Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Oyagala “Muntu Munno nga Bwe Weeyagala Wekka”?

Oyagala “Muntu Munno nga Bwe Weeyagala Wekka”?

“Oteekwa okwagala muntu munno nga bwe weeyagala wekka.”—MAT. 22:39.

ENNYIMBA: 73, 36

1, 2. Ebyawandiikibwa biraga bitya obukulu bw’okwoleka okwagala?

OKWAGALA ye ngeri ya Yakuwa esingayo obukulu. (1 Yok. 4:16) Yakuwa yasooka kutonda Yesu, era Yesu yamala emyaka butabalika nga yeetegereza engeri Yakuwa gye yali ayolekamu okwagala kwe. (Bak. 1:15) Yesu ayolese okwagala ng’okwa Yakuwa obulamu bwe bwonna, mu ggulu ne bwe yali wano ku nsi. N’olwekyo, tusobola okuba abakakafu nti bulijjo Yakuwa ne Yesu bajja kutufuga mu ngeri ey’okwagala.

2 Bwe yabuuzibwa tteeka ki erisingayo obukulu, Yesu yagamba nti: “‘Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ Lino lye tteeka erisinga obukulu mu gonna era lye lisooka. Ery’okubiri eririfaanana lye lino, ‘Oteekwa okwagala muntu munno nga bwe weeyagala wekka.’”—Mat. 22:37-39.

3. ‘Muntu munnaffe’ y’ani?

3 Weetegereze nti Yesu bwe yamala okugamba nti tulina okwagala Yakuwa, era yagamba nti tulina n’okwagala muntu munnaffe. Ekyo kiraga nti kikulu okulaga bantu bannaffe okwagala. Naye ‘muntu munnaffe’ y’ani? Bw’oba omufumbo, munno asooka ye mwami wo oba mukyala wo. Bannaffe abalala be bakkiriza bannaffe. Ate era mu bantu bannaffe muzingiramu n’abo be tusanga nga tubuulira. Abaweereza ba Yakuwa era abagoberezi ba Kristo, bayinza batya okulaga bantu bannaabwe okwagala?

OKULAGA MUNNAFFE MU BUFUMBO OKWAGALA

4. Wadde nga tetutuukiridde, lwaki tusobola okuba n’obufumbo obw’essanyu?

4 Yakuwa yatandikawo enteekateeka y’obufumbo bwe yatonda Adamu ne Kaawa era n’abagatta. Yali ayagala babeere n’obufumbo obunywevu era obw’essanyu, era ng’ayagala bazaale bajjuze ensi. (Lub. 1:27, 28) Naye bwe baajeemera Katonda, kyaleetawo ebizibu eby’amaanyi mu bufumbo bwabwe era kyaviirako abaana baabwe okusikira ekibi n’okufa. (Bar. 5:12) Wadde kiri kityo, Ebyawandiikibwa bitubuulira kye tuyinza okukola okusobola okuba n’obufumbo obw’essanyu. Birimu amagezi agasingayo obulungi kubanga Yakuwa Katonda, Oyo eyatandikawo obufumbo, ye yaluŋŋamya abo abaabiwandiika.—Soma 2 Timoseewo 3:16, 17.

5. Lwaki okwagala kukulu nnyo mu bufumbo?

5 Ekigambo kya Katonda kiraga nti okwagala kusobozesa abantu okuba n’enkolagana ennungi ne bantu bannaabwe. Bwe kityo bwe kiri ne bwe kituuka ku bufumbo. Omutume Pawulo yagamba nti: “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekukwatibwa buggya, tekwewaana, tekwegulumiza, tekweyisa mu ngeri etasaana, tekwenoonyeza byakwo, tekunyiiga era tekusiba kiruyi. Tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n’amazima. Kugumira ebintu byonna, kukkiriza ebintu byonna, kusuubira ebintu byonna, kugumiikiriza ebintu byonna. Okwagala tekulemererwa.” (1 Kol. 13:4-8) Abafumbo bwe bafumiitiriza ku bigambo ebyo era ne babikolerako, kyongera essanyu mu bufumbo bwabwe.

Ekigambo kya Katonda kiraga ebyo ebisobozesa obufumbo okubaamu essanyu (Laba akatundu 6, 7)

6, 7. (a) Kiki Bayibuli ky’eyogera ku nteekateeka y’obukulembeze? (b) Omusajja Omukristaayo asaanidde kuyisa atya mukazi we?

