Beewaayo Kyeyagalire —Mu Bugwanjuba bwa Afirika
OMUVUBUKA omu ayitibwa Pascal eyali abeera mu Côte d’Ivoire era eyakulira mu maka amaavu yali yeegomba okubeerako mu bulamu obulungi. Okuva bwe kiri nti yali ayagala nnyo omuzannyo gw’okukuba ebikonde yayagala okukuguka mu muzannyo ogwo asobole okufuna ssente agaggawale. Bwe yaweza emyaka nga 25, yalowooza ku ky’okugenda e Bulaaya. Naye olw’okuba yali talina biwandiiko bimukkiriza kugenda Bulaaya, yalowooza ku ky’okugendayo mu ngeri emenya amateeka.
Mu 1998, bwe yali nga wa myaka 27, Pascal yatandika olugendo lwe. Yasala ensalo n’ayingira Ghana, ne yeeyongerayo e Togo wuuyo mu Benin, n’atuuka mu kabuga Birni Nkonni ak’omu Niger. Bwe yatuuka mu kabuga ako, yali ayolekedde ekiseera ekizibu ennyo. Okuva awo yali yeetaaga okwerippa ku kiroole ayite mu ddungu Sahara atuuke ku nnyanja Meditereniyani, alinnye eryato asomoke atuuke e Bulaaya. Eyo ye yali enteekateeka ye. Naye bwe yatuuka e Niger waliwo ebintu bibiri ebyamulemesa okweyongerayo.
Ekisooka, ssente zaamuggwaako. Eky’okubiri, yatandika okuyiga Bayibuli ne payoniya omu ayitibwa Noé. Bye yayiga byamukwatako nnyo era ne bimuleetera okukyusa endowooza ye. Mu kifo ky’okweyongera okuluubirira eby’obugagga, yatandika okuluubirira ebintu eby’omwoyo. Pascal yabatizibwa mu Ddesemba 1999. Yasiima nnyo Yakuwa olw’okumuyamba okuyiga amazima era mu 2001, yatandika okuweereza nga payoniya mu Niger, mu kabuga kennyini mwe yayigira amazima. Pascal awulira atya olw’okuweereza nga payoniya? Agamba nti, “Mpulira nga kati obulamu bwange mbukozesa mu ngeri esingayo obulungi!”
OKUWEEREZA MU AFIRIKA KIBALEETEDDE ESSANYU LINGI
Okufaananako Pascal, waliwo ab’oluganda bangi abakirabye nti okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo kivaamu essanyu lingi. Okusobola okutuuka ku biruubirirwa ebyo, ab’oluganda abamu basazeewo okuva e Bulaaya ne bagenda okuweereza mu Afirika awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Mu butuufu, waliwo ab’oluganda nga 65 okuva e Bulaaya, abali wakati w’emyaka 17 ne 70, abaagenda mu nsi eziri mu bugwanjuba bwa Afirika gamba nga Benin, Burkina Faso, Niger, ne Togo, okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. * Kiki ekyabakubiriza okusalawo okugenda mu nsi ezo era mikisa ki gye bafunye?
Anne-Rakel eyava mu Denmark yagamba nti: “Bazadde bange baaweerezaako ng’abaminsani mu Senegal. Baayogeranga bulungi ku buweereza obwo era nange nnayagala okubeera n’obulamu ng’obw’abaminsani.” Emyaka 15 emabega, Anne-Rakel bwe yali nga wa myaka nga 20, yagenda mu Togo n’atandika okuweereza mu kibiina ekikozesa Olulimi lwa bakiggala. Ekyo kye yasalawo okukola kyakwata kitya ku balala? Yagamba nti: “Oluvannyuma muganda wange ne mwannyinaze nabo baasalawo okujja e Togo.”
Aurele, ow’oluganda ow’emyaka 70 eyava e Bufalansa, agamba nti: “Bwe nnawummula ku mulimu emyaka etaano egiyise, nnali nsobola okusalawo okusigala mu Bufalansa okutuusa ensi empya lwe yandizze oba okugenda okuweereza mu nsi awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako.” Aurele yasalawo okugenda okuweereza mu nsi awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Emyaka esatu emabega, Aurele ne mukyala we, Albert-Fayette, baagenda okuweereza mu Benin. Aurele agamba nti: “Okusalawo okuweereza Yakuwa mu nsi eno kye kintu ekisingayo okuba ekirungi kye twali tusazeewo okukola.” Agattako nti: “Ebitundu ebimu bye tubuuliramu ebiri ku lubalama lw’ennyanja bindeetera okulowooza ku nsi empya.”
