “Bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo yatufiirira.” (Bar. 5:8) Tewali kisobola kulemesa Katonda kutwagala!

10. Kiki kye tuyiga mu ebyo ebiri mu Abaruumi 8:38, 39?

10 Soma Abaruumi 8:38, 39. Pawulo yali akimanyi bulungi nti okwagala kwa Katonda kwa maanyi nnyo. Yagamba nti tewali “kiyinza kutwawukanya ku kwagala kwa Katonda.” Pawulo yali amanyi bulungi engeri Yakuwa gye yayolekamu obugumiikiriza ng’akolagana n’eggwanga lya Isirayiri. Ate era yali amanyi bulungi engeri Yakuwa gye yali amulazeemu ekisa. Mu ngeri endala Pawulo yali agamba nti, ‘Bwe kiba nti Yakuwa yawaayo Omwana we okunfiirira, ddala nsobola okubuusabuusa nti anjagala?’​—Bar. 8:32.

Katonda ky’atwala ng’ekikulu byebyo bye tukola kati n’ebyo bye tujja okukola mu biseera eby’omu maaso, so si nsobi ze twakola mu biseera eby’emabega (Laba akatundu 11) *

11. Wadde nga Pawulo yakola ebibi, gamba ng’ebyo ebyogerwako mu 1 Timoseewo 1:12-15, lwaki yali mukakafu nti Katonda yali amwagala?

11 Soma 1 Timoseewo 1:12-15. Wateekwa okuba nga waliwo ebiseera Pawulo lwe yalumirizibwanga omutima olw’ebyo bye yakola emabega. N’olwekyo tekyewuunyisa nti yeeyogerako ng’omwonoonyi ‘asingayo’! Nga tannayiga mazima, Pawulo yayigganya Abakristaayo mu bibuga ebitali bimu. Abamu yabasiba mu makomera, ate abalala n’asemba battibwe. (Bik. 26:10, 11) Bwe kiba nti Pawulo yasisinkanako omwana Omukristaayo eyafiirwa muzadde we nga Pawulo ye yasemba attibwe, ekyo kiteekwa okuba nga kyayisa bubi Pawulo. Pawulo yejjusa ensobi ze yakola naye yali akimanyi nti tasobola kukyusa bya mabega. Yali akkiriza nti Kristo yamufiirira era yagamba nti: “Olw’ekisa kya Katonda eky’ensusso, ndi ekyo kye ndi.” (1 Kol. 15:3, 10) Ekyo kituyigiriza ki? Olina okuba omukakafu nti Kristo yakufiirira era ekyo ne kikuggulirawo ekkubo okuba mukwano gwa Yakuwa. (Bik. 3:19) Katonda ky’atwala ng’ekikulu byebyo bye tukola kati n’ebyo bye tujja okukola mu biseera eby’omu maaso, so si ensobi ze twakola mu biseera eby’emabega, ka kibe nti mu kiseera ekyo twali Bajulirwa ba Yakuwa oba nedda.​—Is. 1:18.

12. Ebigambo ebiri mu 1 Yokaana 3:19, 20 biyinza bitya okutuyamba bwe tuba nga tuwulira nti tetulina mugaso oba nti tetusobola kwagalibwa?

12 Bw’olowooza ku ky’okuba nti Yesu yafa olw’ebibi byo muli oyinza okugamba nti, ‘Ekyo tekiŋwanira.’ Kiki ekiyinza okukuleetera okuwulira bw’otyo? Omutima gwaffe ogutatuukiridde guyinza okutulimba ne gutuleetera okuwulira nti tetulina mugaso era tetusobola kwagalibwa. (Soma 1 Yokaana 3:19, 20.) Mu mbeera ng’eyo tusaanidde okukijjukira nti “Katonda asinga emitima gyaffe.” Ne bwe tuba tuwulira nti Kitaffe ow’omu ggulu tatwagala oba nti tasobola kutusonyiwa, ye aba atwagala era atusonyiwa. Tulina okukakasa emitima gyaffe nti Yakuwa atwagala. Ekyo okusobola okukikola, tulina okusoma Ekigambo kye obutayosa n’okukifumiitirizaako, tulina okunyiikirira okusaba, n’okukuŋŋaananga awamu n’abantu be obutayosa. Lwaki kikulu nnyo okukola ebintu ebyo?

ENGERI OKUSOMA BAYIBULI, OKUSABA, N’EMIKWANO EMIRUNGI, GYE BISOBOLA OKUKUYAMBA

13. Okusoma Ekigambo kya Katonda n’okukifumiitirizaako kisobola kitya okutuyamba? (Laba akasanduuko “ Engeri Ekigambo kya Katonda Gye Kibayambamu.”)

