Okubunyisa Ekigambo kya Katonda mu Sipeyini ey’Edda
“Nsuubira nti bwe ndiba ŋŋenda mu [Sipeyini] ndijjayo eyo mbalabeko era mumperekereko katono oluvannyuma lw’okunyumirwa okubeerako nammwe.”
EBIGAMBO ebyo omutume Pawulo yabiwandiikira Bakristaayo banne abaali mu Rooma, awo nga mu mwaka gwa 56 embala eno. Bayibuli tetubuulira obanga Pawulo yamala n’agenda e Sipeyini. Naye ka kibe nti Pawulo yagenda e Sipeyini oba teyagenda, amawulire amalungi agali mu Bayibuli ye n’Abakristaayo abalala ge baabuulira n’obunyiikivu gaatuuka e Sipeyini mu kyasa eky’okubiri embala eno.
Nga wayise ekiseera kitono omuwendo gw’Abakristaayo mu Sipeyini gweyongera. Ekyo kyaleetawo obwetaavu obw’okuvvuunula Bayibuli mu Lulattini, kubanga ekyasa eky’okubiri we kyatuukira, Sipeyini yali ekyafugibwa Abaruumi, era ng’Olulattini lwali lukozesebwa nnyo mu matwale g’Abaruumi.
BAYIBULI EVVUUNULWA MU LULATTINI
Abakristaayo abaali mu Sipeyini mu kiseera ekyo bavvuunula Bayibuli eziwerako mu Lulattini, era nga zonna awamu ziyitibwa Vetus Latina Hispana. Bayibuli ezo zaabunyisibwa mu Sipeyini okumala emyaka mingi nga Jerome tannamaliriza kuvvuunula nkyusa ye eya Bayibuli mu Lulattini eyitibwa Vulgate. Enkyusa ye eyo emanyiddwa ennyo yagimaliriza ng’ekyasa eky’okutaano kyakatandika.
Enkyusa ya Jerome gye yavvuunulira mu Besirekemu eky’omu Palesitayini, yatuuka mangu mu Sipeyini. Mu kiseera ekyo waaliwo nnagagga eyali ayitibwa Lucinius, eyali ayagala ennyo okusoma Bayibuli. Bwe yamanya nti Jerome yali avvuunudde Bayibuli mu Lulattini, yayagala afune kopi ya Bayibuli eyo amangu ddala nga bwe kisoboka. Bwe kityo yatuma abawandiisi mukaaga mu Besirekemu bakoppolole Bayibuli eyo bagimutwalire mu Sipeyini. Mu byasa ebyaddirira, enkyusa emanyiddwa nga Vulgate yabuna mu Sipeyini yonna n’eba nga y’ekozesebwa mu kifo ky’enkyusa eziyitibwa Vetus Latina Hispana. Enkyusa ezo zonna ez’Olulattini zaayamba abantu bangi mu Sipeyini okutegeera obubaka obuli mu Bayibuli. Naye obufuzi bw’Abaruumi bwe bwakoma, wajjawo ennimi empya.
EBYAWANDIIKIBWA KU MAYINJA
Mu kyasa eky’okutaano, Abavisigoosi n’abantu abalala okuva mu Bugirimaani baawamba Sipeyini, era ekyo kyaviirako olulimi olupya oluyitibwa Olugosiki okutandika okukozesebwa mu Sipeyini. Abantu abo baali mu ddiini ey’Ekikristaayo eyitibwa Arianism, era baali tebakkiririza mu njigiriza egamba nti Katonda ali mu busatu. Ate era bajja n’enkyusa yaabwe eya Bayibuli eyitibwa Ulfilas’ eyali evvuunuddwa mu Lugosiki. Abantu b’omu Sipeyini baakozesa Bayibuli eyo okutuukira ddala mu kyasa eky’omukaaga, Reccared kabaka w’Abavisigoosi, lwe yafuuka Omukatuliki n’awera enzikiriza eyitibwa Arianism. Yalagira ne bakuŋŋaanya ebitabo byonna eby’enzikiriza eyo nga mw’otwalidde ne Bayibuli yaabwe ne byokebwa. N’ekyavaamu, ebitabo byonna eby’Olugosiki ebyali mu Sipeyini byasaanawo.
