Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa Ayagala Abo ‘Ababala Ebibala n’Obugumiikiriza’

Yakuwa Ayagala Abo ‘Ababala Ebibala n’Obugumiikiriza’

“Ezo ezaagwa ku ttaka eddungi, beebo . . . ababala ebibala n’obugumiikiriza.”​—LUK. 8:15.

ENNYIMBA: 68, 72

1, 2. (a) Lwaki baganda baffe ababuulira mu bitundu abantu gye batawuliriza bubaka bwaffe batuzzaamu nnyo amaanyi? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Kiki Yesu kye yayogera ku kubuulira mu “kitundu ky’ewaabwe”? (Laba obugambo obuli wansi.)

SERGIO ne mukyala we Olinda ababeera mu Amerika baweereza nga bapayoniya era bali mu myaka nga 80. Olw’okuba amagulu gabaluma, kibabeerera kizibu okutambula ennyo. Wadde kiri kityo, buli ku makya batambula ne bagenda mu kifo ekiyitamu abantu abangi era batuukawo ku ssaawa emu ey’oku makya. Ekyo bakikoledde emyaka egiwerako. Bassa obugaali okumpi n’awasimba bbaasi ne bagabira abantu ebitabo byaffe ebinnyonnyola Bayibuli. Wadde ng’abantu abasinga babayitako buyisi, Ow’oluganda oyo ne mukyala we tebalekaayo kugenda mu kifo ekyo era bateerako akamwenyumwenyu oyo yenna aba abatunuulidde. Mu ttuntu, batambula mpolampola ne baddayo awaka. Enkeera ku ssaawa emu, baba bakomyewo mu kifo kyabwe we babuulirira. Ow’oluganda oyo ne mukyala we babuulirira mu kifo ekyo ennaku mukaaga buli wiiki.

2 Okufaananako Sergio ne Olinda, abaweereza ba Yakuwa abeesigwa okwetooloola ensi babaddenga babuulira okumala emyaka mingi mu bitundu abantu gye batawuliriza. Bw’oba nga naawe bw’otyo bw’obadde okola, osiimibwa nnyo olw’okwoleka obugumiikiriza. * Ekyokulabirako ekirungi ky’ossaawo kizzaamu bakkiriza banno amaanyi, nga mw’otwalidde n’abo abamaze ebbanga eggwanvu nga baweereza Yakuwa. Lowooza ku bigambo bino ebyayogerwa abalabirizi abakyalira ebibiina: “Okubuulirako n’ab’oluganda ng’abo abeesigwa kinzizaamu nnyo amaanyi.” “Obwesigwa bwe booleka bundeetera okuba omumalirivu okunywerera mu buweereza bwange.” “Ekyokulabirako kyabwe kinkwatako nnyo.”

3. Bibuuzo ki ebisatu ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino, era lwaki?

3 Okusobola okutuyamba okuba abamalirivu okweyongera okukola omulimu ogw’okubuulira Yesu gwe yatuwa, tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebisatu: Lwaki oluusi tuyinza okuggwaamu amaanyi? Tuyinza tutya okubala ebibala? Kiki ekinaatuyamba okweyongera okubala ebibala n’obugumiikiriza?

LWAKI OLUUSI TUYINZA OKUGGWAAMU AMAANYI?

4. (a) Engeri Abayudaaya abasinga obungi gye beeyisaamu yaleetera Pawulo kuwulira atya? (b) Lwaki Pawulo yawulira bw’atyo?