Clodomir ne mukyala we, Lysiane, baava mu Bufalansa ne bagenda mu Benin era kati bamazeeyo emyaka 16. Mu kusooka baawulira ekiwuubaalo olw’okuba baali balese ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe mu Bufalansa era baali balowooza nti tebandisobodde kumanyiira mbeera ya mu nsi eyo. Naye okuweereza mu nsi eyo kyabaleetera essanyu lingi. Clodomir agamba nti: “Mu myaka 16 gye tumaze wano, okutwalira awamu buli mwaka tusobodde okuyamba omuntu waakiri omu okwewaayo eri Yakuwa.”
Sébastien ne mukyala we Johanna, baava mu Bufalansa ne bagenda okuweereza mu Benin mu 2010. Sébastien agamba nti: “Tulina eby’okukola bingi mu kibiina era tuyize ebintu bingi mu kiseera ekitono kye tumaze wano!” Omulimu gw’okubuulira bagusanze batya? Johanna agamba nti: “Abantu baagala nnyo okuyiga Bayibuli. Ne bwe tuba tetuli mu buweereza bw’ennimiro, abantu batuyimiriza ne batubuuza ebibuuzo ebikwata ku Bayibuli era ne batwala n’ebitabo byaffe.” Ate ekyo kikutte kitya ku bufumbo bwabwe? Sébastien agamba nti: “Kinywezezza obufumbo bwaffe. Kinsanyusa nnyo okumala olunaku lwonna nga mbuulira awamu ne mukyala wange.”
Eric ne mukyala we, Katy, baweereza nga bapayoniya mu bukiikakkono bwa Benin. Emyaka kkumi emabega, bwe baali bakyabeeera mu Bufalansa, baatandika okusoma ebikwata ku kuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako era n’okwogerako n’abo abaali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Ekyo kyabaleetera okwagala okugenda okuweereza mu nsi endala era ekiruubirirwa kyabwe ekyo baakituukako mu 2005. Wabaddewo okukulaakulana kwa maanyi mu kiseera kye bamaze nga baweereza mu Benin. Eric agamba nti: “Emyaka ebiri emabega, ekibinja kye twalimu mu kabuga Tanguiéta kyalimu ababuulizi 9 bokka; naye kati mulimu ababuulizi 30. Ku Ssande, abantu ababaawo mu nkuŋŋaana baba wakati wa 50 ne 80. Ekyo kituleetedde essanyu lingi!”
OKUSOOMOOZA KWE BOOLEKAGANA NAKWO
Kusoomooza ki ab’oluganda abasalawo okugenda okuweerereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako kwe boolekagana nakwo? Benjamin ow’emyaka 33 mwannyina wa Anne-Rakel. Mu 2000, bwe yali mu Denmark yasisinkana omuminsani omu eyali yaweerezaako mu Togo. Benjamin agamba nti: “Bwe nnagamba omuminsani oyo nti nnali njagala kuweereza nga payoniya, yaŋŋamba nti: ‘Osobola okuweereza nga payoniya mu Togo.’” Ekyo Benjamin yatandika okukirowoozaako. Agamba nti: “Mu kiseera ekyo nnali siweza na myaka 20, naye bannyinaze ababiri baali baagenda dda mu Togo nga baweerereza eyo. N’olwekyo, tekyambeerera kizibu kusalawo kugenda kuweerereza mu Togo.” Wadde kyali kityo Benjamin yayolekagana n’okusoomooza okutali kumu. Agamba nti: “Nnali simanyi Lufalansa. Emyezi omukaaga egyasooka tegyali myangu kubanga nnali sisobola kwogera na balala.” Naye oluvannyuma Benjamin yayiga okwogera Olufalansa. Kati aweereza ku Beseri y’omu Benin, mu kitongole ekitambuza ebitabo era ayambako ne mu kitongole kya kompyuta.
Eric ne Katy bwe baali tebannagenda Benin baali baweereza mu kibiina ekyogera olulimi olugwira mu Bufalansa. Naye obulamu bwali butya nga baweereza mu bugwanjuba bwa Afirika? Katy agamba nti: “Tekyali kyangu kufuna wa kusula walungi. Okumala emyezi egiwerako ennyumba gye twasulangamu temwalimu masannyalaze na mazzi.” Eric agamba nti: “Ku muliraano ebidongo byakubanga okutuusa mu ttumbi. Twalina okugumira embeera eyo.” Eric ne Katy bagamba nti: “Essanyu eriva mu kubuulira mu kifo ekitatera kubuulirwamu lisingira wala okusoomooza kwonna kw’oyinza okwolekagana nakwo.”
