Amakungula Amangi!
YESU yagamba nti abagoberezi be bandibadde n’amakungula mangi mu kiseera kino eky’enkomerero. (Mat. 9:37; 24:14) Lowooza ku ngeri ebigambo bya Yesu ebyo gye bituukiriddemu mu kitundu ky’e Transcarpathia, mu Ukraine. Mu bubuga busatu obuliraanaganye obuli mu kitundu ekyo, mulimu ebibiina 50 n’ababuulizi abassuka mu 5,400. * N’olwekyo, okutwalira awamu mu bubuga obwo, omuntu 1 ku buli bantu 4 Mujulirwa wa Yakuwa!
Abantu mu kitundu ekyo beeyisa batya? Ow’oluganda Vasile abeera mu kitundu ekyo agamba nti: “Abantu mu kitundu kino bassa ekitiibwa mu Bayibuli, baagala obwenkanya, baagala nnyo ab’eŋŋanda zaabwe, era bafuba okuyambagana.” Era agamba nti: “Tebakkiriziganya n’ezimu ku njigiriza zaffe, naye bw’obalaga ekintu mu Bayibuli bawuliriza.”
Kya lwatu nti baganda baffe ababuulira mu bitundu omuli Abajulirwa ba Yakuwa abangi boolekagana n’okusoomooza okw’enjawulo. Ng’ekyokulabirako, ekibiina ekimu mu kitundu ekyo kirimu ababuulizi 134, kyokka ng’ate amayumba agali mu kitundu mwe kibuulira gali 50 gokka! Kiki ababuulizi kye bakola mu mbeera ng’eyo?
Ab’oluganda bangi ne bannyinaffe bagaziya ku buweereza bwabwe nga babuulira mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Ow’oluganda ow’emyaka 90 ayitibwa Ionash agamba nti: “Mu kitundu ekibiina kyaffe mwe kibuulira buli mubuulizi alina ennyumba bbiri zokka ez’okubuulira. Mbuulira ku kyalo; naye gye buvuddeko awo nga nkyalina ku maanyi, mbaddenga ŋŋenda mu kitundu ekyesudde mayiro 100, ekitalina kibiina kikibuuliramu, ne mbuulira abantu aboogera Oluhangale.” Ababuulizi baba balina okwefiiriza okusobola okubuulira mu bitundu ebirala. Ionash agamba nti: “Okusobola okusanga eggaali y’omukka, nnalinanga okuzuukuka ssaawa 10 ez’ekiro era nnabuuliranga mu kitundu ekyo okutuukira ddala ssaawa 12 ez’akawungeezi eggaali y’omukka we yaddirangayo mu kitundu ky’ewaffe. Ekyo nnakikolanga emirundi ebiri oba esatu buli wiiki.” Ionash yawulira atya olw’okufuba okwo? Agamba nti: “Nnafuna essanyu lingi nnyo mu kubuulira mu kitundu ekyo. Nnasobola n’okuyamba ab’omu maka agamu abaali mu kitundu ekyesudde okuyiga amazima.”
Kyo kituufu nti si buli omu ali mu bibiina ebiri mu kitundu ekyo nti asobola okugenda okubuulira mu bitundu ebyesudde. Naye bonna nga mw’otwalidde n’ababuulizi abakuze mu myaka bakola kyonna ekisoboka okubuulira mu bujjuvu mu kitundu kyabwe, era ebivaamu biba birungi. Ng’ekyokulabirako, mu 2017, obubuga obwo bwonna obusatu ng’obugasse wamu, omuwendo gw’abantu abaaliwo ku Kijjukizo gwakubisaamu omuwendo gw’ababuulizi kumpi emirundi ebiri, kwe kugamba, kimu kya kubiri eky’abantu b’omu bubuga obwo, baaliwo ku Kijjukizo. Tewali kubuusabuusa nti yonna yonna gye tuba tuweerereza, wabaayo “eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.”—1 Kol. 15:58.
^ lup. 2 Obubuga obwo bwe buno: Hlybokyy Potik, Serednye Vodyane, ne Nyzhnya Apsha.