Obadde Okimanyi?
Isiraeri ey’edda yalimu ebibira bingi nga Bayibuli bw’ekiraga?
BAYIBULI egamba nti ebitundu ebimu eby’Ensi Ensuubize byalimu ebibira n’emiti mingi nnyo. (Yos. 17:15, 18; 1 Bassek. 10:27) Kyokka, abantu abamu bwe batunuulira ebitundu ebisinga obungi mu nsi eyo leero, beebuuza obanga ddala ebyo Bayibuli by’eyogera bituufu.
Ekitabo ekiyitibwa Life in Biblical Israel kigamba nti “ebibira ebyali mu Isiraeri mu biseera by’edda byali bigazi okusinga bwe kiri leero.” Ensozi z’omu Isiraeri okusingira ddala zaaliko emiti gya falaawo (Pinus halepensis), emiti gy’emiyovu (Quercus calliprinos), n’emiti gy’emyera (Pistacia palaestina). Mu Sefera, ekitundu eky’ensozi ekiri wakati w’ensozi za Yuda n’Ennyanja Meditereniyani, waaliyo emiti gy’emisukamooli (Ficus sycomorus) mingi.
Ekitabo ekiyitibwa Plants of the Bible kigamba nti ebitundu ebimu ebya Isiraeri tebikyalimu miti. Lwaki? Nga kiraga nti emiti egyali mu bitundu ebyo gyagenda gisaanyizibwawo mpolampola, ekitabo ekyo kigamba nti: “Abantu bagenze nga basaanyaawo ebibira okusobola okufuna aw’okulimira, aw’okulundira, eby’okuzimbisa, n’enku.”