Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Nnafuna Emirembe ne Katonda era ne Maama Wange

Nnafuna Emirembe ne Katonda era ne Maama Wange

MAAMA yambuuza nti: “Lwaki ogaanye okusinza bajjajjaffe? Tokimanyi nti be bakusobozesa okuba omulamu? Lwaki tosiima ebyo bye bakukoledde? Oyinza otya okudibaga eby’obuwangwa ebibaddewo emyaka n’emyaka? Okugaana okussa ekitiibwa mu bajjajjaffe obanga agamba nti eddiini yaffe tegasa.” Oluvannyuma lw’okwogera ebigambo ebyo maama yatulika n’akaaba.

Kyanneewuunyisa nnyo maama okwogera ebigambo ebyo. Emyezi mitono emabega ye yali agambye Abajulirwa ba Yakuwa okunsomesa Bayibuli, wadde ng’ekyo yakikola lwa kwagala kubeggyako. Bulijjo nnalinga ŋŋondera maama, naye ku luno kyanzibuwalira okumugondera. Nnali sisobola kumugondera kubanga nnali njagala kusanyusa Yakuwa. Awatali buyambi bwa Yakuwa ekyo sandisobodde kukikola.

NFUUKA OMUKRISTAAYO

Okufaananako abantu abasinga obungi mu Japan, twali ba nzikiriza ya Bbuda. Naye oluvannyuma lw’okumala emyezi ebiri gyokka nga nsoma n’Abajulirwa ba Yakuwa nnakiraba nti Bayibuli ntuufu. Bwe nnakimanya nti nnina Kitange ow’omu ggulu nnayagala nnyo okumumanya. Nze ne maama kyatusanyusanga nnyo okunyumya ku bintu bye nnali njiga. Nnatandika okugendanga mu nkuŋŋaana buli lwa Ssande ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Bwe nneeyongera okuyiga ebisingawo, nnagamba maama nti nnali sikyasobola kweyongera kusinziza mu ddiini ya Bbuda. Ekyo olwakimugamba, n’akyukirawo. Yagamba nti: “Kivve okubeera n’omuntu mu maka gaffe atayagala bajjajjaffe.” Yaŋŋamba ndekere awo okusoma Bayibuli n’okugenda mu nkuŋŋaana. Nnali sikirowoozangako nti maama asobola okwogera ebigambo ng’ebyo! Yali afuuse muntu mulala nnyo.

Taata naye yadda ku ludda lwa maama. Okusinziira ku Abeefeso essuula 6, nnakiraba nti Yakuwa ayagala ŋŋondere bazadde bange. Mu kusooka, nnalowooza nti singa nkola ekyo maama ne taata kye baali baŋŋambye, ekiseera kyandituuse nabo ne banzikiriza okukola kye nnali njagala. Ate era mu kiseera ekyo ebibuuzo ku ssomero byali bisembedde era nga nneetaaga okubyetegekera. N’olwekyo, nnakiriza okukola kye baŋŋamba okumala emyezi esatu, naye nnasuubiza Yakuwa nti nnali nja kuddamu okugenda mu nkuŋŋaana ng’ekiseera ekyo kiweddeko.

Ekyo kye nnasalawo okukola kyavaamu obuzibu bwa mirundi ebiri. Obusooka, nnali ndowooza nti emyezi egyo esatu we gyandigwereddeko, okwagala kwe nnalina okw’okuweereza Yakuwa kwandibadde kukyali kwa maanyi. Naye mu kaseera katono, nnatandika okuwulira ng’enkolagana yange ne Yakuwa enafuye. Obw’okubiri, maama ne taata beeyongera bweyongezi kunziyiza n’okukakasa nti ndekera awo okuweereza Yakuwa.

NFUNA OBUYAMBI NGA NJIGGANYIZIBWA

Mu nkuŋŋaana, nnayogerako n’ab’oluganda bangi abaali boolekagana n’okuyigganyizibwa okuva mu b’eŋŋanda zaabwe. Bankakasa nti Yakuwa yali ajja kunnyamba. (Mat. 10:34-37) Bannyamba okukiraba nti singa nsigala nga ndi mwesigwa eri Yakuwa, ekyo kyali kiyinza n’okuyamba ab’eŋŋanda zange okuyiga amazima. Nnakiraba nti nnali nneetaaga okwongera okwesiga Yakuwa, era bwe kityo, nnanyiikirira okusaba.

