Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Emirembe—Oyinza Otya Okugifuna?

Emirembe—Oyinza Otya Okugifuna?

OLW’OKUBA ensi gye tulimu nzibu, kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okufuna emirembe. Kyokka ne bwe tuba n’emirembe emisaamusaamu, si kyangu kugikuuma. Magezi ki Bayibuli g’etuwa agasobola okutuyamba okufuna emirembe egya nnamaddala? Era tuyinza tutya okuyamba abalala okufuna emirembe?

KIKI EKYETAAGISA OKUSOBOLA OKUFUNA EMIREMBE EGYA NNAMADDALA?

Okusobola okufuna emirembe egya nnamaddala, tuba twetaaga okuwulira nga tulina obukuumi era nga n’ebirowoozo byaffe bitebenkedde. Era tulina okuba n’enkolagana ennungi n’abalala. N’ekisinga obukulu, okusobola okuba n’emirembe egya nnamaddala tulina okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. Ekyo tuyinza kukikola tutya?

Ebyeraliikiriza mu bulamu bimalako bangi emirembe

Bwe tugondera amateeka ga Yakuwa era ne tukolera ku misingi gye, tuba tukiraga nti tumwesiga era nti twagala okuba n’enkolagana ennungi naye. (Yer. 17:7, 8; Yak. 2:22, 23) N’ekivaamu, atusemberera era atuwa emirembe mu mutima. Isaaya 32:17 wagamba nti: “Obutuukirivu obwa nnamaddala bulivaamu emirembe, era obutuukirivu obwa nnamaddala bulireeta obuteefu n’obutebenkevu eby’olubeerera.” Bwe tugondera Yakuwa okuviira ddala ku mutima, tufuna emirembe egya nnamaddala.​—Is. 48:18, 19.

Ate era waliwo n’ekintu ekirala ekisobola okutuyamba okufuna emirembe, nga guno gwe mwoyo omutukuvu Kitaffe ow’omu ggulu gw’atuwa.​—Bik. 9:31.

OMWOYO GWA KATONDA GUTUYAMBA OKUFUNA EMIREMBE

Emirembe gye gimu ku bintu ebiri mu “kibala eky’omwoyo,” omutume Pawulo bye yamenya. (Bag. 5:22, 23) Okuva bwe kiri nti omwoyo gwa Katonda gusobozesa omuntu okufuna emirembe egya nnamaddala, tulina okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu okusobola okufuna emirembe egyo. Kati ka tulabeyo engeri bbiri omwoyo omutukuvu gye gutuyamba okufuna emirembe.

Esooka, bwe tusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa kituyamba okufuna emirembe. (Zab. 1:2, 3) Bwe tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma mu Bayibuli, omwoyo gwa Katonda gutuyamba okutegeera endowooza Katonda gy’alina ku bintu ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, tumanya ekyo ekisobozesa Yakuwa okuba n’emirembe n’ensonga lwaki emirembe mikulu nnyo gy’ali. Bwe tukolera ku ebyo bye tuyiga mu Kigambo kya Katonda, kituyamba okwongera okufuna emirembe.​—Nge. 3:1, 2.

Ey’okubiri, tulina okusaba Katonda atuwe omwoyo gwe omutukuvu. (Luk. 11:13) Bwe tusaba, “emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima [gyaffe] n’ebirowoozo [byaffe] okuyitira mu Kristo Yesu.” (Baf. 4:6, 7) Bwe tunyiikira okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu, tufuna emirembe mu mutima gy’awa abo bokka abalina enkolagana ennungi naye.​—Bar. 15:13.

Abamu bakoledde batya ku kubuulirira okwo ne basobola okukola enkyukakyuka ezibasobozesezza okuba mu mirembe ne Katonda, okufuna emirembe mu mutima, n’okuba mu mirembe ne bantu bannaabwe?

ENGERI GYE BAAFUNA EMIREMBE EGYA NNAMADDALA

Mu kibiina Ekikristaayo mulimu ab’oluganda edda abaali ‘abantu ab’obusungu’ naye nga kati beegendereza, ba kisa, bagumiikiriza, era bakolagana bulungi n’abalala. * (Nge. 29:22) Ka tulabeyo ebyokulabirako bibiri.

Okukolera ku misingi gya Bayibuli n’okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe kituyamba okufuna emirembe

David: Endowooza enkyamu gye yalina yamuviirako okukozesanga obubi olulimi lwe. Bwe yali tanneewaayo eri Yakuwa, yanoonyanga ensobi mu balala era yayogeranga bubi n’ab’omu maka ge. Naye oluvannyuma David yakiraba nti yalina okukyusaamu asobole okufuna emirembe. Yafuna atya emirembe? Agamba nti, “Nnatandika okukolera ku misingi gya Bayibuli era enkolagana yange n’ab’omu maka gange yatereera.”

Rachel: Embeera gye yakuliramu erina kinene kye yamukolako. Agamba nti, “Ne leero kinneetaagisa okufuba ennyo okwewala obusungu, kubanga mu maka mwe nnakulira abantu baali bakambwe.” Kiki ekyamuyamba okufuna emirembe? Agamba nti, “Okusaba Yakuwa obutayosa kyannyamba nnyo.”

