Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Googi ow’e Magoogi ayogerwako mu kitabo kya Ezeekyeri y’ani?

Okumala emyaka mingi, ebitabo byaffe bibadde bigamba nti Googi ow’e Magoogi lye linnya eriyitibwa Sitaani Omulyolyomi okuva lwe yasuulibwa okuva mu ggulu. Bibadde bigamba bwe bityo olw’okuba ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti Sitaani Omulyolyomi y’awomye omutwe mu kulumba abantu ba Katonda mu nsi yonna. (Kub. 12:1-17) Bwe kityo, kyali kirowoozebwa nti Googi lye linnya eddala ey’obunnabbi eriweebwa Sitaani.

Kyokka ekyo kireetawo ebibuuzo ebikulu. Lwaki? Lowooza ku kino: Ng’ayogera ku kiseera Googi lw’anaawangulwa, Yakuwa agamba Googi nti: “Ndikuwaayo eri ennyonyi ez’amaddu ez’engeri zonna n’eri ensolo ez’omu nsiko okuliibwa.” (Ez. 39:4) Oluvannyuma Yakuwa agattako nti: “Ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky’okuziikamu mu Isiraeri . . . Era baliziika eyo Googi n’olufulube lwe lwonna.” (Ez. 39:11) Naye, ekitonde eky’omwoyo kiyinza kitya okuliibwa ‘ebinyonyi n’ensolo ez’omu nsiko’? Sitaani ayinza atya okuweebwa ‘ekifo eky’okuziikibwamu’ ku nsi? Bayibuli ekiraga bulungi nti Sitaani ajja kusuulibwa mu bunnya amaleyo emyaka 1,000, so si nti ajja kuliibwa oba nti ajja kuziikibwa.Kub. 20:1, 2.

Ebyawandiikibwa biraga nti ku nkomerero y’emyaka 1,000, Sitaani ajja kusumululwa okuva mu bunnya, era nti “aligenda okubuzaabuza amawanga mu nsonda ennya ez’ensi, Googi ne Magoogi, okubakuŋŋaanya awamu okulwana.” (Kub. 20:8) Kati olwo kisoboka Sitaani okubuzaabuza Googi ate nga ye Googi? N’olwekyo, okusinziira ku ebyo ebiri mu bunnabbi bwa Ezeekyeri n’ebyo ebiri mu kitabo ky’Okubikkulirwa, “Googi” si ye Sitaani.

Kati olwo Googi ow’e Magoogi y’ani? Okusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, twetaaga okumanya ekyo Ebyawandiikibwa kye byogera ku ani anaalumba abantu ba Katonda. Bayibuli eyogera ku bulumbaganyi obutali bumu: obulumbaganyi bwa ‘Googi ow’e Magoogi,’ obulumbaganyi bwa “kabaka w’obukiika obwa kkono,” awamu n’obulumbaganyi bwa “bakabaka b’ensi.” (Ez. 38:2, 10-13; Dan. 11:40, 44, 45; Kub. 17:14; 19:19) Kyandiba nti obulumbaganyi obwo bwa njawulo? Kirabika nedda. Bayibuli eyinza okuba ng’eyogera ku bulumbaganyi bwe bumu naye ng’ekozesa amannya ga njawulo. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga Ebyawandiikibwa biraga nti amawanga gonna gajja kwenyigira mu bulumbaganyi obujja okubaawo obunaaviirako olutalo Kalumagedoni.Kub. 16:14, 16.

Bwe tugeraageranya ebyawandiikibwa ebyo byonna ebikwata ku bulumbaganyi obusembayo obunaakolebwa ku bantu ba Katonda, kyeyoleka kaati nti Googi ow’e Magoogi, si ye Sitaani, wabula gwe mukago gw’amawanga. Kyandiba nti “kabaka w’obukiika obwa kkono” y’ajja okukulemberamu omukago ogwo? Ekyo tetukimanyi bulungi. Naye okusinziira ku ebyo Yakuwa by’agamba Googi, kirabika kabaka oyo y’ajja okukulemberamu omukago ogwo. Yamugamba nti: ‘Kale olijja ng’ova mu kifo kyo mu njuyi ez’obukiika obwa kkono ezikomererayo, ggwe n’amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, ekibiina kinene, era eggye ddene.’—Ez. 38:6, 15.

Mu ngeri y’emu, nnabbi Danyeri eyaliwo mu kiseera kye kimu ne Ezeekyeri, yayogera bw’ati ku kabaka ow’ebukiikakkono: “Ebigambo ebiriva mu buvanjuba ne mu bukiika obwa kkono birimweraliikiriza: era alivaayo nga yeejuumudde nnyo okuzikiriza n’okumalirawo ddala abangi. Era alisimba eweema z’olubiri lwe wakati w’ennyanja n’olusozi olw’ekitiibwa olutukuvu: era naye alijja ku nkomerero ye, so tewaliba amuyamba.” (Dan. 11:44, 45) Ebigambo ebyo bikwatagana bulungi n’ebyo ebyogerwa ku Googi mu kitabo kya Ezeekyeri.—Ez. 38:8-12, 16.

Kiki ekiddirira obulumbaganyi obwo obusembayo? Danyeri agamba nti: “Mu biro ebyo Mikayiri [Yesu Kristo] aliyimirira [ku Kalumagedoni], omulangira omukulu ayimiririra [okuva mu 1914] abaana b’abantu bo: era waliba ekiseera eky’okunakuwaliramu [ekibonyoobonyo ekinene], ekitabangawo kasooka wabaawo eggwanga okutuusa ku biro ebyo: era mu biro ebyo abantu bo baliwonyezebwa, buli alirabika nga yawandiikibwa mu kitabo.” (Dan. 12:1) Ekyo omubaka wa Katonda Yesu ky’ajja okukola kyogerwako ne mu Okubikkulirwa 19:11-21.

Kati olwo “Googi ne Magoogi” ayogerwako mu Okubikkulirwa 20:8 y’ani? Mu kugezesebwa okusembayo ku nkomerero y’emyaka 1,000, abo abanaajeemera Yakuwa bajja kweyisa nga ‘Googi ow’e Magoogi,’ nga gano ge mawanga agajja okulumba abantu ba Katonda ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okuggwaako. Ekyo ekijja okutuuka ku mawanga ago kye kijja n’okutuuka ku bantu abo abajeemu. Bajja kuzikirizibwa emirembe gyonna! (Kub. 19:20, 21; 20:9) N’olwekyo, kituukirawo okuba nti abantu abanaajeemera Katonda ku nkomerero y’emyaka 1,000 bayitibwa “Googi ne Magoogi.”

Olw’okuba tufuba okwekenneenya ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda twesunga nnyo okumanya ani anaaba “kabaka w’obukiika obwa kkono.” K’abe ani anaakulemberamu omukago gw’amawanga, tuli bakakafu ku bintu bibiri: (1) Googi ow’e Magoogi n’eggye lye lyonna bajja kuwangulwa era bazikirizibwe; era (2) Kabaka waffe Yesu Kristo ajja kununula abantu ba Katonda abayingize mu nsi empya ey’emirembe.Kub. 7:14-17.