Wadde kyali kityo, Ekigambo kya Katonda kyeyongera okubunyisibwa mu Sipeyini. Ng’oggyeeko Olugosiki, waaliwo ebitundu ebimu mu Sipeyini Olulattini gye lwali lukyayogerwa ennyo, era ekyo kyaviirako ennimi empya ezaava mu Lulattini okutandika okwogerwa mu kyondo kya Iberia. * Ebiwandiiko ebisingayo obukadde eby’ennimi ezo biyitibwa Visigothic slates, olw’okuba byawandiikibwa ku mayinja. Byawandiikibwa mu kyasa eky’omukaaga n’eky’omusanvu, era agamu ku mayinja ago galiko ebyawandiikibwa okuva mu Zabbuli ne mu bitabo by’Enjiri. Erimu ku mayinja ago liriko Zabbuli ey’ekkumi n’omukaaga yonna.
Eky’okuba nti ebyawandiikibwa ebyo byali ku mayinja kiraga nti mu kiseera ekyo abantu aba bulijjo baasomanga era nti baakoppololanga Ekigambo kya Katonda. Abasomesa baakozesanga ebyawandiikibwa ebyo okuyamba abayizi okuyiga okusoma n’okuwandiika. Amayinja ago tegaabanga ga bbeeyi ng’amaliba bannaddiini ge baakozesanga nga bakola Bayibuli zaabwe ezaabangamu n’ebifaananyi.
Emu ku Bayibuli ezo ezirimu ebifaananyi esangibwa mu kkereziya ey’omu San Isidoro mu kibuga León eky’omu Sipeyini. Yakubibwa mu kyapa mu mwaka gwa 960 embala eno, era ya miko 1028.Ya inci nga 18 obuwanvu ne inci nga 13 obugazi era ezitowa kiro nga 18. Endala esangibwa mu tterekero ly’ebitabo eriri mu Vatican. Bayibuli eyo yaggibwa mu kigo ekisangibwa mu kabuga Ripoll, era nga yakubibwa mu kyapa mu mwaka gwa 1020. Y’emu ku Bayibuli ezisinga okubaamu ebifaananyi ezaakolebwa wakati w’omwaka gwa 500 ne 1500 embala eno. Okukola Bayibuli ng’eyo, kiyinza okuba kyatwalanga olunaku lulamba okutonaatona ennukuta esooka ku kigambo oba wiiki nnamba okutonaatona omutwe gw’ekitabo. Wadde nga Bayibuli ezo zaali za muwendo nnyo, tezaayamba nnyo bantu kutegeera Kigambo kya Katonda.
BAYIBULI EVVUUNULWA MU LUWALABU
Ekyasa eky’omunaana we kyatuukira, Abasiraamu baali bawambye Sipeyini era ng’Oluwalabu lutandise okukozesebwa. Mu bitundu ebyali bifugibwa Abasiraamu, Oluwalabu lwali lukozesebwa nnyo okusinga Olulattini ne kiba nti kyali kyetaagisa okuvvuunula Bayibuli mu Luwalabu.
Okuva mu kyasa eky’okutaano okutuuka mu ky’omunaana, Bayibuli ezavvuunulwa mu Lulattini ne mu Luwalabu zaayamba abantu b’omu Sipeyini okutegeera Ekigambo kya Katonda
Ebitabo bya Bayibuli bingi ebyali bivvuunuddwa mu Luwalabu, naddala ebitabo by’Enjiri, byabunyisibwa nnyo mu Sipeyini mu kiseera ekyo. Kirabika, mu kyasa eky’omunaana, bisopu John eyali abeera mu kibuga Seville yavvuunula Bayibuli yonna mu Luwalabu. Eky’ennaku, enkyusa za Bayibuli ez’Oluwalabu ezisinga obungi tezikyaliwo. Emu ku nkyusa ez’Oluwalabu ez’ebitabo by’Enjiri eyavvuunulwa mu kyasa eky’ekkumi yaterekebwa mu lutikko esangibwa mu kibuga León eky’omu Sipeyini.
