Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tuliddamu Okulaba Abantu Baffe Abaafa?

Tuliddamu Okulaba Abantu Baffe Abaafa?

EMYAKA ebiri egiyise, olupapula lw’amawulire oluyitibwa Chosun Ilbo, olw’omu Korea lwafulumiramu omuko ogwalina omutwe ogugamba nti: “‘Shim Cheong Omulungi,’ Eyali Talina ky’Amanyi ku Yesu—Yasuulibwa mu Muliro Ogutazikira?”

Omutwe ogwo gwanyiiza abantu bangi kubanga Shim Cheong yali muwala mulungi ayogerwako mu lugero olumu olumanyiddwa ennyo mu Korea, eyawaayo obulamu bwe asobole okuyamba kitaawe eyali omuzibe w’amaaso. Omuwala oyo abantu bangi bamutwala ng’omuzira. Mu butuufu mu buwangwa bw’Abakoleya, “Shim Cheong” atwalibwa ng’omuwala eyateerawo abalala ekyokulabirako ekirungi.

Abantu bangi bawulira nti tekiba kya bwenkanya omuntu ng’oyo okubonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira olw’okuba we yafiira yali tannabatizibwa kufuuka Mukristaayo. Ate era “Shim Cheong” ayogerwako mu lugero olwo we yabeererawo, ebikwata ku Kristo byali tebinnamanyibwa ku kyalo kwe yali abeera.

Mu lupapula lw’amawulire olwo, omu ku bakulembeze b’eddiini yabuuzibwa obanga abo bonna abaafa nga tebannafuna kakisa kuyiga bikwata ku Yesu baasuulibwa mu muliro ogutazikira. Yaddamu nti: “Tetumanyi. Tusuubira nti Katonda ateekwa okuba ng’alina ky’ateekeddeteekedde [abantu ng’abo].”

OMUNTU ALINA KUBATIZIBWA OKUSOBOLA OKULOKOLEBWA?

Ekitabo ekiyitibwa The New Catholic Encyclopedia kigamba nti: “Omuntu bw’aba ow’okulokolebwa, alina okubatizibwa. Kristo kennyini yagamba nti, okuggyako ng’omuntu azaaliddwa omulundi ogw’okubiri, ng’azaaliddwa amazzi n’Omwoyo Omutukuvu, tayinza kuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda (Yokaana 3:5).” Ekyo kireetedde abamu okulowooza nti abo abafa nga tebannabatizibwa basuulibwa mu muliro ogutazikira, oba babonyaabonyezebwa mu ngeri endala.

Kyokka abalala bagamba nti ekyo tekiba kya bwenkanya. Waliwo abantu bukadde na bukadde abaafa nga tebafunye kakisa kuyiga bikwata ku Katonda. Ddala kiba kya bwenkanya abantu ng’abo okubonyaabonyezebwa emirembe n’emirembe? Bayibuli eyogera ki ku nsonga eyo?

ESSUUBI ERIRI MU BAYIBULI

Bayibuli ekiraga bulungi nti Katonda afaayo ne ku bantu abaafa nga tebannayiga by’ayagala. Ebikolwa 17:30 wagamba nti: “Katonda yabuusa amaaso ebiro eby’obutamanya.” Kati olwo, kiki Katonda ky’asuubiza okukolera abo abaafa nga tebafunye kakisa kuyiga bimukwatako?

Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Oliba nange mu Lusuku kwa Katonda”?

Okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, ka twetegereze ekyo Yesu kye yagamba omu ku bamenyi b’amateeka abaakomererwa okumpi naye. Omusajja oyo yagamba Yesu nti: “Onzijukiranga bw’olituuka mu bwakabaka bwo.” Yesu yamuddamu nti: “Mazima nkugamba leero nti, Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.”Lukka 23:39-43.

