Weereza Yakuwa ng’Ennaku Embi Tezinnajja
“Ojjukiranga Omutonzi wo.”
1, 2. (a) Bigambo ki Sulemaani bye yaluŋŋamizibwa okuwandiikira abavubuka? (b) Lwaki ebigambo bya Sulemaani ebyo bikwata ne ku Bakristaayo abali mu myaka 50 n’okusingawo?
YAKUWA yaluŋŋamya Kabaka Sulemaani okuwandiikira abavubuka ebigambo bino: “Ojjukiranga Omutonzi wo mu biro eby’obuvubuka bwo, ennaku embi nga tezinnajja.” “Ennaku embi” Sulemaani ze yayogerako ze ziruwa? Ze nnaku ez’obukadde. Ng’akozesa olulimi olw’akabonero, Sulemaani yayogera ku bizibu ebibaawo mu myaka egy’obukadde: emikono okukankana, okunafuwa amagulu, okuvaamu amannyo, obutalaba bulungi, obutawulira bulungi, envi mu mutwe, n’omugongo okweweta. N’olwekyo, tetusaanidde kulinda kutuuka mu myaka egyo ne tulyoka tulowooza ku ky’okuweereza Yakuwa mu bujjuvu.
2 Abakristaayo bangi batuuka mu myaka 50 n’okusukkawo nga bakyalina amaanyi. Bayinza n’okuba nga balina envi naye nga tebannatuuka mu mbeera ng’eyo Sulemaani gye yayogerako. Olowooza n’Abakristaayo ng’abo abakuze tebasobola kuganyulwa mu bigambo Sulemaani bye yawandiikira abavubuka ebikwata ku ‘kujjukira Omutonzi waabwe’? Naye, ebigambo ebyo birina makulu ki?
3. Kitegeeza ki okujjukira Omutonzi waffe ow’Ekitalo?
Zab. 143:5) Kyokka, okujjukira Omutonzi waffe ow’Ekitalo kizingiramu okulowooza ne ku ebyo by’atwetaagisa. Okufumiitiriza ku bintu ebyo byonna, kitukubiriza okukyoleka nti twagala Omutonzi waffe nga tukola kyonna ekisoboka okumuweereza mu bujjuvu obulamu bwaffe bwonna.
AKAKISA ABAKRISTAAYO ABAKULU KE BALINA
4. Kibuuzo ki Abakristaayo abamaze emyaka mingi nga baweereza Yakuwa kye bayinza okwebuuza, era lwaki?
4 Bw’oba omaze emyaka mingi ng’oweereza Yakuwa, waliwo ekibuuzo ekikulu ky’osaanidde okwebuuza, ‘Nnyinza ntya okukozesa obulamu bwange nga nkyalina ku maanyi?’ Ng’Omukristaayo akuze mu by’omwoyo, olina kinene ky’oyinza okukola okuyamba abalala. Osobola okuyigiriza abato ebintu by’oyize ku Yakuwa. Osobola okuzzaamu abalala amaanyi ng’obabuulira ku mikisa gy’ofunye ng’oweereza Katonda. Ekyo kyennyini Kabaka Dawudi kye yasaba Yakuwa okumusobozesa okukola. Yagamba nti: “Ai Katonda, ggwe wanjigirizanga okuva mu buto bwange . . . Bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, Ai Katonda, tondekanga; okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo, n’obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.”
5. Abakristaayo abakulu bayinza batya okubuulirako abalala ku bintu bye bayize nga baweereza Yakuwa?
5 Osobola otya okubuulirako abalala ku bintu by’oyize mu myaka emingi gy’omaze ng’oweereza Yakuwa? Oyinza okuyita ab’oluganda abakyali abato okukukyalirako n’onyumyako nabo ku bintu ebizimba. Oba oyinza okubuulirako nabo ne basobola okulaba essanyu ly’ofuna ng’oweereza Yakuwa. Eriku yagamba nti: ‘Ennaku ka zoogere, olufulube lw’emyaka ka luyigirize amagezi.’ (Yob. 32:7) Omutume Pawulo yakubiriza abakyala Abakristaayo abakulu okuzzaamu abalala amaanyi nga babateerawo ekyokulabirako ekirungi mu bigambo ne mu bikolwa. Yagamba nti: ‘Abakazi abakulu . . . bayigirizenga ebirungi.’