ENKYUSA ZA BAYIBULI EZ’ENJAWULO MU LUSIPEYINI
Ng’emyaka gya 1500 embala eno ginaatera okuggwaako, Olukasitiiliya oba Olusipeyini, lwatandika okwogerwa mu kyondo kya Iberia. Olulimi luno olupya lwali lwa kukozesebwa nnyo mu kubunyisa Ekigambo kya Katonda. * Ebyawandiikibwa okuva mu Bayibuli ebyasookera ddala okuvvuunulwa mu Lusipeyini biri mu kitabo ekiyitibwa La Fazienda de Ultra Mar, ekyawandiikibwa ku ntandikwa y’ekyasa ekya 13. Mu kitabo ekyo omuwandiisi attottola bye yalaba ng’agenze mu Isiraeri. Ekitabo ekyo era kirimu ebyawandiikibwa okuva mu bitabo ebitaano ebisooka mu Bayibuli, mu bitabo ebirala ebya Bayibuli ebyawandiikibwa mu Lwebbulaniya, mu bitabo by’Enjiri, ne mu mabaluwa agaawandiikibwa abatume ba Yesu.
Abakulembeze b’amadiini baali tebaagala Bayibuli evvuunulwe mu Lusipeyini. Bwe kityo mu mwaka gwa 1234, olukiiko olwatuula mu Tarragona lwasalawo nti ebitabo byonna ebyali mu nnimi ezaali zoogerwa abantu aba bulijjo ebyalimu ebyawandiikibwa okuva mu Bayibuli biweebwe abakulembeze b’amadiini babyokye. Wadde kyali kityo, abantu beeyongera okuvvuunula Bayibuli mu Lusipeyini. Kabaka Alfonso X (1252-1284), nga kigambibwa nti ye yatandikawo empandiika y’olulimi Olusipeyini, yayagala Bayibuli evvuunulwe mu Lusipeyini era yawagira enteekateeka eyo. Bwe kityo, Bayibuli nnyingi zavvuunulwa mu kiseera ekyo, gamba ng’eyo eyitibwa Pre-Alfonsine Bible, n’endala eyitibwa Alfonsine Bible eyali esingayo obunene mu kiseera ekyo.
Enkyusa ezo zombi zaayamba nnyo mu kukulaakulanya Olusipeyini olwali lukyali olupya. Kakensa Thomas Montgomery bwe yali ayogera ku Bayibuli eyitibwa Pre-Alfonsine Bible yagamba nti: “Omuvvuunuzi wa Bayibuli eno yakola omulimu amakula kubanga yaggirayo ddala amakulu gennyini. . . . Ebigambo bye yakozesa byali bitegeerekeka bulungi, era nga bye byali bisaanira mu Bayibuli eyali ey’okusomebwa abantu abaali batamanyi Lulattini.”