13 Soma Ekigamba kya Katonda buli lunaku era okifumiitirizeeko. Bw’okola bw’otyo, ojja kweyongera okumanya ebikwata ku ngeri za Yakuwa ennungi ennyo. Ojja kukiraba nti akwagala nnyo. Bw’ofumiitiriza ku ebyo by’osoma mu Kigambo kya Katonda buli lunaku, kijja kukuyamba ‘okutereeza’ endowooza yo. (2 Tim. 3:16) Omukadde omu ayitibwa Kevin eyali alowooza nti talina mugaso agamba nti: “Okusoma n’okufumiitiriza ku Zabbuli 103 kinnyambye okutereeza endowooza yange n’okumanya obulungi endowooza Yakuwa gy’anninako.” Eva, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Ku nkomerero ya buli lunaku nfunayo akadde ne nfumiitiriza ku ndowooza ya Yakuwa. Ekyo kimpa emirembe mu mutima era kizimba okukkiriza kwange.”

14. Okusaba kuyinza kutya okutuyamba?

14 Saba obutayosa. (1 Bas. 5:17) Bw’oba oyagala okuba n’omukwano ogw’oku lusegere n’omuntu, oba olina okufunangayo akadde n’oyogera naye n’omubuulira ebikuli ku mutima. Bwe kityo bwe kiri ne ku mukwano gwaffe ne Yakuwa. Bwe tumusaba ne tumubuulira ebyo ebituli ku mutima nga kw’otadde n’ebyo ebitweraliikiriza, tuba tulaga nti tumwesiga era nti tumanyi nti atwagala. (Zab. 94:17-19; 1 Yok. 5:14, 15) Yua, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Bwe mba nsaba Yakuwa, simubuulira ebyo byokka bye mba mpiseemu mu lunaku. Mmubuulira ebyo bye ndowooza n’engeri gye mba mpuliramu. Ekyo kinnyambye obutatwala Yakuwa nga maneja wa kampuni ennene, wabula nga Taata ayagala abaana be.”​—Laba akasanduuko “ Wakasoma?

15. Yakuwa akiraga atya nti atufaako?

15 Beerangako wamu n’emikwano emirungi. Emikwano egyo birabo okuva eri Yakuwa. (Yak. 1:17) Kitaffe ow’omu ggulu akiraga nti atufaako okuyitira mu baganda baffe ne bannyinaffe mu kibiina ‘abalaga okwagala ebbanga lyonna.’ (Nge. 17:17) Mu bbaluwa gye yawandiikira Abakkolosaayi, Pawulo yayogera ku Bakristaayo abamu abaamuyamba ennyo, era yagamba nti ‘baamuzzaamu nnyo amaanyi.’ (Bak. 4:10, 11) Ne Yesu Kristo naye yali yeetaaga mikwano gye, omwali abantu ne bamalayika okumuyamba, era yasiima nnyo obuyambi bwe baamuwa.​—Luk. 22:28, 43.

16. Ab’emikwano abeesigwa bayinza batya okutuyamba okusemberera Yakuwa?

16 Onoonya obuyambi okuva mu b’emikwano abali mu kibiina era obukkiriza? Okubuulirako mukwano gwo akuze mu by’omwoyo ebikweraliikiriza tekiraga bunafu. Kiba kya bukuumi gy’oli. Lowooza ku ekyo James eyayogeddwako waggulu ky’agamba: “Okukola emikwano n’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo kinnyambye nnyo. Bwe mba n’ebinneeraliikiriza bampuliriza bulungi era bankakasa nti banjagala nnyo. Okuyitira mu mikwano ng’egyo nkiraba nti Yakuwa anjagala nnyo era nti anfaako.” N’olwekyo kikulu nnyo okuba n’omukwano ogw’oku lusegere ne bakkiriza bannaffe!

SIGALA MU KWAGALA KWA YAKUWA

17-18. Ani gwe tusaanidde okuwuliriza, era lwaki?

17 Sitaani ayagala tulekera awo okukola ekituufu. Ayagala tulowooze nti Yakuwa tatwagala era nti tetugwanidde kuwonyezebwawo. Naye nga bwe tulabye, ekyo si kituufu n’akamu.

18 Yakuwa akwagala nnyo. Oli wa muwendo nnyo mu maaso ge. Bw’omugondera, ojja “kusigala mu kwagala” kwe emirembe gyonna nga Yesu. (Yok. 15:10) N’olwekyo towuliriza Sitaani oba omutima gwo ogukulumiriza. Mu kifo ky’ekyo, wuliriza Yakuwa oyo alaba ebirungi mu buli omu ku ffe. Ba mukakafu nti Yakuwa “asanyukira abantu be,” nga naawe mw’akutwalidde!

OLUYIMBA 141 Obulamu Kyamagero

^ lup. 5 Abamu ku baganda baffe kibazibuwalira okukkiriza nti Yakuwa asobola okubaagala. Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa atwagala kinnoomu. Ate era tugenda kulaba kye tuyinza okukola bwe tuba nga tubuusabuusa nti atwagala.

^ lup. 2 Amanya agamu gakyusiddwa.

^ lup. 67 EBIFAANANYI: Pawulo bwe yali tannayiga mazima, yayigganya Abakristaayo era bangi yabasiba mu makomera. Bwe yakkiriza ekyo Yesu kye yali amukoledde, yakyuka era n’atandika okuzzaamu amaanyi Bakristaayo banne, ng’abamu ku abo bayinza okuba nga baali ba ŋŋanda zaabo be yali yayigganya.