4 Bwe kiba nti wali owuliddeko ng’oweddemu amaanyi ng’obuulira mu kitundu abantu gye batawuliriza otegeera bulungi engeri omutume Pawulo gye yali awuliramu. Mu buweereza bwe obwamala emyaka nga 30, yayamba abantu bangi okufuuka abayigirizwa ba Kristo. (Bik. 14:21; 2 Kol. 3:2, 3) Naye Abayudaaya abasinga obungi teyasobola kubayamba kufuuka bayigirizwa ba Yesu. Abasinga obungi ku bo baagaana okumuwuliriza era abamu ku bo baamuyigganya. (Bik. 14:19; 17:1, 4, 5, 13) Ekyo kyakwata kitya ku Pawulo? Yagamba nti: “Njogera mazima mu Kristo . . . Mu mutima gwange nnina ennaku nnyingi n’obulumi obutasalako.” (Bar. 9:1-3) Lwaki Pawulo yawulira bw’atyo? Yali ayagala nnyo omulimu gw’okubuulira. Yabuulira Abayudaaya olw’okuba yali abafaako nnyo. N’olwekyo kyamuluma nnyo okulaba nga bagaanye obusaasizi bwa Katonda.

5. (a) Kiki ekituleetera okubuulira abantu? (b) Lwaki tekyewuunyisa nti oluusi tuwulira nga tuweddemu amaanyi?

5 Okufaananako Pawulo, naffe tubuulira abantu olw’okuba tubafaako. (Mat. 22:39; 1 Kol. 11:1) Lwaki? Tukimanyi nti abo abasalawo okuweereza Yakuwa, bafuna emikisa mingi. Bwe tulowooza ku bantu abali mu bitundu bye tubuuliramu, muli tugamba nti, ‘Kale singa bamanyi kye basubwa!’ N’olwekyo, tweyongera okubakubiriza okuyiga amazima agakwata ku Yakuwa n’ebintu by’agenda okukolera abantu. Mu ngeri endala, tuba ng’ababagamba nti: ‘Tubaleetedde ekirabo ekirungi. Mukikkirize.’ N’olwekyo tekyewuunyisa nti abantu bwe bagaana okukkiriza ekirabo ekyo tuwulira ‘obulumi mu mutima gwaffe.’ Bwe tuwulira tutyo kiba tekiraga nti tetulina kukkiriza, wabula kiba kiraga nti twagala nnyo omulimu gw’okubuulira. N’olwekyo wadde ng’oluusi tuwulira nga tuweddemu amaanyi, tweyongera okubuulira. Bangi ku ffe tukkiriziganya n’ebigambo Elena, amaze emyaka egisukka mu 25 ng’aweereza nga payoniya bye yayogera. Yagamba nti: “Omulimu gw’okubuulira si mwangu. Wadde kiri kityo, teri mulimu gugusinga.”

TUYINZA TUTYA OKUBALA EBIBALA?

6. Kibuuzo ki kye tugenda okwekenneenya?

6 Lwaki tuli bakakafu nti ka wabe wa we tubuulira, tusobola okubala ebibala? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka tulabeyo engero bbiri Yesu ze yagera, mwe yalagira obukulu ‘bw’okubala ebibala.’ (Mat. 13:23) Olusooka lukwata ku muzabbibu.

7. (a) Omulimi, omuzabbibu, n’amatabi bikiikirira baani? (b) Kibuuzo ki kye twetaaga okumanya eky’okuddamu?

7 Soma Yokaana 15:1-5, 8Weetegereza Yesu kye yagamba abatume be: “Kitange agulumizibwa bwe mweyongera okubala ebibala bingi era ne mulaga nti muli bayigirizwa bange.” Yesu yagamba nti Yakuwa “ye mulimi,” nti ye gwe “muzabbibu ogw’amazima,” era nti abagoberezi be ge “matabi.” * Ate ebibala abagoberezi ba Yesu bye balina okubala bye biruwa? Mu lugero olwo, Yesu teyalaga butereevu bibala ebyo, naye alina kye yayogera ekituyamba okumanya eky’okuddamu.

8. (a) Lwaki ebibala ebyogerwako mu lugero lwa Yesu tebitegeeza bayigirizwa bapya? (b) Kiki kye tumanyi ku bintu Yakuwa by’atugamba okukola?

