EKITUNDU EKY’OKUSOMA 43
OLUYIMBA 90 Tuzziŋŋanemu Amaanyi
Ebiyinza Okutuyamba Okuggwaamu Okubuusabuusa
“Mwekenneenyenga ebintu byonna.”—1 BAS. 5:21.
EKIGENDERERWA
Ky’osaanidde okukola bw’oba ng’obuusabuusa obanga Yakuwa akufaako.
1-2. (a) Ebimu ku bintu abaweereza ba Yakuwa bye beebuuza bye biruwa? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
ABANTU bonna abakulu n’abato oluusi babaako n’ebintu bye babuusabuusa. a Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Mujulirwa wa Yakuwa omuvubuka eyeebuuza obanga ddala Yakuwa amufaako. Ayinza okuba nga teyeekakasa obanga ddala asaanidde okubatizibwa. Oba lowooza ku w’oluganda eyasalawo okukulembeza Yakuwa ng’akyali muvubuka mu kifo ky’okukola ssente ennyingi. Kati ng’akuze, ssente z’alina zimumala bumazi okulabirira ab’omu maka ge, era yeebuuza obanga yasalawo mu ngeri entuufu. Oba lowooza ku mwannyinaffe akaddiye era ng’alina amaanyi matono. Ayinza okuwulira ng’aweddemu amaanyi olw’okuba takyasobola kukola bintu bye yakolanga edda. Wali weebuuzizzaako ebibuuzo nga bino: ‘Ddala Yakuwa andaba? Ddala nnasalawo bulungi bwe nnabaako bye nneefiiriza okusobola okukulembeza Yakuwa by’ayagala? Yakuwa akyantwala nti ndi wa mugaso?’
2 Bwe tutafuba kufuna bya kuddamu mu bibuuzo ng’ebyo, okukkiriza kwaffe kuyinza okunafuwa oba tuyinza okulekera awo okuweereza Yakuwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri okufumiitiriza ku misingi gya Bayibuli gye kisobola okutuyamba bwe tuba nga tubuusabuusa (1) obanga Yakuwa atufaako, (2) obanga ebyo bye twasalawo mu biseera eby’emabega byali bituufu, (3) obanga tukyali ba mugaso eri Yakuwa.
KIKI EKIYINZA OKUKUYAMBA BW’OBA NG’OLINA BY’OBUUSABUUSA
3. Ekimu ku bintu bye tulina okukola okusobola okuggwaamu okubuusabuusa kye kiruwa?
3 Ekintu ekimu ekisobola okutuyamba okuggwaamu okubuusabuusa, kwe kwekenneenya Ekigambo kya Katonda tusobole okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye tuba twebuuza. Bwe tukola tutyo, tujja kunywera, tujja kweyongera okukula mu by’omwoyo, era tujja kuba tusobola ‘okunywerera mu kukkiriza.’—1 Kol. 16:13.
4. ‘Twekenneenya tutya ebintu byonna’? (1 Abassessalonika 5:21)
4 Soma 1 Abassessalonika 5:21. Weetegereze nti Bayibuli etukubiriza ‘okwekenneenya ebintu byonna.’ Ekyo tuyinza kukikola tutya? Tusobola okukakasa nti ebyo bye tukkiriza bituufu nga tubigeraageranya n’ekyo Bayibuli ky’egamba. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku muvubuka abuusabuusa obanga wa mugaso eri Yakuwa. Okuba nti alowooza bw’atyo, yandikitutte nti ddala kituufu si wa mugaso eri Yakuwa? Nedda. Alina ‘okwekenneenya ebintu byonna’ ng’afuba okumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku nsonga eyo.
5. Tuyinza tutya okuwuliriza Yakuwa ng’atuwa eby’okuddamu mu bibuuzo bye twebuuza?
5 Bwe tuba tusoma Ekigambo kya Katonda, tuba “tuwulira” Yakuwa ng’ayogera gye tuli. Naye okusobola okumanya endowooza gy’alina ku bibuuzo ebimu bye twebuuza, kitwetaagisa okufuba. Tusaanidde okuzuula ebyawandiikibwa ebikwata ku bibuuzo bye twebuuza, era ne tubinoonyerezaako okusobola okufuna eby’okuddamu. Tusobola okunoonyereza ku bibuuzo bye tuba nabyo nga tukozesa ebintu ekibiina kya Yakuwa bye kituwadde ebituyamba okunoonyereza. (Nge. 2:3-6) Tusaanidde okusaba Yakuwa okutuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo byaffe. Oluvannyuma tusaanidde okunoonya emisingi gya Bayibuli era n’amagezi agasobola okutuyamba mu mbeera yaffe. Ate era okufumiitiriza ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abaayolekaganako n’embeera ng’eyaffe nakyo kisobola okutuyamba.