Yesu yali ategeeza nti omusajja oyo yandigenze mu ggulu? Nedda. Omusajja oyo yali ‘teyazaalibwa mulundi gwakubiri,’ kwe kugamba yali teyabatizibwa na mazzi n’omwoyo omutukuvu, n’olwekyo teyalina bisaanyizo bya kugenda mu ggulu. (Yokaana 3:3-6) Yesu yasuubiza omumenyi w’amateeka oyo nti ajja kubeera “mu Lusuku lwa Katonda.” Olw’okuba omusajja oyo yali Muyudaaya, ateekwa okuba nga yali amanyi ebikwata ku lusuku Adeni olwali ku nsi, olwogerwako mu kitabo kya Bayibuli eky’Olubereberye. (Olubereberye 2:8) Omusajja oyo yafuna essuubi ekkakafu nti yandizuukidde n’abeera ku nsi eriba erabika obulungi ennyo ng’olusuku Adeni bwe lwali.

Mu butuufu, Bayibuli esuubiza nti “wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:15) Abatali batuukirivu beebo abataakola Katonda by’ayagala olw’okuba baali tebabimanyi. Yesu ajja kuzuukiza omumenyi w’amateeka oyo ataali mutuukirivu, n’abantu abalala bukadde na bukadde abaafa nga tebannayiga Katonda by’ayagala. Mu nsi empya, abantu abo bajja kuzuukizibwa bayigirizibwe ebikwata ku Katonda. Awo bajja kuba bafunye akakisa okulaga nti baagala Katonda nga bagondera amateeka ge.

ABATALI BATUUKIRIVU BWE BALIZUUKIZIBWA

Abatali batuukirivu bwe balizuukizibwa, balisalirwa omusango okusinziira ku ebyo bye baakola nga tebannafa? Nedda. Abaruumi 6:7 wagamba nti: “Oyo afudde aba takyaliko musango gwa kibi.” Ekyo kitegeeza nti omuntu bw’afa aba amaze okusasulira ebibi bye yakola. N’olwekyo, abatali batuukirivu balisalirwa omusango okusinziira ku ebyo bye balikola oluvannyuma lw’okuzuukira, so si ebyo bye baakola mu butamanya nga tebannafa. Mikisa ki gye banaafuna?

Abatali batuukirivu bwe banaazuukizibwa, bajja kuyigirizibwa amateeka ga Katonda aganaabeera mu mizingo egy’akabonero. Oluvannyuma bajja kusalirwa omusango “okusinziira ku bikolwa byabwe,” kwe kugamba, okusinziira ku ebyo bye banaakola oluvannyuma lw’okuyiga amateeka ga Katonda. (Okubikkulirwa 20:12, 13) Bangi ku bo ogwo gwe gujja okuba omukisa gwe banaasooka okufuna okuyiga ebikwata ku Katonda. Bwe banaakola Katonda by’ayagala, bajja kufuna obulamu obutaggwaawo.

Abantu bangi abaali balekedde awo okukkiririza mu Katonda bwe baayiga ku ssuubi lino, baddamu okumukkiririzaamu. Omukyala ayitibwa Yeong Sug y’omu ku bo. Yali Mukatuliki omukuukuutivu era amaka mwe yakulira mwalimu basaserodooti. Yagenda mu kigo okutendekebwa asobole okufuuka omubiikira. Naye oluvannyuma, yaggwaamu amaanyi n’ava mu kigo olw’ebyo ebyali bikolebwayo. Okugatta ku ekyo, yagaana okukkiriza nti Katonda ayokya abantu mu muliro ogutazikira kubanga yakiraba nti ekyo tekiba kya bwenkanya era tekiraga kwagala.

Oluvannyuma, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa yalaga Yeong Sug ebigambo bino ebiri mu Bayibuli: “Abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi, so nga tebakyalina mpeera.” (Omubuulizi 9:5) Omujulirwa wa Yakuwa oyo yamuyamba okukitegeera nti abantu abaafa tebabonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira, wabula balinga abeebase era balindiridde kuzuukira.

Yeong Sug bwe yakimanya nti abantu bangi tebawulirangako mazima agali mu Bayibuli, yalowooza nnyo ku Matayo 24:14, awagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.” Kati y’omu ku abo ababuulira abantu abalala ku ssuubi ery’okuzuukira eriri mu Bayibuli.

“KATONDA TASOSOLA”

Bayibuli egamba nti: “Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola eby’obutuukirivu amukkiriza.” (Ebikolwa 10:34, 35) Ekyo kye twandisuubidde mu Katonda omwenkanya, “ayagala obutuukirivu n’amazima.”Zabbuli 33:5.