8 Ng’ayogera ku Kitaawe, Yesu yagamba nti: “Aggyawo buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala.” Bwe kityo Yesu yakiraga nti Yakuwa okututwala nti tuli baweereza be tulina okuba nga tubala ebibala. (Mat. 13:23; 21:43) N’olwekyo, okusinziira ku lugero olwo, ebibala buli Mukristaayo by’alina okubala tebitegeeza bayigirizwa bapya be tusobola okufuna nga tubuulira. (Mat. 28:19) Singa kyali kityo, abaweereza ba Yakuwa abeesigwa abatafuna bayigirizwa bapya olw’okuba babuulira mu bitundu abantu gye batawuliriza bandibadde ng’amatabi agatabala bibala agoogerwako mu lugero lwa Yesu. Naye ekyo si kituufu! Lwaki? Kubanga tetusobola kuwaliriza bantu kufuuka bayigirizwa ba Yesu. Olw’okuba Yakuwa alina okwagala, tasobola kwesamba baweereza be ng’asinziira ku kintu kye batasobola kukola. Byonna Yakuwa by’atugamba okukola tuba tusobola okubikola.​—Ma. 30:11-14.

9. (a) Mulimu ki ogutusobozesa okubala ebibala? (b) Lugero ki lwe tugenda okwekenneenya, era lwaki?

9 Kati olwo ebibala bye tulina okubala kye ki? Ebibala biteekwa okuba nga bitegeeza ekintu ffenna kye tusobola okukola. Kintu ki ffenna Yakuwa ky’atugamba okukola? Gwe mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. * (Mat. 24:14) Kino tukirabira mu lugero lwa Yesu olukwata ku musizi. Ka twekenneenye olugero olwo.

10. (a) Ensigo n’ettaka ebyogerwako mu lugero lwa Yesu bikiikirira ki? (b) Bibala bya ngeri ki ekikolo ky’eŋŋaano bye kibala?

10 Soma Lukka 8:5-8, 11-15. Mu lugero lw’omusizi, ensigo “kye kigambo kya Katonda,” oba obubaka bw’Obwakabaka. Ettaka likiikirira omutima gw’omuntu ogw’akabonero. Ensigo eyagwa ku ttaka eddungi yasimba emirandira wansi, n’eroka, era n’ekula n’evaamu ekikolo ky’eŋŋaano. Oluvannyuma ekikolo kyabala ebibala “ebikubisaamu emirundi 100.” Naye bibala bya ngeri ki ekikolo ky’eŋŋaano bye kibala? Kibala bikolo birala eby’eŋŋaano? Nedda, kibala nsigo oluvannyuma nazo ezimera ne zivaamu ebikolo by’eŋŋaano. Mu lugero luno, ensigo emu evaamu ensigo endala kikumi. Ekyo kituyigiriza ki ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira?

Tubala tutya “ebibala n’obugumiikiriza”? (Laba akatundu 11)

11. (a) Olugero lw’omusizi lukwata lutya ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira? (b) Tubala tutya ensigo empya?

11 Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti emyaka mingi emabega omuweereza wa Yakuwa omu oba bazadde baffe baatubuulira amawulire g’Obwakabaka. Baasanyuka nnyo okukiraba nti twakkiriza obubaka bw’Obwakabaka. Ng’ensigo mu lugero lwa Yesu bwe yakulira ku ttaka eddungi, naffe twakkiriza obubaka bw’Obwakabaka era ne tubunywererako. N’ekyavaamu, ensigo y’obubaka bw’Obwakabaka yasimba emirandira n’ekula, n’evaamu ekikolo. Ng’ekikolo ky’eŋŋaano bwe kibala ensigo, so si bikolo birala, naffe ebibala bye tubala si bayigirizwa bapya, wabula ensigo z’Obwakabaka empya. * Tubala tutya ensigo z’Obwakabaka empya? Buli lwe tubuulira amawulire g’Obwakabaka, tubanga abakubisaamu ensigo y’Obwakabaka eyasigibwa mu mitima gyaffe. (Luk. 6:45; 8:1) N’olwekyo, okusinziira ku lugero luno, bwe tweyongera okubuulira amawulire g’Obwakabaka, tuba ‘tubala ebibala n’obugumiikiriza.’