6. Enkuŋŋaana zituyamba zitya okuggwaamu okubuusabuusa?
6 Ate era tuwulira Yakuwa ng’ayogera naffe okuyitira mu nkuŋŋaana zaffe. Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, tuyinza okuwulira mukkiriza munnaffe ng’aliko ky’azzeemu era ng’ekyo kyennyini kye tubadde twetaaga okusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo kye tubadde twebuuza. (Nge. 27:17) Kati ka tulabe ebimu ku ebyo ebisobola okutuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye twebuuza.
BW’OBA NG’OBUUSABUUSA OBANGA YAKUWA AKUFAAKO
7. Kibuuzo ki abamu kye bayinza okwebuuza?
7 Wali weebuuzizza nti, ‘Ddala Yakuwa andaba?’ Bw’oba nga weenyooma, kiyinza okukuzibuwalira okukkiriza nti osobola okufuuka mukwano gw’Omutonzi w’ebintu byonna. Kabaka Dawudi naye ayinza okuba nga yalina endowooza bw’etyo. Yeewuunya okuba nti Yakuwa afaayo ku muntu obuntu. Yabuuza nti: “Ai Yakuwa, omuntu kye ki ggwe okumulowoozaako, omwana w’omuntu kye ki ggwe okumufaako?” (Zab. 144:3) Wa w’oyinza okujja eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo?
8. Okusinziira ku 1 Samwiri 16:6, 7, 10-12, kiki Yakuwa ky’alaba mu bantu?
8 Bwe tusoma Bayibuli, tukiraba nti Yakuwa afaayo ku abo abalala be bayinza okutwala ng’abatali ba muwendo nnyo. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yatuma Samwiri ewa Yese okufuka amafuta ku omu ku batabani be eyandibadde kabaka wa Isirayiri eyandizzeeko. Yese yalina abaana ab’obulenzi munaana, naye yayitako musanvu. Ow’omunaana Dawudi eyali asembayo obuto teyamuyita. b Kyokka Dawudi Yakuwa gwe yali alonze. (Soma 1 Samwiri 16:6, 7, 10-12.) Yakuwa yalaba ekyo Dawudi kye yali munda. Yakiraba nti yali atwala ebintu eby’omwoyo nga bikulu nnyo.
9. Lwaki osobola okuba omukakafu nti Yakuwa akufaako? (Laba n’ekifaananyi.)
9 Lowooza ku ngeri Yakuwa gy’akirazeemu nti akulaba. Akuwa obulagirizi obukuyamba mu mbeera gy’obaamu. (Zab. 32:8) Ekyo teyandikikoze singa yali takumanyi bulungi. (Zab. 139:1) Bw’okolera ku bulagirizi Yakuwa bw’akuwa era n’olaba engeri gye bukuyambamu, weeyongera okuba omukakafu nti Yakuwa akufaako. (1 Byom. 28:9; Bik. 17:26, 27) Yakuwa alaba okufuba kwo. Alaba engeri zo era ayagala okuba mukwano gwo. (Yer. 17:10) Era ajja kusanyuka nnyo singa naawe okkiriza okuba mukwano gwe.—1 Yok. 4:19.
BW’OBA OBUUSABUUSA OBA NG’EBYO BYE WASALAWO MU BISEERA EBY’EMABEGA BYALI BITUUFU
10. Kibuuzo ki ekiyinza okujjawo bwe tulowooza ku bintu bye twasalawo mu biseera eby’emabega?
10 Oluusi abamu bayinza okulowooza ku bintu bye baasalawo mu biseera eby’emabega, ne beebuuza obanga ddala baasalawo mu ngeri entuufu. Oboolyawo baasalawo okuleka omulimu ogwali gubasasula ssente ennyingi oba okukola bizineesi, basobole okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. Naye kati ekiseera kiwanvu kiyiseewo bukya basalawo okukola bwe batyo. Bayinza okuba nga balaba bannaabwe abataasalawo nga bo nga kati balabika ng’abali obulungi. Ekyo kiyinza okubaleetera okwebuuza nti: ‘Kyali kya magezi okubaako bye nneefiiriza okusobola okuweereza Yakuwa? Oba byandeetera okubaako ebintu ebikulu bye nfiirwa?’
