Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Osobola Okulaba Katonda Atalabika?

Osobola Okulaba Katonda Atalabika?

“KATONDA Mwoyo,” abantu tebasobola kumulaba. (Yokaana 4:24) Wadde kiri kityo, waliwo abantu Bayibuli b’eyogerako ng’abaalaba Katonda. (Abebbulaniya 11:27) Ekyo kyasoboka kitya? Ddala kisoboka okulaba “Katonda atalabika”?​—Abakkolosaayi 1:15.

Tuyinza okwegeraageranya ku muntu eyazaalibwa nga muzibe. Omuzibe w’amaaso asobola okutegeera ebintu ebimwetoolodde n’emirimu egikolebwa. Omusajja omu omuzibe w’amaaso yagamba nti: “Amaaso si ge galaba, wabula omutima.”

Mu ngeri y’emu, wadde nga tosobola kulaba Katonda na maaso go, osobola okumulaba ‘n’amaaso g’omutima gwo.’ (Abeefeso 1:18) Ekyo oyinza okukikola mu ngeri ssatu.

ENGERI ZE “ZIRABIKIRA DDALA BULUNGI OKUVA ENSI LWE YATONDEBWA”

Omuzibe w’amaaso aba awulira nnyo, era ategeera mangu ekintu ng’akikutteko, era eyo y’engeri gy’asobola okumanyaamu ebintu wadde nga tabiraba. Naawe osobola okufumiitiriza ku bintu Katonda atalabika bye yatonda n’osobola okumutegeera. Bayibuli egamba nti: “Engeri ze ezitalabika . . . zirabikira ddala bulungi okuva ensi lwe yatondebwa, kubanga zitegeererwa ku bintu ebyakolebwa.”​—Abaruumi 1:20.

Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri ensi gye yatondebwamu. Engeri ensi gye yatondebwamu etusobozesa okubeera abalamu n’okunyumirwa obulamu. Tuwulira bulungi bwe tufuuyibwa akawewo akalungi, bwe twota akasana, bwe tulya ekibala ekiwooma, oba bwe tuwulira ebinyonyi nga biyimba. Ebintu bino byonna biraga nti Omutonzi waffe alina amagezi mangi, atufaako nnyo, era mugabi.

Bwe weetegereza ebiri mu bwengula, biki by’osobola okuyiga ku Katonda? Ekisookera ddala, obwengula bwoleka amaanyi ga Katonda. Gye buvuddeko, bannasayansi baakizuula nti obwengula bweyongera okugaziwa ate ku sipiidi ey’amaanyi ennyo! Bw’otunula waggulu mu budde obw’ekiro, weebuuze: ‘Amaanyi agatambuza ebitonde ebiri mu bwengula gava wa?’ Bayibuli egamba nti Omutonzi waffe alina ‘amaanyi’ mangi nnyo. (Isaaya 40:26) Ebintu Katonda bye yatonda biraga nti ye ‘muyinza w’ebintu byonna.’​—Yobu 37:23.

‘OYO EYANNYONNYOLA EBIMUKWATAKO’

Omukyala omu alina abaana ababiri abazibe b’amaaso agamba nti: “Okwogera nabo kye kimu ku bintu ebikulu ebibayamba okuyiga. Baba baagala obabuulire buli kimu ky’olaba ne ky’owulira, era obannyonnyole bulungi. Ggwe obeera amaaso gaabwe.” Mu ngeri y’emu, wadde nga “tewali muntu yali alabye Katonda,” Omwana we Yesu, amuli ku lusegere, ‘yannyonnyola ebimukwatako.’ (Yokaana 1:18) Olw’okuba Yesu ye yasooka okutondebwa era nga ye Mwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka, yafuuka “amaaso” gaffe agatuyamba okulaba ebiri mu ggulu. Y’asobola okutubuulira byonna ebikwata ku Katonda atalabika.

Yesu yamala obuwumbi n’obuwumbi bw’emyaka ng’ali ne Kitaawe. Weetegereze ebimu ku bintu bye yatubuulira ebikwata ku Katonda:

  • Katonda akola nnyo. “N’okutuusa kaakano Kitange akola.”​—Yokaana 5:17.