12. (a) Kiki kye tuyigira ku lugero lwa Yesu olukwata ku muzabbibu ne ku musizi? (b) Ekyo kitukwatako kitya?

12 Kiki kye tuyigira ku lugero lwa Yesu olukwata ku muzabbibu ne ku musizi? Engero ezo zituyamba okukiraba nti okubala ebibala tekisinziira ku ngeri abantu gye batwalamu obubaka bwe tubabuulira. Mu kifo ky’ekyo, kisinziira ku bwesigwa bwaffe. Ekyo Pawulo naye yakiraga bwe yagamba nti: “Buli muntu ajja kufuna empeera ye okusinziira ku mulimu gwe.” (1 Kol. 3:8) Empeera tugifuna okusinziira ku mulimu gwe tukola, so si ku ebyo ebiva mu mulimu ogwo. Mwannyinaffe Matilda, amaze emyaka 20 ng’aweereza nga payoniya agamba nti: “Kinsanyusa nnyo okukimanya nti Yakuwa atuwa empeera okusinziira ku kufuba kwaffe.”

TUYINZA TUTYA OKUBALA EBIBALA N’OBUGUMIIKIRIZA?

13, 14. Okusinziira ku Abaruumi 10:1, 2, lwaki Pawulo teyalekayo kubuulira abo abaali batawuliriza bubaka bw’Obwakabaka?

13 Kiki ekisobola okutuyamba okweyongera okubala ebibala n’obugumiikiriza? Nga bwe tulabye, Pawulo yawulira ng’aweddemu amaanyi olw’Abayudaaya obutawuliriza mawulire g’Obwakabaka. Wadde kyali kityo, yeeyongera okubabuulira. Ng’ayogera ku ngeri gye yali atwalamu Abayudaaya abo, Pawulo yagamba nti: “Kye njagala mu mutima gwange era kye nsaba Katonda ku lwabwe kye kino, nti balokolebwe. Mbawaako obujulirwa nti banyiikira okuweereza Katonda; naye okunyiikira kwabwe tekwesigamye ku kumanya okutuufu.” (Bar. 10:1, 2) Lwaki Pawulo yeeyongera okubuulira?

14 Ekisooka, yeeyongera okubuulira Abayudaaya kubanga ekyo yali ‘akyagala mu mutima gwe.’ Yali ayagala Abayudaaya abo balokolebwe. (Bar. 11:13, 14) Eky’okubiri, Pawulo yagamba nti yali ‘asaba Katonda ku lwabwe.’ Yeegayirira Katonda mu kusaba ayambe Abayudaaya kinnoomu bakkirize obubaka bw’Obwakabaka. Eky’okusatu, Pawulo yagamba nti: “Banyiikira okuweereza Katonda.” Pawulo yatunuulira ebirungi mu bantu era n’akiraba nti basobola okuweereza Yakuwa. Yakiraba nti singa omuntu omunyiikivu ayambibwa okuyiga amazima, afuuka omugoberezi wa Kristo omunyiikivu.

15. Tuyinza tutya okukoppa Pawulo? Waayo ebyokulabirako.

15 Tuyinza tutya okukoppa Pawulo? Ekisooka, tulina okusigala nga twagala okuzuula ‘abo abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.’ Eky’okubiri, twegayirira Yakuwa aggule emitima gy’abantu abeesimbu. (Bik. 13:48; 16:14) Mwannyinaffe Silvana, amaze emyaka nga 30 ng’aweereza nga payoniya, agamba nti: “Bwe mba sinnakyama ku nnyumba nga mbuulira, nsaba Yakuwa annyambe mbe n’endowooza ennuŋŋamu.” Ate era tusaanidde okusaba Katonda, bamalayika be batuyambe okuzuula abantu ab’emitima emirungi. (Mat. 10:11-13; Kub. 14:6) Ow’oluganda Robert, amaze emyaka egisukka mu 30 ng’aweereza nga payoniya, agamba nti: “Kisanyusa nnyo okukolera awamu ne bamalayika abamanyi ebigenda mu maaso mu bulamu bw’abantu be tubuulira.” Eky’okusatu, tufuba okunoonya ebirungi mu bantu. Ow’oluganda Carl, aweereza ng’omukadde era eyabatizibwa emyaka egisukka mu 50 emabega, agamba nti: “Nfuba okunoonya ekintu kyonna ekiraga nti omuntu mwesimbu. Kayinza okuba akamwenyumwenyu k’ataddeko, engeri ey’ekisa gy’atunulamu, oba ekibuuzo ky’abuuzizza mu bwesimbu.” Okufaananako Pawulo, tusobola okubala ebibala n’obugumiikiriza.