6 Yakuwa yassaawo enteekateeka ey’obukulembeze, erina okugobererwa ne mu maka. Pawulo yagamba nti: “Njagala mumanye nti omutwe gw’omusajja ye Kristo; ate omutwe gw’omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.” (1 Kol. 11:3) Naye okuba nti omusajja gwe mutwe gw’amaka tekitegeeza nti alina okukajjala ku b’omu maka ge oba okubayisa obubi. Yakuwa ataddewo ekyokulabirako ekirungi mu ngeri gy’akozesaamu obuyinza bwe, ng’omutwe gwa Yesu. Ayisa bulungi Yesu, era Yesu yagamba nti: “Njagala Kitange.” (Yok. 14:31) Kya lwatu nti Yesu teyandyogedde bigambo ebyo singa Yakuwa yali akozesa bubi obuyinza bwe era ng’amuyisa bubi.

7 Wadde ng’omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, Bayibuli emulagira okuwa mukazi we ekitiibwa. (1 Peet. 3:7) Engeri emu omusajja gy’ayinza okukiraga nti awa mukazi we ekitiibwa, kwe kufaayo ku byetaago bye n’okukulembeza by’ayagala mu bintu ebimu. Mu butuufu, Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Abaami mwagalenga bakazi bammwe nga Kristo bwe yayagala ekibiina ne yeewaayo ku lwakyo.” (Bef. 5:25) Yesu yatuuka n’okuwaayo obulamu bwe ku lw’abagoberezi be. Omwami bw’akoppa engeri Yesu gy’akozesaamu obuyinza bwe, kyanguyira mukyala we okumwagala, okumussaamu ekitiibwa, n’okumugondera.—Soma Tito 2:3-5.

YAGALA BAKKIRIZA BANNO

8. Abaweereza ba Yakuwa basaanidde kuyisa batya bakkiriza bannaabwe?

8 Leero waliwo abaweereza ba Yakuwa bangi okwetooloola ensi yonna era bamanyisa abalala ebikwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye. Buli omu ku baweereza ba Yakuwa asaanidde kuyisa atya bakkiriza banne? Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Tukolerenga bonna ebirungi naye okusingira ddala abo be tuli nabo mu kukkiriza.” (Bag. 6:10; soma Abaruumi 12:10.) Omutume Peetero yagamba nti: “Kaakano nga bwe mumaze okutukuza obulamu bwammwe nga mugondera amazima era ng’ekyo kibaviiriddeko okuba n’okwagalana okw’ab’oluganda okutaliimu bukuusa, kale mwagalane nnyo okuviira ddala ku mutima.” Peetero era yagamba bakkiriza banne nti: “N’okusinga byonna, mwagalanenga nnyo.”—1 Peet. 1:22; 4:8.

9, 10. Lwaki abantu ba Katonda bali bumu?

9 Olw’okuba abaweereza ba Yakuwa mu nsi yonna twagalana, kitufuula ab’enjawulo ku bantu abalala. Ate era olw’okuba twagala Yakuwa era tugondera amateeka ge, atuwa omwoyo gwe omutukuvu. Ekyo kitusobozesa okuba obumu mu nsi yonna.—Soma 1 Yokaana 4:20, 21.

10 Ng’alaga ensonga lwaki kikulu Abakristaayo okwagalana, Pawulo yawandiika nti: “Mwambale obusaasizi, ekisa, okwewombeeka, obuteefu n’okugumiikiriza. Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne. Era nga Yakuwa bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo. Naye, ku ebyo byonna, mwambale okwagala kubanga kwe kunywereza ddala obumu.” (Bak. 3:12-14) Nga kitusanyusa nnyo okuba nti twagalana wadde nga tuva mu mbeera za njawulo ne mu mawanga ga njawulo!