KY’OYINZA OKUKOLA OKUYAMBA ABALALA
6. Lwaki Abakristaayo abakuze mu myaka ba muwendo nnyo eri abalala?
6 Bw’oba omaze emyaka mingi ng’oweereza Yakuwa, kijjukire nti olina bingi by’osobola okukola okuyamba abalala. Lowooza ku ebyo by’omanyi kati naye nga wali tobimanyi emyaka 30 oba 40 emabega. Kati omanyi engeri y’okukozesaamu emisingi gya Bayibuli mu mbeera ezitali zimu. Olina obumanyirivu bungi mu kuyigiriza abantu Bayibuli. Bw’oba ng’oli mukadde mu kibiina, omanyi engeri ey’okuyambamu ab’oluganda ababa bakutte ekkubo ekyamu. (Bag. 6:1) Oyinza okuba ng’olina obumanyirivu mu kulabirira emirimu gy’ekibiina, mu kulabirira ebitongole ebitali bimu ku nkuŋŋaana ennene, oba mu kulabirira omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Oyinza okuba ng’olina obumanyirivu mu kunnyonnyola abasawo engeri gye basobola okujjanjabamu abantu nga tebakozesezza musaayi. Ne bwe kiba nti omaze ekiseera kitono ng’oyize amazima, olina obumanyirivu mu bulamu. Ng’ekyokulabirako, bw’oba okuzizza abaana, olina obumanyirivu bungi mu nsonga eyo. Abakristaayo abakulu ba muwendo nnyo eri bakkiriza bannaabwe kubanga basobola okubayigiriza, okubawa obulagirizi, n’okubazzaamu amaanyi.
7. Abakristaayo abakulu bayinza batya okutendeka Abakristaayo abakyali abato?
7 Oyinza otya okukozesa obumanyirivu bw’olina okuyamba abalala? Oboolyawo oyinza
OKUWEEREZA AWALI OBWETAAVU OBUSINGAKO
8. Kiki omutume Pawulo kye yeeyongera okukola ne bwe yali ng’akuze mu myaka?
8 Omutume Pawulo yeeyongera okuweereza Katonda n’obunyiikivu ne bwe yali ng’akuze mu myaka. We yaviira mu kkomera e Rooma awo nga mu mwaka gwa 61 E.E., yali amaze emyaka mingi ng’aweereza ng’omuminsani era ng’ayise mu bigezo eby’amaanyi bingi. Yali asobola okusalawo okukkalira mu Rooma n’asigala omwo ng’abuulira. (2 Kol. 11:23-27) Ab’oluganda mu Rooma bandisanyuse nnyo okulaba nga Pawulo asigadde mu Rooma okuweerereza awamu nabo. Naye Pawulo yakiraba nti waaliwo ebitundu ebirala ebyalina obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Ng’ali wamu ne Timoseewo ne Tito, yeeyongera okuweereza ng’omuminsani, era yagenda mu Efeso, mu Kuleete, oboolyawo n’atuuka n’e Makedoni. (1 Tim. 1:3; Tit. 1:5) Tetumanyi obanga yatuuka ne mu Supaniya, naye yali ateekateeka okugendayo.
9. Peetero ayinza kuba nga yagenda ddi okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako? (Laba ekifaananyi ku lupapula 22.)
9 We yagendera okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, omutume Peetero ayinza okuba nga yalina emyaka egisukka mu 50. Lwaki tugamba bwe tutyo? Bwe kiba nti yali yenkana ne Yesu obukulu oba nga yali amusingako katono, yandibadde wa myaka nga 50 mu mwaka gwa 49 E.E. we yabeerera mu lukuŋŋaana awamu n’abatume abalala mu Yerusaalemi. (Bik. 15:7) Nga wayise ekiseera oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olwo, Peetero yagenda okubeera mu Babulooni asobole okubuulira Abayudaaya abangi abaali babeera mu kitundu ekyo. (Bag. 2:9) Ng’ali eyo, Peetero yawandiika ebbaluwa ye eyasooka awo nga mu mwaka gwa 62 E.E. (1 Peet. 5:13) Si kyangu kugenda kubeera mu nsi ndala, naye eky’okuba nti Peetero yali akuze mu myaka tekyamulemesa kuweereza Yakuwa mu bujjuvu.
10, 11. Waayo ekyokulabirako eky’Abakristaayo abaali bakuze mu myaka abaasalawo okugenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako.