“TOWUMMUZA MUKONO GWO”

16, 17. (a) Ebyo bye tusoma mu Omubuulizi 11:6 bituyigiriza ki? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri omulimu gw’okusiga gwe tukola gye gukwata ku abo abatulaba.

16 Ne bwe tuba nga tulaba nti obubaka bwe tubuulira tebutuuka ku mitima gy’abantu, tetusaanidde kulekera awo kweyongera kusiga nsigo. (Soma Omubuulizi 11:6.) Kyo kituufu nti abantu abasinga obungi tebawuliriza bubaka bwaffe, naye batulaba. Beetegereza engeri ennungi gye twambalamu, empisa zaffe ennungi, n’akamwenyumwenyu ke tussaako. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, engeri ennungi gye tweyisaamu eyinza okuleetera abantu abamu okukyusa endowooza enkyamu gye batulinako. Ekyo kye kyatuuka ku Sergio ne Olinda abaayogeddwako waggulu.

17 Sergio agamba nti: “Olw’okuba twali balwadde, waliwo bwe twamala ekiseera nga tetugenda mu kifo kyaffe we tubuulirira. Bwe twakomawo abantu baatubuuzanga nti, ‘Mwabulira wa? Tubadde tuludde okubalaba.’” Olinda agamba nti: “Abavuzi ba bbaasi baatukubiranga kajjambo era abamu baatugamba nti, ‘Mwebale omulimu ogwo omulungi!’ Ate era abamu baatusaba okubawa magazini.” Waliwo n’omusajja omu eyabaleetera ebimuli era n’abeebaza olw’omulimu gwe baali bakola.

18. Lwaki omaliridde ‘okubala ebibala n’obugumiikiriza’?

18 Bwe tweyongera okusiga ensigo z’Obwakabaka, tuba twenyigira mu mulimu omulungi ogw’okuwa “obujulirwa eri amawanga gonna.” (Mat. 24:14) N’ekisinga obukulu, tuba basanyufu okukimanya nti Yakuwa atusiima kubanga ayagala abo bonna “ababala ebibala n’obugumiikiriza”!

^ lup. 2 Ne Yesu yakiraga nti tekyali kyangu kubuulira mu “kitundu ky’ewaabwe,” era ekyo Enjiri zonna ennya zaakyogerako.​—Mat. 13:57; Mak. 6:4; Luk. 4:24; Yok. 4:44.

^ lup. 7 Wadde nga mu lugero luno amatabi gakiikirira abo abagenda okufuna obulamu obutaggwaawo mu ggulu, eby’okuyiga ebirulimu biganyula abaweereza ba Katonda bonna.

^ lup. 9 Wadde ‘ng’okubala ebibala’ kizingiramu n’okubala ‘ekibala ky’omwoyo,’ mu kitundu kino n’ekiddako, essira tugenda kulissa ku kubala “ekibala eky’emimwa,” kwe kugamba, okubuulira amawulire ag’Obwakabaka.​—Bag. 5:22, 23; Beb. 13:15.

^ lup. 11 Ku mirundi emirala, Yesu yakozesa ekyokulabirako ky’okusiga n’okukungula ng’ayogera ku mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa.​—Mat. 9:37; Yok. 4:35-38.