11. Okuba nti abaweereza ba Yakuwa baagalana era bali bumu kiraga ki?

11 Okuba nti abaweereza ba Yakuwa baagalana era bali bumu, kiraga nti be bali mu ddiini ey’amazima. Yesu yagamba nti: “Ku kino bonna kwe bajja okutegeerera nti muli bayigirizwa bange bwe munaayagalananga.” (Yok. 13:34, 35) Ate omutume Yokaana yawandiika nti: “Abaana ba Katonda n’abaana b’Omulyolyomi balabikira ku kino: Omuntu yenna atakola bya butuukirivu tava eri Katonda, era n’oyo atayagala muganda we. Buno bwe bubaka bwe mwawulira okuva ku lubereberye, nti tusaanidde okwagalana.” (1 Yok. 3:10, 11) Okuba nti Abajulirwa ba Yakuwa baagalana era bali bumu kiraga nti be bagoberezi ba Kristo ab’amazima, Katonda b’akozesa okutuukiriza ekigendererwa kye eky’okuba nti amawulire amalungi gabuulirwa mu nsi yonna.—Mat. 24:14.

OKUKUŊŊAANYA ‘AB’EKIBIINA EKINENE’

12, 13. Kiki ‘ab’ekibiina ekinene’ kye bakola leero, era kiki Yakuwa ky’anaatera okubakolera?

12 Abaweereza ba Yakuwa abasinga obungi ba ‘kibiina kinene era bava mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi.’ ‘Bayimiridde mu maaso g’entebe ya Katonda ey’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga,’ Yesu Kristo. Ab’ekibiina ekinene be baani? ‘Bano be bayita mu kibonyoobonyo ekinene, era aboozezza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga,’ nga bakyoleka nti bakkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu. ‘Ab’ekibiina ekinene’ baagala nnyo Yakuwa n’Omwana we era ‘baweereza Katonda emisana n’ekiro.’—Kub. 7:9, 14, 15.

13 Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kuzikiriza ensi eno embi mu ‘kibonyoobonyo ekinene.’ (Mat. 24:21; soma Yeremiya 25:32, 33.) Naye olw’okuba Yakuwa ayagala nnyo abaweereza be, ajja kubakuuma ng’ekibiina era abayingize mu nsi ye empya. Nga bwe kyalagulwa emyaka nga 2,000 emabega, Katonda “alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era tewalibaawo kufa nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba newakubadde obulumi.” Weesunga okubeera mu nsi empya ‘ng’ebintu eby’olubereberye biweddewo’?—Kub. 21:4.

14. Ab’ekibiina ekinene benkana wa leero?

14 Ennaku ez’enkomerero bwe zaali zaakatandika mu 1914, waaliwo abaweereza ba Yakuwa batono nnyo mu nsi yonna. Okwagala kwe baalina eri bantu bannaabwe n’obuyambi Katonda bwe yabawa okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu, byayamba Abakristaayo abaafukibwako amafuta abatono abaaliwo mu kiseera ekyo okubuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi ag’Obwakabaka, wadde ng’embeera yali nzibu nnyo. N’ekivuddemu, ab’ekibiina ekinene abalina essuubi ery’okubeera ku nsi bakuŋŋaanyiziddwa. Leero, waliwo Abajulirwa ba Yakuwa nga 8,000,000 mu bibiina ebisukka mu 115,400 okwetooloola ensi yonna, era omuwendo ogwo gweyongera okulinnya buli lukya. Ng’ekyokulabirako, mu mwaka gw’obuweereza 2014, abantu abasukka mu 275,500 be baabatizibwa, kwe kugamba, abantu nga 5,300 be baabatizibwanga buli wiiki.

15. Omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka gutuuse wa leero?

15 Omulimu gw’okubuulira gukulaakulanye nnyo leero. Kati ebitabo byaffe ebinnyonnyola Bayibuli bikubibwa mu nnimi ezisukka mu 700. Kopi z’Omunaala gw’Omukuumi ezisukka mu 52,000,000 ze zikubibwa mu kyapa buli mwezi mu nnimi 247, era ye magazini esingayo okukubibwa mu kyapa mu nsi yonna. Ate era kopi ezisukka mu 200,000,000 ez’akatabo Kiki Ddala Baibuli ky’Eyigiriza? ke tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli zikubiddwa mu nnimi ezisukka mu 250.

16. Lwaki wabaddewo okukulaakulana kwa maanyi mu kitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa?

16 Okukulaakulana okwo kubaddewo olw’okuba twesiga Yakuwa awamu n’Ekigambo kye, Bayibuli, ekyaluŋŋamizibwa. (1 Bas. 2:13) Mu butuufu, kyewuunyisa nnyo okulaba okukulaakulana okw’amaanyi bwe kutyo mu bantu ba Yakuwa, naddala bw’olowooza ku ky’okuba nti “katonda ow’enteekateeka y’ebintu eno,” Sitaani, tabaagala era abayigganya.—2 Kol. 4:4.