10 Leero, waliwo Abakristaayo bangi abali mu myaka 50 n’okusingawo abakirabye nti embeera yaabwe kati ebasobozesa okuweereza Yakuwa mu ngeri esingawo. Abamu basazeewo okugenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Ng’ekyokulabirako, Robert agamba nti: “Mu kiseera nze ne mukyala wange we twasalirawo okugenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, twali mu myaka 50 egy’obukulu. Mutabani waffe omu yekka gwe tulina yali amaze okuva awaka, nga bazadde baffe baafa, ate nga twali tulina ebintu bye tusikidde. Nnakiraba nti singa tutunda ennyumba gye twalimu twandisobodde okusasula amabanja gaffe era ne tufissaawo ssente ze twandikozesezza okutuusa lwe nnanditandise okufuna pensoni yange. Twakitegeerako nti mu Bolivia waaliyo abantu bangi abaali baagala okuyiga Bayibuli ate ng’ebintu mu nsi eyo si bya buseere nnyo. Bwe kityo, twasalawo okugenda okuweereza mu Bolivia. Tekyatwanguyira kumanyiira mbeera y’omu Bolivia. Kumpi buli kimu kyali kya njawulo ku ebyo bye twali tumanyidde mu Amerika. Wadde kyali kityo, okuweereza mu nsi eno kituviiriddemu emikisa mingi.”
11 Robert agattako nti: “Ebiseera byaffe byonna kati tubimalira ku buweereza bwaffe. Abamu ku bantu be twayiga nabo Bayibuli baabatizibwa.
Waliwo ab’omu maka agamu be twayigiriza Bayibuli. Abantu abo baavu nnyo era babeera wala okuva we tukuŋŋaanira. Naye buli wiiki, batindigga olugendo ne bajja mu kibuga mu nkuŋŋaana. Kituleetedde essanyu lingi okulaba ng’ab’omu maka ago bonna bakulaakulana mu by’omwoyo era ng’omwana omukulu mu maka ago aweereza nga payoniya.”OKUBUULIRA ABANTU ABOOGERA OLULIMI OLULALA
12, 13. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri ow’oluganda omu gye yaweerezaamu Yakuwa mu bujjuvu oluvannyuma lw’okuwummuzibwa ku mulimu.
12 Ebibiina ebyogera olulimi olulala biganyulwa nnyo mu kyokulabirako ekirungi ab’oluganda abakuze mu myaka kye bateekawo. Ate era okubuulira abantu aboogera olulimi olulala kivaamu emiganyulo mingi. Ng’ekyokulabirako, Brian enzaalwa ya Bungereza agamba nti: “Bwe nnaweza emyaka 65 nnawummuzibwa ku mulimu, era nze ne mukyala wange obulamu bwali tebukyatunyumira. Abaana baffe baali bakuze nga bavudde awaka ate nga mu kitundu mwe twali tubuulira, kyali kizibu okufuna abantu ab’okuyigiriza Bayibuli. Mu kiseera ekyo, nnasisinkana omuvubuka Omucayina eyali asomera ku yunivasite emu ey’omu Bungereza. Nnamuyita okujja mu nkuŋŋaana zaffe era n’ajja. Nnatandika okumuyigiriza Bayibuli. Oluvannyuma lwa wiiki ntono yatandika okujja mu nkuŋŋaana ne mukwano gwe Omucayina. Oluvannyuma lwa wiiki bbiri, yaleeta n’Omucayina ow’okusatu n’ow’okuna.
13 “Omucayina ow’okutaano bwe yajja era naye n’ansaba okumuyigiriza Bayibuli, nnagamba mu mutima gwange nti, ‘Okuba nti ndi wa myaka 65 tekitegeeza nti sirina kuweereza Yakuwa mu bujjuvu.’ Nnabuuza mukyala wange obanga yandyagadde tuyige Olucayina. Twatandika okuyiga Olucayina era kati wayise emyaka kkumi okuva lwe twatandika okuluyiga. Okubuulira abantu aboogera Olulimi olulala kituleetedde okuwulira nga tuzze buto. Mu kiseera kino, twakayigiriza Abacayina 112 Bayibuli! Bangi ku bo bajjako mu nkuŋŋaana era omu ku bo kati aweereza nga payoniya.”
