BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU
Nnatambulanga n’Emmundu Yange
-
NNAZAALIBWA: 1958
-
ENSI: YITALE
-
EBYAFAAYO: NNALI KKONDO
OBULAMU BWANGE BWE BWALI:
Nnazaalibwa mu kitundu ekiri ku njegoyego z’ekibuga Rooma. Mu kitundu ekyo abantu baali baavu era obulamu tebwali bwangu. Nnakula simanyi maama wange, era nga sikolagana bulungi ne kitange. Nnalina okwenoonyezanga eky’okulya.
We nnawereza emyaka kkumi nnali ntandise okubba, era ku myaka 12 gyokka nnadduka awaka. Emirundi mingi, taata yannonanga ku poliisi n’anzizaayo ewaka. Nnavumanga nnyo abantu era nnali mukambwe. Bwe nnaweza emyaka 14, nnaddamu okudduka awaka era saddayo. Nnatandika okukozesa ebiragalalagala era nnabeeranga ku nguudo. Olw’okuba nnali sirina wa kusula, nnamenyanga emmotoka z’abantu ne nsula omwo. Nnazuukukanga ku makya nnyo ne nnoonya awali ekidiba ky’amazzi ne nnaaba mu maaso.
Nnafuuka mubbi mukugu era nnabbanga buli kimu nga mw’otwalidde obusawo obw’omu ngalo. Ate era nnamenyanga ebizimbe ebinene mu budde obw’ekiro. Nneekolera erinnya mu kubba era nneegatta ku kibinja kya bakkondo ababbanga bbanka. Olw’okuba nnali mukambwe nnyo, bannange be nnabbanga nabo banjagalanga nnyo. Nnatambulanga n’emmundu yange buli gye nnagendanga era bwe nnabanga nneebase, emmundu yange yabeeranga mitwetwe. Okugatta ku ebyo, nnali museegu era nnakozesanga ebiragalalagala. Buli kiseera poliisi yannoonyanga, era emirundi mingi nnasibibwanga mu kkomera ne mmalayo emyaka egiwera.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:
Lumu bwe nnava mu kkomera, nnakyalirako maama wange omuto. Mu kiseera ekyo, maama wange omuto n’abaana be babiri baali baafuuka Bajulirwa ba Yakuwa, era bansaba ŋŋendeko nabo mu nkuŋŋaana zaabwe. Nnayagala okumanya ebibeera mu nkuŋŋaana zaabwe era nnakkiriza okugenda nabo. Bwe twatuuka ku Kizimbe ky’Obwakabaka Abajulirwa ba Yakuwa mwe bakuŋŋaanira,
nnabagamba nti njagala kutuula kumpi n’omulyango nsobole okulaba abayingira n’abafuluma. Nnalina emmundu yange.Olukuŋŋaana olwo lwakyusa obulamu bwange. Nnalowooza n’okulowooza nti siri ku nsi! Abantu bangi bajja okumbuuza era buli omu yali musanyufu nnyo. Baali ba kisa, nga beesimbu, era ne leero nkyajjukira engeri gye bannyanirizaamu. Baali ba njawulo nnyo ku bantu be nnali mmanyidde!
Abajulirwa ba Yakuwa baatandika okunjigiriza Bayibuli. Bwe nneeyongera okuyiga Bayibuli, nnakiraba nti nnalina okukyusiza ddala empisa zange. Engero 13:20 wagamba nti: “Otambulanga n’abantu ab’amagezi, naawe oliba n’amagezi: naye munnaabwe w’abasirusiru alibalagalwa.” Ebigambo ebyo nnabifumiitirizaako nnyo era nnakiraba nti nnalina okweyawula ku kibinja kya bakkondo kye nnalimu. Ekyo tekyali kyangu, naye Yakuwa yannyamba ne nsobola okubeeyawulako.
Bayibuli yannyamba okuyiga okwefuga
Nnalekera awo okunywa ssigala n’okukozesa ebiragalalagala. Nnasalako enviiri ezaali empanvu ennyo, nnaggyako obw’oku matu, era ne ndekera awo okuwemula. Bayibuli yannyamba okuyiga okwefuga.
Olw’okuba saanyumirwanga kusoma, tekyambeereranga kyangu kussaayo mwoyo nga banjigiriza Bayibuli. Naye mpolampola nnatandika okunyumirwa okusoma. Ekyo kyandeetera okweyongera okwagala Yakuwa era n’omuntu wange ow’omunda yatandika okunnumiriza olw’engeri gye nneeyisangamu. Emirundi mingi nnennyamiranga, era nneebuuzanga obanga Yakuwa alinsonyiwa ebibi byonna bye nnakola. Naye nnabudaabudibwanga nnyo buli lwe nnasomanga ku ngeri Yakuwa gye yasonyiwamu Kabaka Dawudi ng’akoze ebibi eby’amaanyi.—2 Samwiri 11:1–12:13.
Ekintu ekirala ekyanzibuwalira, kwe kugenda nnyumba ku nnyumba nga mbuulira abantu ebikwata ku Katonda. (Matayo 28:19, 20) Nnalowoozanga nti nnandisanze omuntu gwe nnakola ekintu ekibi. Naye ekiseera bwe kyayitawo nnaggwaamu okutya. Nnatandika okufuna essanyu erya nnamaddala kubanga nnali nnyamba abantu okuyiga ebikwata ku Kitaffe ow’omu ggulu, asonyiyira ddala.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:
Okuyiga ebikwata ku Yakuwa kyataasa obulamu bwange. Bangi ku abo abaali mikwano gyange baafa ate abalala bali mu makomera. Naye nze ndimusanyufu era nnina essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Njize okufuga obusungu, okuba omuwombeefu, n’okuba omuwulize. Ebyo byonna binnyambye okukolagana obulungi n’abantu abalala. Ate era nnawasa omukyala omulungi ayitibwa Carmen. Tuyigiriza abalala ebikwata ku Katonda era ekyo kituleetera essanyu lingi.
Kati nkola gwa kuyonja bizimbe nsobole okuyimirizaawo amaka gange, era mu kifo ky’okubba bbanka, kati nziyonja!