Obadde Okimanyi?
Omuyigirizwa Siteefano yasobola atya okusigala nga mukkakkamu ng’ayigganyizibwa?
SITEEFANO yali ayimiridde mu maaso g’abasajja abaali abakambwe ennyo. Abalamuzi abo 71 abaali ku lukiiko olukulu olw’Abayudaaya be bamu ku basajja abaali basingayo okuba n’obuyinza mu Isirayiri. Kayaafa Kabona Asinga Obukulu, emyezi mitono emabega eyali akubirizza olukiiko olwo nga lusalira Yesu ogw’okufa era ne ku luno ye yali atuuzizza olukiiko olwo. (Mat. 26:57, 59; Bik. 6:8-12) Abajulizi ab’obulimba abaaleetebwa bwe baali balumiriza Siteefano, abaaliwo baalaba ekintu ekyewuunyisa ku Siteefano. Baalaba “nga mu maaso alinga malayika.”—Bik. 6:13-15.
Kiki ekyasobozesa Siteefano okusigala nga mukkakkamu mu mbeera eyo eyali etiisa? Bwe yali nga tannatwalibwa mu maaso g’Olukiiko Olukulu, Siteefano yali yeemalidde ku buweereza bwe era omwoyo omutukuvu gwe gwali gumuyamba. (Bik. 6:3-7) Bwe yali ng’awozesebwa, omwoyo ogwo gwe gumu gwe gwali gumukolerako nga gumubudaabuda era nga gumujjukiza. (Yok. 14:16, obugambo obuli wansi.) Siteefano bwe yali yeewozaako, nga bwe kiragibwa mu Ebikolwa by’Abatume 7, omwoyo omutukuvu gwamujjukiza ebintu eby’enjawulo nga 20 okuva mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. (Yok. 14:26) Naye okukkiriza kwa Siteefano kweyongera okunywera bwe yafuna okwolesebwa n’alaba Yesu ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo.—Bik. 7:54-56, 59, 60.
Naffe tusobola okutiisibwatiibwa oba okuyigganyizibwa. (Yok. 15:20) Naye bwe tuba nga twesomesa Ekigambo kya Katonda obutayosa era nga tunyiikirira omulimu gw’okubuulira, omwoyo omutukuvu gujja kutukolerako. Era tujja kusobola okugumira okuyigganyizibwa nga tulina emirembe ku mutima.—1 Peet. 4:12-14.