Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Musa​—Omusajja Eyalina Okwagala

Musa​—Omusajja Eyalina Okwagala

OKWAGALA KUZINGIRAMU KI?

Okwagala kuzingiramu okufaayo ku balala. Omuntu alina okwagala akyoleka mu bigambo ne bikolwa nti afaayo ku balala ne bwe kiba nti kimwetaagisa okwefiiriza.

MUSA YAYOLEKA ATYA OKWAGALA?

Musa yakyoleka nti ayagala Katonda. Mu ngeri ki? Bayibuli egamba nti: “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye.” (1 Yokaana 5:3) Olw’okuba Musa yali ayagala Katonda, yagonderanga ebiragiro bye. Musa yakola byonna Katonda bye yamugamba okukola; nga mwe mwali ebintu ebizibu ennyo gamba ng’okutuukirira Falaawo kabaka eyali ow’amaanyi ennyo, n’ebintu ebitono gamba ng’okugolola omuggo ggwe ku Nnyanja Emmyufu. Ekintu ka kibe nga kyali kyangu oba kizibu, Musa yakikola. Bayibuli egamba nti: ‘Bw’atyo bwe yakola.’​—Okuva 40:16.

Musa yalaga Baisiraeri banne okwagala. Olw’okuba Abaisiraeri baali bakimanyi nti Yakuwa yali alonze Musa okubakulembera, baabuuliranga Musa ebizibu byabwe ebitali bimu. Bayibuli egamba nti: “Abantu ne bayimirira nga beetoolodde Musa [okuva ku makya] okutuusa olweggulo.” (Okuva 18:13-16) Teeberezaamu engeri Musa gye yakoowangamu oluvannyuma lw’okumala olunaku lulamba ng’awuliriza abantu abaamubuuliranga ebizibu byabwe! Wadde kyali kityo, Musa yabanga musanyufu okubayamba kubanga yali abaagala.

Ng’oggyeko okubayamba, Musa yabasabiranga. Yasabiranga n’abo abaamuyisanga obubi! Ng’ekyokulabirako, mwannyina ayitibwa Miryamu bwe yeemulugunya olw’enkizo Katonda gye yali awadde Musa, Katonda yamulwaza ebigenge. Mu kifo ky’okusanyuka, Musa yasabira mwannyina ng’agamba nti: “Muwonye, ai Katonda, nkwegayiridde!” (Okubala 12:13) Ddala singa Musa teyalina kwagala yandisabye mu ngeri eyo?

BIKI BYE TUMUYIGIRAKO?

Tusobola okukoppa Musa nga naffe tulaga nti twagala nnyo Katonda. Okwagala ng’okwo kutukubiriza okugondera ebiragiro bye “okuva mu mitima.” (Abaruumi 6:17) Bwe tugondera Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, tusanyusa omutima gwe. (Engero 27:11) Ate era naffe tuganyulwa, kubanga bwe tuweereza Katonda olw’okuba tumwagala, tetukoma bukomi ku kukola bintu birungi, naye era tunyumirwa okubikola.​—Zabbuli 100:2.

Engeri endala gye tusobola okukoppamu Musa kwe kuba abeetegefu okwefiiriza. Mikwano gyaffe oba ab’eŋŋanda zaffe bwe batutuukirira nga balina ebizibu, okwagala kutukubiriza (1) okubawuliriza obulungi, (2) okubalumirirwa oba okweteeka mu bigere byabwe, ne (3) okubakakasa nti tubafaako.

Naffe tusobola okusabira abalala nga Musa bwe yakola. Oluusi omuntu bw’atubuulira ebizibu bye, tuyinza okuwulira nti tetulina kye tusobola kukola kumuyamba. Tuyinza n’okulowooza nti okumusabira obusabizi kiyinza obutamuyamba. Naye tusaanidde okukijjukira nti: “Okusaba kw’omutuukirivu kulina amaanyi mangi.” (Yakobo 5:16) Olw’okusaba kwaffe, Katonda ayinza okukolera omuntu ekintu ky’atandimukoledde. Mu butuufu, tewali kintu kye tuyinza kukolera balala ekisinga okubasabira. *

Waliwo ebintu bingi nnyo bye tusobola okuyigira ku Musa. Wadde nga yali muntu buntu nga ffe, yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi kubanga yalina okukkiriza okw’amaanyi, yali muwombeefu nnyo, era yalina okwagala. Gye tukoma okumukoppa, gye tukoma okuganyulwa n’okuganyula abalala.​—Abaruumi 15:4.

^ Katonda bw’aba ow’okuwulira okusaba kwaffe, tulina okufuba okukola by’ayagala. Okumanya ebisingawo, laba essuula 17 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.