  • Katonda amanyi bye twetaaga. “Kitammwe Katonda amanyi ebintu bye mwetaaga nga temunnaba na kubimusaba.”​—Matayo 6:8.

  • Katonda tasosola. “Kitammwe ali mu ggulu . . . omusana gwe agwakiza abalungi n’ababi era enkuba ye agitonnyeseza abatuukirivu n’abatali batuukirivu.”​—Matayo 5:45.

  • Buli muntu Katonda amutwala nga wa muwendo. “Enkazaluggya ebbiri tezigula ssente emu ey’omuwendo omutono ennyo? Kyokka tewali n’emu egwa ku ttaka nga Kitammwe tamanyi. Naye mmwe enviiri z’oku mitwe gyammwe zonna zibaliddwa. N’olwekyo, temutya: muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.”​—Matayo 10:29-31.

OMUNTU EYAYOLEKA ENGERI ZA KATONDA ATALABIKA

Ng’omuzibe w’amaaso bw’atasobola kukunnyonnyolera ddala kintu nga bwe kifaanana olw’okuba aba takirabako, naffe tetusobola kutegeera bulungi Katonda ku lwaffe. Naye waliwo omuntu eyatulagira ddala ekyo Katonda ky’ali. Omuntu oyo yali ani?

Omuntu oyo ye Yesu. (Abafiripi 2:7) Yesu teyakoma ku kwogera ku Katonda, naye era yatulaga ekyo Katonda ky’ali. Omu ku bayigirizwa ba Yesu ayitibwa Firipo yamugamba nti: “Mukama waffe, tulage Kitaawo.” Yesu yamuddamu nti: “Alabye nze aba alabye ne Kitange.” (Yokaana 14:8, 9) Ebyo Yesu bye yakola biyinza bitya okutuyamba “okulaba” Katonda atalabika?

Yesu yali muwombeefu, yali atuukirikika, era yali afaayo ku balala. (Matayo 11:28-30) Ekyo kyasikirizanga abantu okujja gy’ali. Yesu yalumirirwanga abantu abaali babonaabona, era yasanyukiranga wamu n’abo abaabanga basanyuka. (Lukka 10:17, 21; Yokaana 11:32-35) Bw’oba osoma oba ng’owuliriza ebikwata ku Yesu, bifumiitirizeeko nnyo obe ng’eyaliwo nga Yesu akola ebintu ebyo. Bw’onookola bw’otyo, ojja kutegeera engeri za Katonda era ekyo kijja kukuleetera okumwagala.

BYONNA BIFUMIITIRIZEEKO

Bwe yali ayogera ku ngeri bamuzibe gye bategeeramu ebintu ebibeetoolodde, omuwandiisi omu yagamba nti: “Muzibe akozesa obusobozi obw’enjawulo bw’alina (obw’okuwunyiriza, obw’okukwata ku kintu, obw’okuwulira, n’obulala) n’asobola okutegeera obulungi ekintu.” Mu ngeri y’emu, bwe weetegereza ebitonde bya Katonda, n’osoma ebyo Yesu bye yayigiriza ebikwata ku Katonda, era ne weetegereza n’engeri Yesu gye yayolekamu engeri za Katonda, ojja kutegeera bulungi Katonda atalabika. Ajja kuba wa ddala gy’oli.

Yobu, omuweereza wa Katonda eyaliwo mu biseera eby’edda naye bw’atyo bwe yakola. Mu kusooka waliwo ebintu bye yayogera ‘mu butamanya.’ (Yobu 42:3) Naye oluvannyuma Yobu bwe yeetegereza ebitonde bya Katonda, yagamba nti: “Nnali nkuwuliddeko [n’okutu kwange]; naye kaakano eriiso lyange likulaba.”​—Yobu 42:5.

Naawe osobola okukola bw’otyo. ‘Bw’onoonoonya Yakuwa, ojja kumuzuula.’ (1 Ebyomumirembe 28:9) Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukuyamba asobole okunoonya Katonda atalabika era omuzuule.

‘Bw’onoonoonya Yakuwa, ojja kumuzuula’