Eddiini Zeesigika ku Bikwata ku Mpisa?
Sylvia akola mu kifo awalabirirwa bannamukadde agamba nti: “Be nnali nsoma nabo mu ttendekero erimu baali beetwala nti batya Katonda. Kyokka babbanga ebigezo era baakozesanga ebiragalalagala. Amadiini gaabwe tegaabayamba kukyusa mpisa zaabwe.”
Omwami ayitibwa Lionel agamba nti: “Bakozi bannange balimba bakama baffe nti balwadde. Balina amadiini naye tegabayamba.”
Abantu abasinga obungi balina amadiini naye tagabayambye kukyusa mpisa zaabwe. Bangi “balina ekifaananyi eky’okwemalira ku Katonda” naye “tebooleka maanyi gaakwo.” (2 Timoseewo 3:5) Abakulembeze baabwe ab’eddiini tebabateereddeewo kyakulabirako kirungi, era tebabayigirizza mitindo gya Katonda egy’empisa. Ekyo kiviiriddeko abantu bangi okulowooza nti Katonda tafaayo ku ngeri gye beeyisaamu.
BAYIBULI KY’EYIGIRIZA
Bayibuli eraga nti Katonda alina enneewulira era afaayo nnyo ku ngeri gye tweyisaamu. Abaisiraeri bwe baajeemera Katonda, Bayibuli egamba nti ‘baamunakuwaza.’ (Zabbuli 78:40) Ku luuyi olulala, wabaawo “essanyu lingi mu ggulu” omuntu bw’akyusa empisa ze embi. (Lukka 15:7) Omuntu bw’ategeera engeri ennungi Kitaffe ow’omu ggulu z’alina, yeeyongera okumwagala, era ekyo kimukubiriza okwagala ebyo Katonda by’ayagala n’okukyawa ebyo Katonda by’akyawa.—Amosi 5:15.
ABAJULIRWA BA YAKUWA BAKOLA BATYA MU NSOGA EYO?
Olupapula lw’amawulire oluyitibwa Deseret News olw’omu Amerika lugamba nti: “Abajulirwa ba Yakuwa bayamba abantu okuba n’amaka amanywevu, n’okuba abatuuze ab’omugaso era abeesigwa. Ate era, bafaayo nnyo ku mpisa. Bakkiriza nti okunywa ssigala, okunywa ennyo omwenge, okukozesa ebiragalalagala, okukuba zzaala, okulya ebisiyaga, n’obwenzi, tebisanyusa Katonda.”
Abakulembeze b’amadiini bayambye abagoberezi baabwe okukolera ku mitindo gya Katonda egy’empisa?
Okutegeera engeri za Katonda kiyambye kitya Abajulirwa ba Yakuwa? Sylvia eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Abantu bangi abakola omulimu gwe nkola balya enguzi, era oboolyawo nange nnandibadde nkola kye kimu. Naye okukimanya nti tekisanyusa Yakuwa, * kinnyamba okukola ekituufu. Ndi musanyufu era nnina emirembe mu mutima.” Sylvia agamba nti okukolera ku ebyo eddiini ye by’emuyigiriza, kimuyambye nnyo.
^ Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.