Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Olina Okusalawo Ekituufu n’Ekikyamu

Olina Okusalawo Ekituufu n’Ekikyamu

Emitindo gy’empisa gye tusalawo okutambulirako gijja kutuleetera okuba abasanyufu oba obutaba basanyufu. Ekyo Yakuwa akimanyi, era eyo ye nsonga lwaki ayagala tutambulire ku mitindo gye.

Yakuwa ayagala tube mu mirembe era tube basanyufu.

“Nze Yakuwa, nze Katonda wo, akuyigiriza osobole okuganyulwa, akukulembera mu kkubo ly’osaanidde okukwata. Kale singa ossaayo omwoyo eri ebiragiro byange! Emirembe gyo gijja kuba ng’omugga n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.”—Isaaya 48:​17, 18.

Olw’okuba Yakuwa ye yatutonda, amanyi engeri esingayo obulungi gye tusaanidde okutambuzaamu obulamu bwaffe. Yakuwa ayagala tukolere ku bulagirizi bw’atuwa, kubanga amanyi nti bujja kutuganyula. Bwe tukwata amateeka ga Katonda, tuba bakakafu nti ebinaavaamu bijja kuba birungi. Tujja kuba tusalawo mu ngeri ennungi, era ekyo kijja kutuviirako okuba abasanyufu n’okuba mu mirembe.

Yakuwa tatulagira kukola bye tutasobola.

“Ekiragiro kino kye nkuwa leero si kizibu nnyo gy’oli era tekiri wala.”—Ekyamateeka 30:11.

Okusobola okutambulira ku mitindo gya Katonda egy’empisa, kiyinza okutwetaagisa okukyusa mu ndowooza yaffe n’enneeyisa yaffe. Kyokka Yakuwa tatulagira kukola bye tutasobola. Olw’okuba Yakuwa ye yatutonda, amanyi obusobozi bwaffe we bukoma. Bwe tweyongera okumanya Yakuwa tujja kukiraba nti “ebiragiro bye tebizitowa.”—1 Yokaana 5:3.

Yakuwa asuubiza okuyamba abo abasalawo okutambulira ku mitindo gye.

“Nze Yakuwa Katonda wo, nkwata omukono gwo ogwa ddyo, nze nkugamba nti, ‘Totya. Nja kukuyamba.’”—Isaaya 41:13.

Tusobola okutambulira ku mitindo gya Katonda, kubanga mwetegefu okutuyamba. Asobola okutuyamba ng’ayitira mu Kigambo Kye, Bayibuli, ekituzzaamu amaanyi era ekituwa essuubi.

Abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi, bakizudde nti okukolera ku misingi gya Bayibuli kireetedde obulamu bwabwe okwongera okulongooka. Wandyagadde okwongera okuyiga ku magezi amalungi agali mu Bayibuli? Osobola okutandika ng’osoma akatabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! akeesigamiziddwa ku Bayibuli. Osobola okukafuna ku jw.org ku bwereere. Kalimu amasomo gano wammanga:

  • Bayibuli Eyinza Etya Okukuyamba?

  • Bayibuli Etuwa Essuubi

  • Osobola Okwesiga Bayibuli?

Bw’oneekenneenya ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda, Bayibuli, ojja kukizuula nti ebyo ebikirimu bikyali bya mugaso ne leero era nti “byesigika buli kiseera; byesigika kaakano era n’emirembe n’emirembe.” (Zabbuli 111:8) Okukolera ku mitindo gy’empisa egiri mu Bayibuli kye kikyasinzeeyo obulungi. Wadde kiri kityo, Katonda tatukaka kugikolerako. (Ekyamateeka 30:​19, 20; Yoswa 24:15) Buli omu ku ffe y’alina okwesalirawo.