11. Kiki ekyamalako omuwandiisi wa Zabbuli 73 emirembe?
11 Bw’oba nga naawe weebuuza ebibuuzo ng’ebyo, lowooza ku ngeri omuwandiisi wa Zabbuli 73 gye yawuliramu. Yalaba abalala nga balinga abali mu bulamu obulungi era obutaliimu kyeraliikiriza kyonna. (Zab. 73:3-5, 12) Bwe yalaba obulamu bwe baalimu, kyamuleetera okulowooza nti yali atawaanidde bwereere okuweereza Yakuwa. Endowooza eyo emalamu amaanyi yamuleetera okuba ‘omweraliikirivu okuzibya obudde.’ (Zab. 73:13, 14) Kiki kye yakolawo?
12. Okusinziira ku Zabbuli 73:16-18, omuwandiisi wa zabbuli eyo yasobola atya okutereeza endowooza ye?
12 Soma Zabbuli 73:16-18. Omuwandiisi wa zabbuli yagenda mu kifo kya Yakuwa ekitukuvu. Ng’ali eyo, yasobola okutunuulira ebintu mu ngeri entuufu. Yakiraba nti wadde ng’abamu baali balabika ng’abali obulungi, tebaalina ssuubi lya mu biseera bya mu maaso. Ng’ekyo amaze okukitegeera yafuna emirembe, ng’akimanyi nti okukulembeza Yakuwa kye kintu ekisingayo obulungi omuntu ky’asaanidde okusalawo. N’ekyavaamu, yaddamu okuba omumalirivu okweyongera okuweereza Yakuwa.—Zab. 73:23-28.
13. Bw’oba ng’obuusabuusa ebyo bye wasalawo mu biseera eby’emabega, oyinza otya okufuna emirembe ku mutima? (Laba n’ekifaananyi.)
13 Naawe Ekigambo kya Katonda kisobola okukuyamba okufuna emirembe. Mu ngeri ki? Fumiitiriza ku bintu ebirungi by’olina, omuli eby’obugagga eby’omu ggulu, era okijjukire nti abo abataweereza Yakuwa tebalina bintu ebyo. Abantu abasinga obungi abataweereza Yakuwa ekintu kye basinga okutwala ng’ekikulu kwe kuba n’omulimu omulungi, kubanga tebalina ssuubi lya mu biseera eby’omu maaso. Naye ggwe Yakuwa akusuubiza ebintu ebirungi ennyo mu biseera eby’omu maaso. (Zab. 145:16) Ate era, lowooza ku kino: Ddala tumanyi obulamu bwaffe bwe bwandibadde singa twasalawo mu ngeri endala? Naye ekituufu kiri nti: Bw’obaako by’osalawo ng’osinziira ku kwagala kw’olina eri Yakuwa n’eri abalala, ojja kuba n’ebintu ebinaakuyamba okuba n’essanyu erisingayo mu bulamu.
BW’OBA NG’OBUUSABUUSA OBANGA OLI WA MUGASO ERI YAKUWA
14. Abamu ku baweereza ba Yakuwa bali mu mbeera ki, era kibuuzo ki kye bayinza okwebuuza?
14 Abamu ku baweereza ba Yakuwa boolekagana n’ebizibu ebijjawo olw’okukaddiwa, balwadde, oba balina obulemu. Ekyo kiyinza okubaleetera okuwulira nti si ba mugaso eri Yakuwa. Bayinza okwebuuza nti, ‘Ddala nze nkyali wa mugaso eri Yakuwa?’
