Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

Baakozesa Bayibuli Okuddamu Ebibuuzo Byange Byonna!

Baakozesa Bayibuli Okuddamu Ebibuuzo Byange Byonna!
  • YAZAALIBWA: 1950

  • ENSI SIPEYINI

  • EBYAFAAYO: YALI MUBIIKIRA

OBULAMU BWANGE BWE BWALI:

Nnazaalibwa ku kyalo ekimu ekisangibwa mu Galicia, eky’omu Sipeyini, era bazzadde bange baalina faamu ku kyalo ekyo. Twazaalibwa abaana munaana era nze ow’okuna. Mu maka gaffe twabanga basanyufu. Mu kiseera ekyo, kumpi buli maka mu Sipeyini gaavangamu omwana eyagendanga mu kigo oba mu seminaaliyo. Mu maka gaffe, nze ne muganda wange twagenda mu kigo ate ye mwannyinaffe n’agenda mu seminaaliyo.

Bwe nnaweza emyaka 13, nnagenda mu kigo eky’omu kibuga Madrid muganda wange omukulu gye yali. Mu kigo ekyo embeera teyali nnungi. Waaliyo amateeka amakakali, tewaabangayo kusanyukako, era buli kiseera twabanga mu kusaba. Buli ku makya, twakuŋŋaananga okufumiitiriza wadde ng’ebiseera ebisinga saabanga na kya kufumiitirizaako. Oluvannyuma, twayimbanga ennyimba ez’eddiini, era ne tusoma Emmisa, kyokka nga byonna tubikola mu Lulattini. Kumpi sirina kye nnategeeranga, era ekyo kyandeeteranga okuwulira nti sisobola kuba na nkolagana ya ku lusegere ne Katonda. Nnawuliranga ekiwuubaalo kya maanyi nnyo mu kiseera ekyo. Ne bwe nnasisinkananga ne muganda wange, tetwanyumyanga okuggyako okugamba obugambi nti, “Maliya omutuukirivu aweebwe ekitiibwa.” Bwe twamalanga okulya, ababiikira baatuwanga eddakiika asatu zokka okunyumyako. Embeera eyo yali ya njawulo nnyo ku mbeera gye twalimu eka! Olw’okuba nnawuliranga ekiwuubaalo kya maanyi, oluusi nnakaabanga.

Wadde nga bye nnali njiga nnali sibitegeera bulungi, bwe nnaweza emyaka 17, nnakkiriza okufuuka omubiikira. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera kitono, nnatandika okubuusabuusa obanga ddala Katonda ye yali annonze okuba omubiikira. Ababiikira baatugambanga nti abo ababuusabuusa bajja kwokebwa mu muliro ogutazikira. Naye era nnasigala mbuusabuusa. Nnali nkimanyi nti Yesu Kristo teyeeyawulanga ku bantu, wabula yagendanga buli wamu ng’abayigiriza era ng’abayamba. (Matayo 4:23-25) We nnawereza emyaka 20, nnali sikyayagala kubeera mubiikira. Omubiikira eyali atukulira yaŋŋamba nti bwe mba mbuusabuusa, nve mu kigo amangu ddala. Kirabika yalowooza nti nnandireetedde abalala okutandika okubuusabuusa. Bwe kityo, nnava mu kigo ne nzirayo eka.

Bwe nnannyonnyola bazadde bange ekyandeetera okuva mu kigo, tebankambuwalira. Olw’okuba saafuna mulimu gwa kukola ku kyalo kyaffe, nnasalawo okugenda e Bugirimaani, omu ku bannyinaze gye yali abeera. Yali mu kibiina ky’Abakomunisiti ab’omu Sipeyini. Nneegatta ku kibiina ekyo ekyali kirwanirira eddembe ly’abakozi n’eddembe ly’abakyala era oluvannyuma nnafumbirwa omu ku baakirimu. Nnagabiranga abantu obutabo bw’ekibiina ekyo, era bwe baabanga n’okwekalakaasa, nnakwenyigirangamu.

Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera, waliwo ebyammalamu amaanyi. Nnakizuula nti Abakomunisiti baali tebakola ebyo bye baali baayigiriza abantu. Ng’ekyokulabirako, mu 1971, abavubuka abamu abaali mu kibiina ekyo beekalakaasa olw’obwannakyemalira obwali mu Sipeyini, era ne bookya ofiisi y’omubaka wa Sipeyini mu Bugirimaani eyali mu kibuga Frankfurt. Nnakiraba nti eyo si ye yali engeri entuufu ey’okulagamu obutali bumativu.

Bwe nnazaala omwana wange eyasooka, nnagamba omwami wange nti nnali ŋŋenda kulekera awo okugenda mu nkuŋŋaana z’Abakomunisiti. Tewali n’omu ku mikwano gyange Abakomunisiti eyajja okundabako nga nzadde, era ekyo kyampisa bubi. Nneebuuzanga nti, Ddala obulamu bulina ekigendererwa? Okulwanirira eddembe ly’abantu kivaamu akalungi konna?

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Mu 1976, Abajulirwa ba Yakuwa babiri bankyalira ne bampa ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli ebyali mu Lusipeyini. Bwe baddamu okunkyalira, nnababuuza ebibuuzo bingi nga njagala okumanya ensonga lwaki waliwo okubonaabona kungi n’obutali bwenkanya. Kyanneewuunyisa nnyo okulaba nti baakozesa Bayibuli okuddamu ebibuuzo byange byonna! Bwe ntyo ne ntandika okuyiga nabo Bayibuli.

Mu kusooka, nnanyumirwanga bunyumirwa okuyiga ebyo ebiri mu Bayibuli. Naye nze n’omwami wange bwe twatandika okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa, twalabawo enjawulo. Mu kiseera ekyo, twalina abaana babiri. Abajulirwa ba Yakuwa baatunonangako ne batutwala mu nkuŋŋaana era baatusitulirangako abaana baffe nga tuli mu nkuŋŋaana. Ekyo kyandeetera okweyongera okwagala Abajulirwa ba Yakuwa.

Wadde kyali kityo, waliwo ebibuuzo bye nnali nkyebuuza. Mu kiseera ekyo, nnakyalirako ab’eŋŋanda zange mu Sipeyini. Taata wange omuto eyali omusaseredooti, yagezaako okuŋŋaana okuyiga Bayibuli. Naye Abajulirwa ba Yakuwa beeyongera okunjigiriza Bayibuli. Baakozesa Bayibuli okuddamu ebibuuzo byange, ng’Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu Bugirimaani bwe baakolanga. Bwe nnaddayo e Bugirimaani, nneeyongera okuyiga Bayibuli wadde ng’omwami wange ye yalekera awo okugiyiga. Mu 1978, nnabatizibwa ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:

Okuyiga amazima agali mu Bayibuli kinnyambye okuba n’obulamu obulina ekigendererwa era obw’essanyu. Ng’ekyokulabirako, 1 Peetero 3:1-4 wakubiriza abakyala ‘okugondera’ abaami baabwe, ‘okubassaamu ekitiibwa,’ n’okuba “n’omwoyo omuteefu era omuwombeefu ogw’omuwendo omungi mu maaso ga Katonda.” Ekyawandiikibwa ekyo awamu n’ebirala bingi, binnyambye okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwange ng’omukyala era ng’omuzadde.

Waakayita emyaka nga 35 bukya nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Ndi musanyufu nnyo okuba omu ku abo abaweereza Yakuwa Katonda nga bali bumu okwetooloola ensi yonna. N’ekisinga okundeetera essanyu kwe kuba nti ku baana bange abataano, abana baweereza Yakuwa.