Emyaka ng’etaano emabega, Michel ne mukyala we Marie-Agnès, nga kati banaatera okuweza emyaka 60, baava mu Bufalansa ne bagenda e Benin. Mu kusooka baalimu okutya. Michel yagamba nti abantu abamu baabagamba nti ekyo kye baali basazeewo okukola kyali kya kabi. Yagattako nti: “Tetwandisobodde kusalawo mu ngeri eyo awatali buyambi bwa Yakuwa. N’olwekyo, twasalawo okugenda e Benin kubanga twali twagala Yakuwa era nga tumanyi nti ajja kutuyamba.”
ENGERI GY’OYINZA OKWETEEKATEEKAMU
Abo abaweerezzaako mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako bagamba nti okusobola okweteekateeka obulungi olina okukola ebintu bino: Baako ssente z’oterekawo. Yiga okutuukana n’embeera. Yiga okukekkereza. Weesige Yakuwa.
Sébastien, agamba nti: “Bwe twali tetunnagenda Benin, nze ne Johanna twatereka ssente okumala emyaka ebiri. Ekyo okusobola okukikola, twakendeeza ku ssente ze twali tusaasaanyiza ku by’okwesanyusaamu ne ku kugula ebintu ebitali bikulu mu bulamu.” Okusobola okweyongera okuweereza nga bapayoniya mu Benin, buli mwaka baddayoko e Bulaaya ne bakola okumala emyezi mitonotono.
Marie-Thérèse y’omu ku bannyinaffe abasoba mu 20 abali obwannamunigina abaweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako mu bugwanjuba bwa Afirika. Yali muvuzi wa bbaasi mu Bufalansa; naye mu 2006 yasaba mukama we amukkirize amale omwaka gumu nga takola asobole okugenda okuweereza nga payoniya mu Niger. Mu kiseera kitono yakiraba nti obwo bwe bulamu bwe yali ayagala okubeeramu. Marie-Thérèse agamba nti: “Bwe nnaddayo mu Bufalansa, nnasaba mukama wange anzikirize okukolangayo emyezi egimu ng’emirala sikola. Kati nkola omulimu gw’okuvuga bbaasi mu Bufalansa okuva mu mwezi gwa Maayi okutuuka mu Agusito, ate okuva mu Ssebutemba okutuuka mu Apuli, mba mpeereza nga payoniya mu Niger.”
Abo ‘abasooka okunoonya Obwakabaka’ Yakuwa abawa “ebintu ebirala byonna” bye beetaaga. (Mat. 6:33) Ng’ekyokulabirako: Lowooza ku Saphira, mwannyinaffe ali obwannamunigina era anaatera okuweza emyaka 30 eyava mu Bufalansa n’agenda okuweereza nga payoniya e Benin. Mu 2011 yaddayoko e Bufalansa okukola ssente ezandimuyambye okweyimirizaawo okumala omwaka omulala (ogw’omukaaga) ng’aweereza mu Afirika. Saphira agamba nti: “Omulimu gwe nnali nkola gwali guggwaako ku Lwokutaano kyokka nga nnali nneetaaga okukolayo ennaku endala kkumi okusobola okuweza ssente ze nnali nneetaaga. Nnali nsigazza wiiki bbiri zokka mu Bufalansa. Nnasaba Yakuwa ne mubuulira ku kizibu kyange. Waayita akaseera katono, ne nfuna essimu okuva mu kampuni nga bantegeeza nti waliwo omukozi atagenda kubaawo okumala wiiki bbiri era nga baagala nkole mu kifo kye.” Ku Bbalaza, Saphira yagenda ku mulimu ogwo asobole okutendekebwa oyo gwe yali agenda okukolerako. Agamba nti: “Kyaneewuunyisa nnyo okukimanya nti oyo gwe nnali ŋŋenda okukolerako yali mukkiriza munnange eyali yeetaaga okuva ku mulimu okumala ennaku kkumi asobole okugenda mu Ssomero lya Bapayoniya! Mukama we yali amugaanye okuva ku mulimu okutuusa ng’afunye omuntu agenda okukola mu kifo kye. Muganda wange oyo yali asabye Yakuwa okumuyamba nga nange bwe nnali nsabye Yakuwa annyambe.”
EKIREETA ESSANYU ERYA NNAMADDALA
Waliwo baganda baffe ne bannyinaffe abaagenda okuweereza mu bugwanjuba bwa Afirika era ne basigalirayo ddala. Ate abalala baaliyoko okumala emyaka mitonotono oluvannyuma ne baddayo mu nsi zaabwe. Naye n’okutuusa leero bakyaganyulwa mu ky’okuba nti baaweerezaako mu nsi omuli obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Bakirabye nti essanyu erya nnamaddala liva mu kuweereza Yakuwa.
^ lup. 6 Ettabi lya Benin lye lirabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi ezo ennya ezoogera olulimi Olufalansa.