15. Omuwandiisi wa Zabbuli 71 yali mukakafu ku ki?
15 Omuwandiisi wa Zabbuli 71 yalina endowooza bw’etyo. Yasaba Yakuwa n’amugamba nti: “Tonjabulira ng’amaanyi gampedde.” (Zab. 71:9, 18) Wadde kyali kityo, yali mukakafu nti bwe yandyeyongedde okuweereza Yakuwa n’obwesigwa, Yakuwa yandibadde amuwa obulagirizi era yandimuyambyenga. Ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyo bwe yakitegeera, Yakuwa asanyukira abo abamuweereza n’omutima gwabwe gwonna wadde nga boolekagana n’embeera enzibu.—Zab. 37:23-25.
16. Mu ngeri ki abo abakaddiye gye bali ab’omugaso eri Yakuwa? (Zabbuli 92:12-15)
16 Abakaddiye, mwetunuulire nga Yakuwa bw’abatunuulira. Asobola okubayamba okumuweereza n’obwesigwa wadde nga mwolekagana n’ebizibu ebijjawo olw’obukadde. (Soma Zabbuli 92:12-15.) Mu kifo ky’okussa ebirowoozo byammwe ku bintu bye mutakyasobola kukola, mubisse ku ebyo bye musobola okukola. Ng’ekyokulabirako, musobola okuzzaamu abalala amaanyi nga musigala nga muli beesigwa era nga mubafaako. Musobola okubabuulira engeri Yakuwa gy’azze abayamba emyaka bwe gizze giyitawo, era n’ebintu ebirungi bye mwesunga mu biseera eby’omu maaso. Era temukyerabiranga nti essaala zammwe zisobola okuyamba ennyo abalala. (1 Peet. 3:12) Ka tubeere nga tuli mu mbeera ki, ffenna tulina kye tusobola okuwa Yakuwa n’abalala.
17. Lwaki tetusaanidde kwegeraageranya na balala?
17 Bw’oba ng’owulira bubi olw’okuba tosobola kukola kinene mu buweereza bwo, ba mukakafu nti Yakuwa asiima ekyo kyonna ky’osobola okukola. Oluusi oyinza okwagala okwegeraageranya n’abalala. Naye ekyo kyewale! Lwaki? Kubanga Yakuwa tatugeraageranya na balala. (Bag. 6:4) Ng’ekyokulabirako, Maliyamu yawa Yesu ekirabo eky’amafuta ag’ebbeeyi. (Yok. 12:3-5) Kyokka ate ye nnamwandu omwavu yawaayo ku yeekaalu obusente bubiri obwali obw’omuwendo omutono ennyo. (Luk. 21:1-4) Wadde kyali kityo, ebirabo ebyo byombi abakazi abo bye baawaayo Yesu yabitwala nti byali byoleka okukkiriza okw’amaanyi. Kitaawe, Yakuwa, asiima nnyo ebyo byonna by’okola olw’okukkiriza kw’olina n’olw’okuba omwagala, ka bibe bitono bitya.
18. Kiki ekinaatuyamba okuggwaamu okubuusabuusa? (Laba n’akasanduuko “Ekigambo kya Katonda Kisobola Okukuyamba Okulekera Awo Okubuusabuusa.”)
18 Ffenna oluusi tuba n’okubuusabuusa. Naye nga bwe tulabye, Ekigambo kya Katonda ekyesigika, kisobola okutuyamba okuggwaamu okubuusabuusa. N’olwekyo, fuba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye weebuuza. Ekyo kijja kukuyamba okuggwaamu okubuusabuusa. Mazima ddala, Yakuwa akulaba era akufaako. Asiima ebyo byonna bye weefiiriza okusobola okumuweereza era ajja kukuwa empeera nga bwe yasuubiza. Ba mukakafu nti Yakuwa abaweereza be bonna abaagala nnyo era abafaako.
OLUYIMBA 111 Ebituleetera Essanyu
a EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Mu kitundu kino twogera ku kubuusabuusa okutuleetera okulowooza nti tetuli ba muwendo eri Yakuwa oba nti tetwasalawo mu ngeri ey’amagezi. Kuno si kwe kubuusabuusa okwogerwako mu Bayibuli okulaga nti omuntu takkiririza mu Yakuwa oba mu bisuubizo bye.
b Wadde nga Bayibuli tetubuulira myaka gyennyini Dawudi gye yalina Yakuwa we yamulondera, kirabika yali mu myaka gye egy’obutiini.—Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 1, 2011, lup. 21, kat. 2.