BULIJJO LAGA ABALALA OKWAGALA

17, 18. Abaweereza ba Katonda basaanidde kuyisa batya abo abatali bakkiriza?

17 Abaweereza ba Yakuwa basaanidde kuyisa batya abantu abatasinza Katonda omu yekka ow’amazima? Bwe tuba tubuulira tusanga abantu abatuyisa mu ngeri ezitali zimu: abamu batuyisa bulungi ate abalala batuyisa bubi. Kyokka abantu ka babe nga batuyisizza batya, Ekigambo kya Katonda kiraga engeri abaweereza ba Katonda gye balina okweyisaamu. Kigamba nti: “Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa, era nga binoze omunnyo, musobole okumanya engeri gye musaanidde okuddamu buli muntu.” (Bak. 4:6) Olw’okuba twagala bantu bannaffe, tufuba okubabuulira ebikwata ku ssuubi lyaffe nga twogera nabo mu ngeri ‘ey’obukkakkamu era nga tubassaamu ekitiibwa.’—1 Peet. 3:15.

18 Tukiraga nti twagala bantu bannaffe ne bwe kiba nti abo be tuba tusanze bagaana obubaka bwaffe oba batuyisa bubi. Tufuba okukoppa Yesu. Bayibuli egamba nti: “Bwe yavumibwa ye teyavuma. Bwe yali abonaabona teyatiisatiisa, naye yeewaayo eri [Yakuwa] asala omusango mu butuukirivu.” (1 Peet. 2:23) Ka tube nga tuli ne bakkiriza bannaffe oba n’abantu abalala, twoleka obwetoowaze nga tukolera ku bigambo bino: “Temukola muntu kibi olw’okuba abakoze ekibi oba okuvuma oyo abavumye. Naye [mwogere] naye bulungi.”—1 Peet. 3:8, 9.

19. Tusaanidde kuyisa tutya abalabe baffe?

19 Obwetoowaze butuyamba okukolera ku musingi omukulu ennyo Yesu gwe yassaawo. Mu kubuulira kwe okw’oku Lusozi, Yesu yagamba nti: “Mwawulira bwe kyagambibwa nti, ‘Olina okwagala munno naye okyawe omulabe wo.’ Naye mbagamba nti: Mweyongere okwagala abalabe bammwe era n’okusabira abo ababayigganya; mulyoke mubeere abaana ba Kitammwe ali mu ggulu, olw’okuba omusana gwe agwakiza abalungi n’ababi era enkuba ye agitonyeseza abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Mat. 5:43-45) Abaweereza ba Katonda tulina ‘okwagala abalabe baffe,’ ka babe nga batuyisizza batya.

20. Kiki ekiraga nti mu nsi empya, abantu bonna bajja kuba baagala Yakuwa ne bantu bannaabwe? (Laba ekifaananyi ku lupapula 21.)

20 Mu byonna bye boogera ne mu bye bakola, abaweereza ba Yakuwa balina okukyoleka nti baagala Yakuwa ne bantu bannaabwe. Ng’ekyokulabirako, ne bwe kiba nti abantu abamu baba bagaanye okukkiriza obubaka bwaffe, tubayamba nga bali mu bwetaavu. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Temubanga na bbanja eri omuntu yenna, wabula mwagalanenga; kubanga oyo ayagala muntu munne aba atuukirizza amateeka. Kubanga amateeka gano: ‘Toyendanga, Tottanga, Tobbanga, Teweegombanga,’ n’amalala gonna, gagattibwa mu bigambo bino: ‘Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.’ Omuntu alina okwagala takola munne kibi; n’olwekyo okwagala kutuukiriza amateeka.” (Bar. 13:8-10) Abaweereza ba Yakuwa tufuba okwoleka okwagala okwa nnamaddala mu nsi eno efugibwa Sitaani era omuli abantu abatali bumu, abakambwe, era ababi. (1 Yok. 5:19) Oluvannyuma lwa Yakuwa okuggyawo Sitaani, badayimooni, n’abantu ababi, abantu bonna ku nsi bajja kuba booleka okwagala. Nga kijja kuba kya ssanyu nnyo okulaba ng’abantu bonna ku nsi baagala Yakuwa ne bantu bannaabwe!