Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUKUBAGANYA EBIROWOOZO

Abajulirwa ba Yakuwa Bakkiririza mu Yesu?

Abajulirwa ba Yakuwa Bakkiririza mu Yesu?

Ekitundu kino kiraga engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bakubaganyaamu ebirowoozo n’abantu abalala. Ka tugambe nti Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Tom akyalidde David.

KIKULU NNYO OKUKKIRIRIZA MU YESU

David: Nsanyuse okukulaba Tom.

Tom: Nange nsanyuse okukusangawo. Nkuleetedde magazini y’Omunaala gw’Omukuumi n’eya Awake! ez’omwezi guno. Nsuubira ojja kunyumirwa nnyo okuzisoma.

David: Weebale nnyo, era okoze bulungi okujja. Waliwo ekibuuzo kye njagala okukubuuza.

Tom: Osobola okukimbuuza.

David: Jjuuzi nnabuulirako mukozi munnange ku ebyo bye nnasoma mu butabo bwe wampa. Naye yaŋŋamba nti ndekere awo okusoma obutabo bwammwe kubanga Abajulirwa ba Yakuwa temukkiririza mu Yesu. Ko nze nti nja kukubuuza nkakase. Ddala kituufu temukkiririza mu Yesu?

Tom: Ky’okoze kirungi nnyo, kubanga bw’oba oyagala okumanya ebikwata ku nzikiriza z’omuntu kiba kirungi okubuuza omuntu oyo kennyini. Si bwe kiri?

David: Bwe kiri.

Tom: Ekituufu kiri nti, Abajulirwa ba Yakuwa tukkiririza mu Yesu. Era tukimanyi nti omuntu yenna bw’aba ow’okufuna obulamu obutaggwaawo alina okukkiririza mu Yesu.

David: Nange mbadde nkimanyi nti mumukkiririzaamu, era mukozi munnange bwe yaŋŋamba nti temumukkiririzaamu nneewuunya nnyo. Naye tuyinza okukyogerako.

Tom: Ka nkulage ebimu ku byawandiikibwa ebiraga ensonga lwaki kikulu okukkiririza mu Yesu. Ebyawandiikibwa bino Abajulirwa ba Yakuwa babikozesa nnyo nga babuulira abantu.

David: Nnandyagadde okubimanya.

Tom: Ka tusooke tusome ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 14:6. Wano Yesu yali ayogera n’omu ku batume be. Yamugamba nti: “Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu. Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.” Okusinziira ku kyawandiikibwa kino, engeri yokka gye tusobola okutuukiriramu Katonda y’eruwa?

David: Okuyitira mu Yesu.

Tom: Oli mutuufu. Era ekyo Abajulirwa ba Yakuwa ffenna kye tukkiriza. Ka nkubuuze: Olowooza Katonda ayagala tumusabe nga tuyitira mu linnya ly’ani?

David: Nga tuyitira mu linnya lya Yesu.

Tom: Kituufu, era nange essaala zange nziyisa mu linnya lya Yesu. Abajulirwa ba Yakuwa abalala nabo bwe batyo bwe bakola.

David: Ekyo mbadde sikimanyi.

Tom: Kati ka tusome Yokaana 3:16. Ekyawandiikibwa kino kikulu nnyo era abamu batuuse n’okugamba nti kiwumbawumbako bulungi ebintu byonna Yesu bye yakola ng’ali ku nsi ebyawandiikibwa mu bitabo by’Enjiri. Nkusaba okisome.

David: Kigamba nti: “Kubanga Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.”

Tom: Weebale nnyo. Ekyawandiikibwa ekyo wali okiwuliddeko?

David: Yee, ntera okuwulira nga kisomebwa gye nsabira.

Tom: Ekyawandiikibwa ekyo kimanyiddwa nnyo. Yesu yagamba nti okwagala Katonda kwe yalaga abantu kujja kubasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo. Naye kiki abantu kye balina okukola?

David: Balina okuba n’okukkiriza.

Tom: Kituufu. Balina okukkiririza mu Yesu Kristo, Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka. Era ekyo kiragibwa bulungi nnyo ku lupapula 2 olw’akatabo Omunaala gw’Omukuumi ke nkuwadde. Ekimu ku bigendererwa byako kwe ‘kuyamba abantu okukkiririza mu Yesu Kristo eyatufiirira tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo, era kati afuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda.’

David: Wamma kati nkakasizza nti mukkiririza mu Yesu, kubanga n’akatabo kammwe kakiraga. Kati olwo, lwaki abantu bagamba nti temumukkiririzaamu?

Tom: Abamu bagamba bwe batyo olw’okuba bayinza okuba nga baawulirako abalala nga bakyogera, oba abakulembeze baabwe ab’eddiini bayinza okuba nga be baabagamba ebitali bituufu.

David: N’ekirala kye ndowoozezzaako, abantu abamu bayinza okuba nga bagamba nti temukkiririza mu Yesu olw’okuba mweyita Bajulirwa ba Yakuwa, so si Bajulirwa ba Yesu.

Tom: Eyo nayo eyinza okuba ensonga.

David: Naye lwaki mwogera nnyo ku Yakuwa?