Kyokka, Bayibuli ezo ez’edda ez’Olusipeyini, zavvuunulwa okuva mu Bayibuli ey’Olulattini eyitibwa Vulgate, so si kuva mu biwandiiko ebyasooka ebyali mu nnimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa. Okutandika n’ekyasa ekya 14, abawandiisi b’ebitabo Abayudaaya bavvuunula mu Lusipeyini Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya (abamu bye bayita Endagaano Enkadde). Mu kiseera ekyo, Abayudaaya abasinga obungi mu Bulaaya baali mu Sipeyini, era Abayudaaya abavvuunuzi baafuna ebiwandiiko by’Olwebbulaniya ebituufu bye baakozesa okuvvuunula Bayibuli. *
Emu ku Bayibuli ezo eyitibwa Alba Bible, era yamalirizibwa okuvvuunulwa mu kyasa ekya 15. Luis de Guzmán, eyali omututumufu ennyo mu Sipeyini mu kiseera ekyo, yakwasa Omuyigiriza eyali ayitibwa Moisés Arragel omulimu gw’okuddamu okuvvuunula Bayibuli mu Lusipeyini. Yawa ensonga bbiri lwaki yali ayagala Bayibuli eddemu okuvvuunulwa. Esooka, yagamba nti: “Bayibuli ezaasooka okuvvuunulwa mu Lusipeyini tezavvuunulwa bulungi.” Ate ensonga ey’okubiri, yagamba nti: “Abantu nga ffe twagala nnyo Bayibuli erimu obugambo obunnyonnyola ebyawandiikibwa ebizibu okutegeera.” Ekyo kiraga nti abantu abaaliwo mu kiseera ekyo baali baagala nnyo okusoma Bayibuli n’okugitegeera. Ate era kiraga nti Bayibuli ezaali mu lulimi
olwali lwogerwa abantu aba bulijjo zaali zibunye mu Sipeyini.Abavvuunuzi n’abakoppolozi ab’omu kiseera ekyo baakola omulimu mulungi nnyo, kubanga abantu b’omu Sipeyini baali basobola okusoma Bayibuli mu lulimi lwabwe ne bagitegeera bulungi. Tekyewuunyisa nti munnabyafaayo ayitibwa Juan Orts González yagamba nti: “Abantu b’omu Sipeyini baali bamanyi bulungi Bayibuli okusinga abantu b’omu Bugirimaani n’ab’omu Bungereza nga Luther tannabaawo.”
“Abantu b’omu Sipeyini baali bamanyi bulungi Bayibuli okusinga abantu b’omu Bugirimaani n’ab’omu Bungereza nga Luther tannabaawo.”
Kyokka, ekyasa ekya 15 bwe kyali kinaatera okuggwaako, ab’obuyinza mu Sipeyini baawera omulimu gw’okuvvuunula Bayibuli mu lulimi olwali lwogerwa abantu ba bulijjo, era abantu aba bulijjo tebakkirizibwanga kubeera nayo. Mu kiseera ekyo ekizibu, waaliwo abantu abavvuunula Bayibuli empya mu Lusipeyini nga bali mu nsi endala era ne bazikukusa nga baziyingiza mu Sipeyini. * Waayitawo ebyasa bisatu biramba abantu aba bulijjo ne balyoka bakkirizibwa okuddamu okuba ne Bayibuli.
Ng’ebyafaayo ebikwata ku Bayibuli mu Sipeyini ey’edda bwe biraga, abantu bangi baagezaako okuziyiza n’okusaanyaawo Ekigambo kya Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, naye baalemererwa.
Olw’okuba abantu bangi baafuba okuvvuunula Bayibuli, yabunyisibwa mu Sipeyini ey’edda. Leero, abantu abavvuunula Bayibuli mu Lusipeyini bakoppa ekyokulabirako ky’abo abaasooka okugivvuunula mu Lulattini, mu Lusipeyini, mu Luwalabu, ne mu Lugosiki. N’ekivuddemu, leero abantu bukadde na bukadde aboogera Olusipeyini basobola okusoma Ekigambo kya Katonda mu lulimi lwabwe ne bakitegeera bulungi.
^ lup. 10 Ennimi zino mwe muli Olukasitiiliya, Olukatalaani, Olugalisiya, n’Olupotugo.
^ lup. 17 Leero, abantu obukadde nga 540 basinga kwogera Lusipeyini.
^ lup. 20 Laba ekitundu ekirina omutwe “Alfonso de Zamora Yakozesa Erinnya lya Katonda ng’Avvuunula Bayibuli,” ekiri mu Watchtower eya Ddesemba 1, 2011.
^ lup. 23 Laba ekitundu, “Engeri Casiodoro de Reina Gye Yalwaniriramu Bayibuli ey’Olusipeyini,” ekiri mu Watchtower eya Jjuuni 1, 1996.