Nnayolekagana n’okuyigganyizibwa okutali kumu awaka. Maama yanneegayiriranga ndekere awo okuyiga Bayibuli era n’abaako n’ensonga z’ampa. Emirundi mingi nnasalangawo okusirika. Bwe nnagezangako okwogera, twesanganga tuyombye buyombi, nga buli omu agezaako okulaga nti ye mutuufu. Naye kati nkiraba nti singa nnali nfaayo ku nneewulira za maama, oboolyawo embeera teyandyonoonese kutuuka ku ekyo. Bazadde bange bampanga emirimu mingi basobole okunnemesa okuva awaka. Ate ebiseera ebimu banzigaliranga ebweru era ne bagaana n’okumpa emmere.

Maama yagezaako okuddukira eri abalala bamuyambe. Yayogerako n’omusomesa wange, naye omusomesa oyo n’agaana okweyingiza mu nsonga ezo. Maama yantwala n’ewa mukama we ku mulimu mukama we asobole okummatiza nti eddiini zonna tezirina makulu. Era maama yakubiranga essimu ab’eŋnanda zaffe abatali bamu ng’eno bw’akaaba n’abasaba bamuyambe. Ekyo kyampisanga bubi nnyo. Naye bwe nnagendanga mu nkuŋŋaana abakadde bannyambanga okukiraba nti abantu abo maama be yali akubira amasimu yali abawa obujulirwa mu butali bugenderevu.

Ekiseera kyatuuka, ensonga y’okugenda ku yunivasite nayo n’ejjawo. Bazadde bange baali baagala nfune obuyigirize bwa yunivasite nga balowooza nti ekyo kyandinnyambye okufuna omulimu omulungi. Naye olw’okuba nnakiraba nti okwogera obutereevu ne bazadde bange kyali kiyinza okuvaamu obuzibu, nnasalawo okubawandiikira ebbaluwa ne mbategeeza ebiruubirirwa byange. Taata yanyiiga nnyo n’aŋŋamba nti: “Bw’oba olowooza nti osobola okufuna omulimu, gufune enkya era ove mu maka gange.” Nnasaba Yakuwa ne mmutegeeza ensonga eyo. Ku lunaku olwaddako, bwe nnali ŋŋenze okubuulira, bakkiriza bannange babiri ab’enjawulo bantuukirira ne bansaba okubasomesezaako abaana baabwe. Ekyo tekyasanyusa taata era yalekera awo okwogera nange n’atandika n’okunneewalira ddala. Maama yaŋŋamba nti kyandisinzeeko nze okubeera omumenyi w’amateeka mu kifo ky’okubeera Omujulirwa wa Yakuwa.

Yakuwa yannyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu n’okumanya eky’okukola

Oluusi nneebuuzanga obanga ddala Yakuwa yali ayagala njeemere bazadde bange okutuuka ku ekyo. N’olwekyo, nnasaba nnyo Yakuwa era ne nfumiitiriza ku byawandiikibwa ebitali bimu ebyogera ku kwagala kw’alina gye tuli. Ekyo kyannyamba okutunuulira okuyigganyizibwa okwo mu ngeri entuufu n’okukiraba nti bazadde bange baali banziyiza si lwa kuba nti baali tebanjagala naye lwa kuba nti baali banfaako. Yakuwa yannyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu n’okumanya eky’okukola. Ate era gye nnakoma okukola omulimu ogw’okubuulira gye nnakoma okwongera okugwagala. Mu butuufu, nnayagala okutandika okuweereza nga payoniya.

MPEEREZA NGA PAYONIYA

Bakkiriza bannange abamu bwe baakimanyaako nti njagala kutandika kuweereza nga payoniya, abamu ku bo baŋŋamba nti ngira nnindako okutuusa nga bazadde bange bamaze okukkakkana. Nnasaba Yakuwa ampe amagezi, nnanoonyereza, nnalowooza ku biruubirirwa byange, era nnayogerako ne bakkiriza bannange abakulu mu by’omwoyo. Ekyo kyannyamba okuba omumalirivu okusanyusa Yakuwa. Okugatta ku ekyo, nnakiraba nti okugira nga nnindako okutandika okuweereza nga payoniya kyali tekigenda kukyusa ndowooza ya bazadde bange.

Nnatandika okuweereza nga payoniya mu mwaka ogwasembayo nga nsoma siniya. Oluvannyuma lw’ekiseera, nnayagala okugenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Naye maama ne taata baali tebaagala nve waka. Bwe kityo, nnasalawo okugira nga mbeera awaka okutuusa lwe nnandiwezezza emyaka 20. Okusobola obuteeraliikiriza maama, nnasaba ofiisi y’ettabi enzikirize okugenda okuweereza mu kitundu ekiri mu bukiikaddyo bwa Japan, awaali ab’eŋŋanda zaffe.