Ng’ekyokulabirako kya David ne Rachel bwe kiraga, bwe tukolera ku misingi gya Bayibuli era ne tusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe, tusobola okufuna emirembe egya nnamaddala. Wadde nga tuli mu nsi ejjudde abantu abakambwe, tusobola okuba n’emirembe mu mutima egitusobozesa okuba mu mirembe n’ab’omu maka gaffe ne bakkiriza bannaffe. Kyokka era Yakuwa atugamba “okuba mu mirembe n’abantu bonna.” (Bar. 12:18) Naye ddala ekyo kisoboka? Birungi ki ebiva mu kufuba okuba mu mirembe n’abalala?

FUBA OKUBA MU MIREMBE N’ABALALA

Okuyitira mu mulimu ogw’okubuulira, tuyita abantu okuganyulwa mu bubaka bwaffe obw’emirembe obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda. (Is. 9:6, 7; Mat. 24:14) Eky’essanyu kiri nti bangi bakkiriza obubaka bwaffe. N’ekivaamu balekera awo okweraliikirira ennyo n’okusunguwala olw’ebintu ebibi ebigenda mu maaso mu nsi. Mu kifo ky’ekyo, bafuna essuubi erya nnamaddala era ekyo kibakubiriza ‘okunoonya emirembe n’okugigoberera.’​—Zab. 34:14.

Naye abamu mu kusooka tebasiima bubaka bwaffe. (Yok. 3:19) Wadde kiri kityo, omwoyo gwa Katonda gutuyamba okubabuulira amawulire amalungi mu ngeri ey’emirembe era nga tubawa ekitiibwa. Mu ngeri eyo tukolera ku magezi Yesu ge yawa agali mu Matayo 10:11-13, agatuyamba nga tubuulira. Yagamba nti: “Bwe muba muyingidde mu nnyumba, mulamuse ab’omu nnyumba eyo. Bwe baba bagwanira, emirembe gyammwe gijja kubeera nabo; naye bwe baba tebagwanira, emirembe gyammwe gijja kubaddira.” Bwe tukolera ku bigambo bya Yesu ebyo, kituyamba okusigala nga tulina emirembe era nga tulina essuubi nti omuntu oyo ajja kutuwuliriza olulala.

Ate era tukuuma emirembe bwe twogera n’abakungu ba gavumenti mu ngeri eraga nti tubawa ekitiibwa, nga mw’otwalidde n’abo abatuziyiza. Ng’ekyokulabirako, gavumenti emu mu Afirika eyali tetwagala yagaana okutuwa olukusa okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Okusobola okugonjoola ensonga eyo mu ngeri ey’emirembe, ow’oluganda omu eyali yaweerezaako ng’omuminsani mu nsi eyo yasindikibwa okugenda okwogerako n’omukungu omu owa gavumenti eyo eyali akolera mu London, mu Bungereza. Yali agenda kutegeeza omukungu oyo nti omulimu Abajulirwa ba Yakuwa gwe bakola mu nsi ye tegwalina mutawaana gwonna. Biki ebyavaamu?

Ow’oluganda oyo agamba nti: “Bwe nnatuuka awatuukira abagenyi ne ndaba engeri omukazi eyali akolawo gye yali ayambaddemu, nnakitegeera nti yali wa ggwanga eryogera olulimi lwe nnali nnayiga. Bwe kityo nnamubuuza mu lulimi lwe. Yeewuunya nnyo n’ambuuza nti, ‘Nkuyambe ntya?’ Mu bukkakkamu nnamugamba nti nnali njagala kulaba mukulu. Yakubira omukungu oyo essimu era omukungu oyo yajja n’ambuuza mu lulimi lwe. Oluvannyuma omukungu oyo yampuliriza bulungi nga munnyonnyola ebikwata ku mulimu Abajulirwa ba Yakuwa gwe bakola.”

Okuba nti ow’oluganda oyo yayogera n’omukungu oyo mu ngeri eyali eraga nti amussaamu ekitiibwa, kyakyusa endowooza enkyamu omukungu oyo gye yalina ku mulimu gwaffe. Nga wayise ekiseera, gavumenti y’ensi eyo yatukkiriza okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Ab’oluganda baasanyuka nnyo! Mu butuufu bwe tussa ekitiibwa mu balala, kivaamu ebirungi bingi, nga muno mwe muli n’emirembe.

OKUFUNA EMIREMBE EGY’OLUBEERERA

Leero abantu ba Yakuwa bali mu lusuku olw’eby’omwoyo olujjudde emirembe. Naawe osobola okwongera ku mirembe egyo singa ofuba okukulaakulanya engeri eno eri mu kibala ky’omwoyo. N’ekisinga obukulu, ojja kusanyusa Yakuwa era ojja kufuna emirembe egy’olubeerera mu nsi ya Katonda empya.​—2 Peet. 3:13, 14.

^ lup. 13 Engeri ey’ekisa ejja kwogerwako mu kitundu ekirala ekijja okujja ekyogera ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu.