“Mwetaaga Okugumiikiriza”
OLUVANNYUMA lwa Anita * okubatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, omwami we yatandika okumuyigganya ennyo. Anita agamba nti: “Yaŋŋaana okugenda mu nkuŋŋaana n’okwogera ku linnya lya Katonda. Mu butuufu, okwogera obwogezi erinnya lya Yakuwa kyamuleeteranga okusunguwala ennyo n’atabuka.”
Okugatta ku ekyo, omwami wa Anita yali tayagala ayigirize baana baabwe bikwata ku Yakuwa oba okubatwala mu nkuŋŋaana. Ekyo kyali kizibu nnyo eri Anita kubanga yali alina okuyigiriza abaana be naye ng’ekyo akikola mu nkukutu.
Okufaananako Anita, naawe oyinza okuba ng’ab’eŋŋanda zo baagala okukulemesa okuweereza Yakuwa. Oba oyinza okufuna ekizibu ekirala. Oyinza okulwala obulwadde obw’amaanyi, okufiirwa omwana oba munno mu bufumbo, oba omu ku b’eŋŋanda zo ayinza okuva ku Yakuwa. Mu mbeera ng’ezo, kiki ekiyinza okukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa?
Omutume Pawulo yagamba nti: “Mwetaaga okugumiikiriza.” (Beb. 10:36) Naye, kiki ekiyinza okukuyamba okugumiikiriza?
SABA YAKUWA AKUYAMBE
Ekimu ku bintu ebisobola okutuyamba okugumira ebizibu kwe kusaba Yakuwa. Lowooza ku Ana. Lumu ku Bbalaza olw’eggulo, yafuna ekikangabwa. Omwami we, bwe baali baakamala emyaka 30 mu bufumbo, yafa kikutuko. Anna agamba nti: “Omwami wange bwe yagenda ku mulimu, teyakomawo waka. Yali wa myaka 52 gyokka.”
Kiki ekyayamba Ana okuguma? Ana yaddamu okukola era nga bw’aba ku mulimu, aba n’eby’okukola bingi. Wadde kyali kityo, omulimu gwe tegwamalawo nnaku gye yalina ku mutima. Agamba nti: “Nneeyabiza Yakuwa nga mwegayirira annyambe okuguma.” Yakuwa yaddamu okusaba kwe? Yee. Ana agamba nti: “Oluvannyuma lw’okusaba, nnawuliranga emirembe mu mutima. Ndi mukakafu nti Yakuwa ajja kuzuukiza omwami wange.”
Oyo “awulira okusaba” yasuubiza okuwa abaweereza be abeesigwa byonna bye beetaaga okusobola okusigala nga beesigwa gy’ali. (Zab. 65:2) Tekinyweza okukkiriza kwo okukimanya nti Yakuwa mwetegefu okukuyamba? Tekikuzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti naawe osobola okugumiikiriza?
BA N’ENKOLAGANA EY’OKU LUSEGERE NE BAKKIRIZA BANNO
Yakuwa ayamba abantu be ng’ayitira mu kibiina Ekikristaayo. Ng’ekyokulabirako, ab’oluganda mu kibiina ky’e Ssessaloniika bwe baali nga bayigganyizibwa nnyo, Pawulo yabagamba nti: “Mubudaabudaganenga era muzimbaganenga, nga bwe [mubadde] mukola.” (1 Bas. 2:14; 5:11) Okuba nti ab’oluganda mu kibiina ky’e Ssessaloniika baali baagalana era nga bayambagana, kyabayamba okusigala nga beesigwa eri Yakuwa mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo. Okufaananako bakkiriza bannaffe abo, kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa?
Bwe tuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’ab’oluganda mu kibiina kisobola okutuyamba okuzziŋŋanamu amaanyi, naddala mu biseera ebizibu. (Bar. 14:19) Omutume Pawulo naye yafuna ebizibu bingi naye Yakuwa yamuwa amaanyi n’asobola okubigumira. Oluusi, Katonda yazzangamu Pawulo amaanyi ng’ayitira mu bakkiriza banne. Ng’ekyokulabirako, Pawulo bwe yali atumira ab’oluganda mu kibiina ky’e Kkolosaayi yagamba nti: ‘Banzizaamu nnyo amaanyi.’ (Bak. 4:10, 11) Mu butuufu, okwagala kwe baalina eri Pawulo kwabakubiriza okumubudaabuda n’okumuzzaamu amaanyi. Naawe bakkiriza banno mu kibiina bayinza okuba nga baali bakuzizzaamuko ku maanyi.