“MBAMANYISIZZA ERINNYA LYO”

Tom: Ensonga esooka, tukitwala nti kikulu nnyo okukozesa erinnya lya Katonda, Yakuwa, ng’Omwana we Yesu bwe yakola. Ka tulabe ekyo Yesu kye yayogera mu Yokaana 17:26, bwe yali asaba Kitaawe. Nkusaba osome olunyiriri olwo.

David: Lugamba nti: “Mbamanyisizza erinnya lyo era nja kulimanyisa, okwagala kwe wandaga kubeere mu bo nange mbeere bumu nabo.”

Tom: Weebale nnyo. Yesu yagamba nti yamanyisa abantu erinnya lya Katonda. Olowooza lwaki yakola bw’atyo?

David: Ha . . . Simanyi.

Omuntu yenna bw’aba ow’okufuna obulamu obutaggwaawo alina okukkiririza mu Yesu

Tom: Ka tusomeyo ekyawandiikibwa ekirala ekinaatuyamba okutegeera obulungi ensonga eno. Tusome Ebikolwa 2:21. Wagamba nti: “Buli muntu alikoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.” Okusinziira ku kyawandiikibwa kino, kiki omuntu ky’alina okukola okusobola okulokolebwa?

David: Okukoowoola erinnya lya Yakuwa.

Tom: N’olwekyo, Yesu yali ayagala abagoberezi be bamanye erinnya lya Katonda era balikozese, basobole okulokolebwa. Era eyo y’emu ku nsonga enkulu lwaki naffe twogera nnyo ku Yakuwa. Tukitwala nti kikulu nnyo okumanyisa abantu erinnya lya Katonda basobole okulikoowoola.

David: Naye n’abantu abatamanyi linnya lya Katonda oba abatalikozesa bwe baba boogera ku Katonda, baba bamanyi Katonda gwe boogerako.

Tom: Ekyo kiyinza okuba ekituufu. Naye, okumanya erinnya lya Katonda kitusobozesa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye.

David: Mu ngeri ki?

Tom: Lowooza ku kino: Kyali tekitwetaagisa kumanya linnya lya Musa. Kyandibadde kimala okumuyita omusajja eyayawulamu ennyanja emmyufu, oba omusajja Katonda gwe yawa amateeka ekkumi. Ne Nuuwa kyandibadde kimala okumuyita omusajja eyazimba eryato n’awonyaawo ab’omu maka ge n’ensolo. Ate era kyandibadde kimala, singa ne Yesu Kristo tumuyita buyisi omusajja eyajja ku nsi n’atufiiririra, si bwe kiri?

David: Bwe kiri.

Tom: Naye Bayibuli erimu amannya g’abantu abo. Wadde nga tetulabanga ku Musa, Nuuwa, oba Yesu, okumanya amannya gaabwe kituleetera okukakasa nti ddala baaliyo.

David: Ekyo mbadde sikirowoozangako!

Tom: Era eyo ye nsonga endala lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bakozesa nnyo erinnya lya Katonda. Twagala abantu bakitegeere nti Yakuwa Katonda wa ddala era nti basobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Naye era nga bwe twalabye, okukkiririza mu Yesu nakyo kikulu nnyo bwe tuba ab’okulokolebwa. Okusobola okukkaatiriza ensonga eno, ka tusomeyo ekyawandiikibwa ekirala kimu.

David: Kale.

Tom: Twasomye Yokaana 14:6, awaalaze nti Yesu ye “kkubo, n’amazima, n’obulamu.” Kati ka tusome Yokaana 14:1 tulabe ekirala Yesu kye yayogera. Wandyagadde okusoma olunyiriri olwo?

David: Ka ndusome. Lugamba nti: “Emitima gyammwe tegyeraliikiriranga. Mukkiririze mu Katonda, era nange munzikiririzeemu.”

Tom: Weebale nnyo. Tuyinza okugamba nti okukkiririza mu Yesu yekka oba mu Katonda yekka kimala?

David: Nedda. Yesu yagamba nti tulina okubakkiririzaamu bombi.

Tom: Oli mutuufu. Era nsuubira okikkiriza nti omuntu okugamba obugambi nti akkiririza mu Katonda ne mu Yesu tekimala. Alina n’okukiraga mu bikolwa nti abakkiririzaamu.

David: Ekyo kituufu.

Tom: Naye biki omuntu by’alina okukola okulaga nti akkiririza mu Katonda ne mu Yesu? Lwe nnaakomawo tujja kukubaganya ebirowoozo ku nsonga eyo. *

David: Kale. Nja kuba nkulindiridde.

Waliwo ekibuuzo kyonna ekikwata ku Katonda oba ekikwata ku nzikiriza z’Abajulirwa ba Yakuwa kye weebuuza? Bwe kiba bwe kityo, tolonzalonza kubuuza Mujulirwa wa Yakuwa yenna gw’onooba osisinkanye. Ajja kuba musanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku nsonga ng’ezo.

^ lup. 57 Okumanya ebisingawo, laba essuula 12 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Osobola n’okukafuna ku mukutu jw.org.