Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kirage nti Osiima Ebyo Yakuwa by’Atukoledde

Kirage nti Osiima Ebyo Yakuwa by’Atukoledde

YAKUWA KATONDA mugabi nnyo. (Yak. 1:17) Ekyo tukirabira ku bintu ebingi ennyo bye yakola ebiri mu bwengula n’ebyo ebiri ku nsi.—Zab. 65:12, 13; 147:7, 8; 148:3, 4.

Omuwandiisi wa Zabbuli yasiima nnyo ebyo Omutonzi we bye yakola n’atuuka n’okuyiiya oluyimba olumutendereza. Soma Zabbuli 104, olabe obanga naawe okkiriziganya n’ebigambo bye. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Naayimbiranga Mukama nga nkyali mulamu: Naayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyaliwo.” (Zab. 104:33) Naawe ekyo ky’oyagala okukola?

YAKUWA Y’ASINGAYO OKUBA OMUGABI

Yakuwa ayagala tumukoppe mu kwoleka omwoyo omugabi. Era atubuulira ensonga lwaki tusaanidde okwoleka omwoyo omugabi. Yaluŋŋamya omutume Pawulo okuwandiika nti: “Lagira abagagga ab’omu nteekateeka y’ebintu eno obuteegulumiza, era n’obutateeka ssuubi lyabwe mu by’obugagga ebitali bya lubeerera, wabula mu Katonda atuwa byonna mu bungi olw’okutusanyusa; bakolenga ebirungi, babenga bagagga mu bikolwa ebirungi, bagabenga, bagabane n’abalala, nga beeterekera eby’obugagga, kwe kugamba, omusingi omulungi gwe balizimbako mu biseera eby’omu maaso, basobole okunyweza obulamu obwa nnamaddala.”—1 Tim. 6:17-19.

Mu bbaluwa ey’okubiri Pawulo gye yawandiikira ekibiina ky’e Kkolinso, yalaga endowooza ennuŋŋamu gye tulina okuba nayo ku kugaba. Yagamba nti: “Buli muntu akole nga bw’amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaku oba olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” (2 Kol. 9:7) Oluvannyuma, Pawulo yalaga emiganyulo egiva mu kwoleka omwoyo omugabi: kiganyula abo ababa baweereddwa n’abo ababa bawaddeyo.—2 Kol. 9:11-14.

Pawulo era yayogera ku kintu ekisingayo okwoleka nti Katonda mugabi. Yagamba nti: “Katonda yeebazibwe olw’ekirabo kye ekitalojjeka.” (2 Kol. 9:15) Ekirabo ekyo kizingiramu ebintu byonna Katonda by’awadde abantu be okuyitira mu Yesu Kristo. Ekirabo ekyo kya muwendo nnyo ne kiba nti tekirojjeka.

Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima Yakuwa n’Omwana we olw’ebyo bye batukoledde n’ebyo bye bajja okutukolera mu biseera eby’omu maaso? Engeri emu ekyo gye tuyinza okukikolamu, kwe kuwaayo ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe okuwagira okusinza okw’amazima, ka tube nga tulina bingi oba bitono.—1 Byom. 22:14; 29:3-5; Luk. 21:1-4.