Bwe nnali mu kitundu ekyo, nnayiga n’abantu abawerako Bayibuli abamu ne batuuka n’okubatizibwa. Mu kiseera kye kimu, nnatandika okuyiga Olungereza nsobole okugaziya ku buweereza bwange. Ekibiina kye nnalimu kyalimu ab’oluganda babiri abaali baweereza nga bapayoniya ab’enjawulo. Nnakiraba nti baali banyiikivu era nti baali baagala nnyo okuyamba abalala. Bwe kityo, nnayagala okutandika okuweereza nga payoniya ow’enjawulo. Mu kiseera ekyo, enfunda bbiri, maama yalwala nnyo n’aba nga yeetaaga okulabirirwa. Ku buli mulundi, nnaddayo eka okumujjanjaba. Ekyo kyamwewuunyisa nnyo era yatandika okukyusa endowooza ye.

NFUNA EMIKISA MINGI

Oluvannyuma lw’emyaka musanvu, nnafuna ebbaluwa okuva eri Atsushi, omu ku bapayoniya ab’enjawulo be njogeddeko waggulu. Yaŋŋamba nti yali ayagala kuwasa era nti yali ayagala kumanya obanga nange nnali mmwagala. Nnali sseegwanyizangako Atsushi era nnali sikirowoozangako nti asobola okunneegwanyiza. Waayita omwezi gumu, ne nziramu ebbaluwa ye ne mmutegeeza nti nnali mwetegefu okutandika okwogerezeganya naye. Twakizuula nti twalina bingi bye tufaanaganya: ffembi twali twagala okubeera mu buweereza obw’ekiseera kyonna n’okuweereza Yakuwa yonna gy’aba atusindise. Ekiseera kyatuuka ne tufumbiriganwa. Nga kyansanyusa nnyo okulaba nga maama, taata, n’ab’eŋŋanda zange abalala nga bazze ku mbaga yaffe!

Nepal

Waayita ekiseera kitono nga tuweereza nga bapayoniya aba bulijjo, Atsushi n’alondebwa okuyambako mu mulimu gw’okukyalira ebibiina. Waayita ekiseera kitono, ne tufuna emikisa emirala. Twalondebwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo era oluvannyuma Atsushi yalondebwa okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu omujjuvu. Oluvannyuma lw’okukyalira ebibiina byonna ebyali mu kitundu kyaffe, twafuna essimu okuva ku ofiisi y’ettabi. Baatubuza nti: ‘Mwandyagadde okugenda okukyalira ebibiina mu Nepal?’

Okuweereza mu nsi ez’enjawulo kinjigirizza bingi ku Yakuwa

Nneebuuza engeri bazadde bange gye bandiwuliddemu nga mbagambye nti nnali ŋŋenda kuweerereza mu Nepal, ensi eyali ewala ennyo okuva ewaffe. Nnabakubira essimu era taata ye yagikwata. Bwe nnamala okumubuulira, yanziramu nti: “Ensi gy’ogendamu nnungi nnyo.” Wiiki emu emabega, omu ku mikwano gya taata yali amuwadde akatabo akoogera ku nsi ya Nepal, era taata yeegomba okugendako mu nsi eyo.

Nga wayise ekiseera nga tuweereza mu Nepal, twafuna omukisa omulala. Twasabibwa okukyalira n’ebibiina by’omu Bangladesh. Wadde ng’ensi eyo eriraanye Nepal, embeera zaayo zaawukana nnyo ku z’omu Nepal. Abantu be twasanga nga tubuulira baali ba njawulo nnyo. Oluvannyuma lw’emyaka etaano, twasindikibwa okuddayo mu Japan era n’okutuusa leero tukyakola omulimu ogw’okukyalira ebibiina mu Japan.

Okuweereza mu Japan, Nepal, ne mu Bangladesh kinjigirizza ebintu bingi ebikwata ku Yakuwa! Abantu mu nsi ezo bali mu mbeera za njawulo era balina obuwangwa bwa njawulo. Ate ne mu nsi ezo mmwennyini, abantu baamu ba njawulo. Ndabye engeri Yakuwa gy’ayambamu abantu kinnoomu, gy’abayamba okuyiga ebimukwatako, n’engeri gy’abawaamu emikisa.

Mu butuufu, Yakuwa annyambye okuyiga ebimukwatako, ampadde omulimu ogw’okukola, era ampadde omwami omulungi. Katonda annyambye okusalawo mu ngeri ey’amagezi era ekyo kinnyambye okuba n’enkolagana ennungi naye awamu n’abeŋŋanda zange. Kati nze ne maama twaddamu okuba ab’omukwano era ekyo nkyebaliza nnyo Yakuwa. Ndi musanyufu nnyo okuba nti nnafuna emirembe ne Katonda era ne maama wange.

Okukyalira ebibiina kituleetera essanyu lingi