OKUKOLA EKYO KY’OSOBOLA OKUKOLA
14. Kiki Abakristaayo abakulu kye basaanidde okujjukira, era ekyokulabirako kya Pawulo kiyinza kitya okubazzaamu amaanyi?
14 Wadde nga waliwo Abakristaayo bangi
15. Lwaki Abakristaayo abakaddiye ba muwendo nnyo mu kibiina?
15 Yakuwa era asiima ekyo kyonna ab’oluganda abakaddiye kye basobola okukola nga bamuweereza. Wadde nga Sulemaani yakiraga nti si kyangu muntu kuweereza Yakuwa ng’atuuse mu nnaku embi, Bayibuli eraga nti Yakuwa asiima ekyo kyonna Abakristaayo abakaddiye kye bakola nga bamuweereza. (Luk. 21:2-4) Ab’oluganda mu kibiina basiima nnyo ekyokulabirako ekirungi Abakristaayo abakaddiye kye bateekawo mu kwoleka obwesigwa eri Yakuwa.
16. Nkizo ki Ana z’ayinza okuba nga teyafuna, naye yaweerezanga atya Katonda?
16 Bayibuli eyogera ku mukyala omu ayitibwa Ana eyeeyongera okuweereza Yakuwa okutuukira ddala mu myaka egy’obukadde. Ana yalina emyaka 84 Yesu we baamuzaalira. Kirabika Yesu we yatandikira okukuŋŋaanya abagoberezi be, Ana yali yafa dda era bw’atyo ayinza okuba nga teyafukibwako mwoyo mutukuvu era ayinza okuba nga teyeenyigira mu mulimu ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Kyokka Ana yakolanga ekyo kyonna ky’asobola okuweereza Katonda. Bayibuli egamba nti: ‘Teyayosanga kugenda mu yeekaalu, era yeenyigiranga mu buweereza obutukuvu emisana n’ekiro.’ (Luk. 2:36, 37) Lumu Ana bwe yali agenze ku Yeekaalu, yafuna akakisa okulaba ku Yesu ng’akyali muwere. Ana yabuulira abantu abalala nti Yesu ye yali agenda okuba Masiya era nti ye yali agenda okununula Yerusaalemi.
17. Tuyinza tutya okuyamba bakkiriza bannaffe abakaddiye n’abalwadde okweyongera okuweereza Yakuwa?
17 Ffenna tusaanidde okufaayo ku bakkiriza bannaffe abakaddiye n’abalwadde. Abamu ku bo bandyagadde okubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nkuŋŋaana ennene naye nga tebasobola. Mu bibiina ebimu ab’oluganda bakola enteekateeka okuyamba bakkiriza bannaffe ng’abo okuwulira ebigenda mu maaso mu nkuŋŋaana ku ssimu. Kyokka mu bibiina ebirala ekyo kiyinza obutasoboka. Wadde kiri kityo, Abakristaayo abatasobola kubaawo mu nkuŋŋaana basobola okuwagira okusinza okw’amazima. Ng’ekyokulabirako, basobola okusabira ab’oluganda mu kibiina.
18, 19. (a) Abakristaayo abakaddiye bazzaamu batya abalala amaanyi? (b) Baani abayinza okukolera ku bigambo bino: “Ojjukiranga Omutonzi wo”?
18 Abakristaayo abakaddiye bayinza obutakimanya nti bazzaamu nnyo abalala amaanyi. Ng’ekyokulabirako, wadde nga Ana yali mwesigwa nnyo eri Yakuwa okumala emyaka mingi, ayinza okuba nga teyakirowoozaako nti ekyokulabirako kye kyali kigenda kuwandiikibwako mu Bayibuli era nti n’okutuusa leero kyandibadde kizzaamu abaweereza ba Katonda amaanyi. Mu ngeri y’emu, ab’oluganda tebasobola kwerabira kwagala kw’oyolese eri Yakuwa. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Omutwe oguliko envi ngule ya kitiibwa, [bwe] gunaalabikanga mu kkubo ery’obutuukirivu”!
19 Kyo kituufu nti ffenna tetusobola kukola kye kimu mu buweereza bwaffe eri Yakuwa. Naye abo bonna abakyalina ku maanyi basaanidde okufuba okukolera ku bigambo bino ebyaluŋŋamizibwa: “Ojjukiranga Omutonzi wo . . . ennaku embi nga tezinnajja.”