ABAKADDE BASOBOLA OKUKUYAMBA
Katonda era atuyamba ng’ayitira mu bakadde mu kibiina. Abasajja abo abakuze mu by’omwoyo balinga “ekifo eky’okwekwekamu eri empewo, n’ekiddukiro eri kibuyaga; ng’emigga gy’amazzi mu kifo ekikalu, ng’ekisiikirize ky’olwazi olunene mu nsi ekooyesa.” (Is. 32:2) Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti ab’oluganda abo beetegefu okutuyamba! N’olwekyo, bw’ofuna ebizibu, batuukirire bakuyambe. Basobola okukuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa.
Kya lwatu nti abakadde si bakozi ba byamagero. Abakadde nabo bantu abatatuukiridde, “abalina obunafu” nga ffe. (Bik. 14:15) Wadde kiri kityo, abakadde bwe batusabira, ekyo kisobola okutuzzaamu ennyo amaanyi. (Yak. 5:14, 15) Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu mu Italy amaze ebbanga eddene ng’alina obulwadde obw’amaanyi, yagamba nti: “Okuba nti ab’oluganda banjagala nnyo, banfaako nnyo, era bankyalira obutayosa, kinnyambye okuguma.” Naawe bw’oba ng’olina ekizibu, Yakuwa ayagala osabe abakadde bakuyambe.
BA N’ENTEEKATEEKA ENNUNGI EY’EBY’OMWOYO
Waliwo n’ebintu ebirala ebisobola okutuyamba okugumiikiriza. Ekimu ku byo, kwe kuba n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo. Lowooza ku John ow’emyaka 39, eyalwala obulwadde bwa kkansa. Agamba nti: “Nnawulira nga tekyali kya bwenkankya nze okulwala obulwadde obwo kubanga nnali nkyali muto.” Mu kiseera ekyo, mutabani wa John yalina emyaka esatu. John agamba nti: “Ekyo kyali kitegeeza nti kati mukyala wange yalina okulabirira mutabani waffe, okundabirira, ng’okwo kw’otadde n’okuntwalanga mu ddwaliro buli kiseera.” Eddagala lye baamukuba okukkakkanya kkansa lyamunafuya nnyo. Kyokka waliwo n’ekizibu ekirala ekyajjawo. Kitaawe wa John naye yalwala nnyo era nga naye yeetaaga okulabirirwa.
John n’ab’omu maka ge baasobola batya okwaŋŋanga embeera eyo enzibu? Agamba nti: “Wadde nga nnabeeranga munafu nnyo, nnakakasanga nti tunywerera ku nteekateeka yaffe ey’eby’omwoyo ng’amaka. Tetwayosanga kugenda mu nkuŋŋaana, kubuulira, n’okuba n’okusinza kw’amaka ne bwe kyabanga ekizibu ennyo okukola.” Mu butuufu, John akirabye nti okuba n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo n’okuginywererako, naddala mu biseera ebizibu, kimuyambye okugumira ebizibu. Magezi ki g’awa abo aboolekagana n’embeera enzibu? Agamba nti: “Wadde nga mu kusooka ebizibu biyinza okututiisa era ne bitweraliikiriza nnyo, Yakuwa atwagala nnyo era asobola okutuwa amaanyi ge twetaaga okubigumira.”
Tewali kubuusabuusa nti Katonda asobola okutuyamba okugumira embeera enzibu yonna gye tuyinza okwolekagana nayo mu kiseera kino oba mu biseera eby’omu maaso. N’olwekyo, ka bulijjo tusabe Yakuwa atuyambe okugumira ebizibu, ka tufube okunyweza enkolagana yaffe ne bakkiriza bannaffe, ka tusabe abakadde batuyambe, era ka tufube okuba n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo. Bwe tunaakola bwe tutyo, kijja kulaga nti tutegeera amakulu g’ebigambo bya Pawulo bino: “Mwetaaga okugumiikiriza.”
^ lup. 2 Amannya agamu gakyusiddwa.