Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

 OKUKUBAGANYA EBIROWOOZO

Obwakabaka bwa Katonda Bwatandika Ddi Okufuga? (Ekitundu 2)

Obwakabaka bwa Katonda Bwatandika Ddi Okufuga? (Ekitundu 2)

Ekitundu kino kiraga engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bakubaganyaamu ebirowoozo n’abantu abalala. Ka tugambe nti Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Cameron azzeeyo ewa John.

OKWEJJUKANYA EKIROOTO KYA NEBUKADDUNEEZA

John: Nsanyuse okukulaba Cameron.

Cameron: Nange nsanyuse okukusangawo. Oli otya leero?

John: Ndi bulungi. Ate ggwe oli otya?

Cameron: Nange ndi bulungi. Nyumirwa nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku Bayibuli buli wiiki. * Olunaku lwe nnasembayo okujja, twayogera ku nsonga lwaki ffe Abajulirwa ba Yakuwa tugamba nti Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga mu 1914. * Nga bwe twalaba, obunnabbi obuli mu Danyeri essuula 4 butuyamba okutegeera ensonga eyo. Okyajjukira ebiri mu ssuula eyo?

John: Essuula eyo eyogera ku kirooto kya Kabaka Nebukadduneeza ekikwata ku muti omunene.

Cameron: Kyekyo kyennyini. Mu kirooto ekyo, Nebukadduneeza yalaba omuti omunene ennyo nga gutuukira ddala ku ggulu. Yawulira malayika wa Katonda ng’alagira nti omuti ogwo gutemebwe, naye ekikolo kyagwo n’emirandira gyagwo birekebwe mu ttaka. Oluvannyuma ‘lw’ebiseera musanvu,’ omuti ogwo gwandizzeemu okukula. * Ate era twalaba nti obunnabbi obwo bwali bwakutuukirizibwa emirundi ebiri. Okyajjukira okutuukirizibwa okwasooka?

John: Okutuukirizibwa okwasooka kwali kukwata ku Nebukadduneeza kennyini. Yamala emyaka musanvu nga mulalu. Si bwe kiri?

Cameron: Bwe kiri. Nebukadduneeza yali mulalu okumala ekiseera, era mu kiseera ekyo yali takyafuga. Naye obunnabbi obwo bwandituukiriziddwa ku kigero ekisingawo, obufuzi bwa Katonda bwanditaataaganyiziddwa okumala ebiseera musanvu. Nga bwe twalaba ku luli, ebiseera omusanvu byatandika mu mwaka gwa 607 E.E.T., * ekibuga Yerusaalemi lwe kyazikirizibwa. Okuva mu kiseera ekyo, waali tewakyaliwo bakabaka ku nsi abaafuganga abantu nga bakiikirira Yakuwa Katonda. Naye ku nkomerero y’ebiseera omusanvu, Katonda yanditaddewo Omufuzi omupya, era ng’Omufuzi oyo yandifuze ng’asinziira mu ggulu. Mu ngeri endala, ku nkomerero y’ebiseera omusanvu Obwakabaka bwa Katonda bwanditandise okufuga. Kati tumanyi ebiseera omusanvu lwe byatandika. N’olwekyo bwe tunaategeera obuwanvu bw’ebiseera ebyo, tujja kumanya omwaka Obwakabaka bwa Katonda lwe bwatandika okufuga. Ndowooza ensonga eyo ogijjukira.

John: Ngijjukira bulungi.

Cameron: Kati ka tulabe obuwanvu bw’ebiseera omusanvu. Nnazzeemu okusoma obunnabbi buno ne nnejjukanya ensonga enkulu. Nja kufuba okukunnyonnyola obulungi.

John: Kale.

 EBISEERA OMUSANVU BIGGWAAKO—ENNAKU EZ’ENKOMERERO ZITANDIKA

Cameron: Mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi okwasooka okukwata ku Nebukadduneeza, ebiseera omusanvu gyali emyaka musanvu gyokka. Naye mu kutuukirizibwa okw’okubiri okukwata ku Bwakabaka bwa Katonda, ebiseera omusanvu si myaka musanvu gyokka wabula kiseera kiwanvu ddala.

John: Lwaki ogamba bw’otyo?

Cameron: Kijjukire nti ebiseera omusanvu byatandika mu mwaka gwa 607 E.E.T. ekibuga Yerusaalemi lwe kyazikirizibwa. N’olwekyo ebiseera omusanvu bwe giba emyaka musanvu gyokka, giba gyaggwaako mu mwaka gwa 600 E.E.T. Naye mu mwaka ogwo tewali kintu kyonna kikwata ku Bwakabaka bwa Katonda ekyabaawo. Ng’oggyeeko ekyo, luli twalaba nti Yesu bwe yali ku nsi, yalaga nti ebiseera omusanvu byali tebinnaggwaako.

John: Ekyo nkijjukira bulungi.

Cameron: N’olwekyo ebiseera omusanvu si myaka musanvu gyokka, wabula kiseera kiwanvu ddala.

John: Kiwanvu kwenkana wa?

Cameron: Ekitabo kya Bayibuli eky’Okubikkulirwa, nga nakyo kikwatagana n’ekitabo kya Danyeri, kituyamba okutegeera obuwanvu bw’ebiseera omusanvu. Kiraga nti ebiseera bisatu n’ekitundu birimu ennaku 1,260. * N’olwekyo ebiseera bisatu n’ekitundu bw’obikubisaamu emirundi ebiri biba ebiseera musanvu, era nga ze nnaku 2,520. Okitegedde bulungi?

John: Nkitegedde. Naye sinnalaba bwe kiraga nti Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga mu 1914.

Cameron: Kati ka tulabe engeri gye tutuuka ku mwaka ogwo. Mu bunnabbi obumu obuli mu Bayibuli, olunaku lumu lukiikirira omwaka gumu. * Bwe tukozesa embala eyo, ebiseera omusanvu bibaamu emyaka 2,520. Bwe tubala nga tutandikira ku mwaka gwa 607 E.E.T., emyaka 2,520 giggwaako mu 1914. * Eyo ye ngeri gye tumanyaamu nti ebiseera omusanvu byaggwaako mu 1914, era nti mu mwaka ogwo Yesu yatandika okufuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Ate era okuva mu 1914, wazze wabaawo ebintu ebitali bimu ebyayogerwako mu Bayibuli nti byandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero.

John: Bintu ki ebyo?

Cameron: Ebimu ku byo Yesu yabyogerako wano mu Matayo 24:7. Bwe yali ayogera ku ebyo ebyandibaddewo ng’atandise okufuga mu ggulu, Yesu yagamba nti: “Eggwanga lirirumba eggwanga eddala, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala, walibaawo enjala ne musisi mu bifo ebitali bimu.” Yesu yagamba nti mu kiseera ekyo wandibaddewo enjala ne Musisi. Era okuva mu kyasa ekiyise ebizibu ebyo byeyongedde nnyo mu nsi, si bwe kiri?

John: Bwe kiri.

Cameron: Ate era mu lunyiriri luno, Yesu yagamba nti bwe yandibadde afuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, wandibaddewo entalo. Ekitabo kya Bayibuli eky’Okubikkulirwa kiraga nti entalo ezo zandibadde za maanyi era zandikosezza ensi yonna. * Ojjukira omwaka ssematalo eyasooka lwe yatandika?

John: Yatandika mu 1914 era nga gwe mwaka gw’ogamba nti Yesu lwe yatandika okufuga. Ekyo mbadde sikirowoozangako!

 Cameron: Bwe tukwataganya obunnabbi obukwata ku biseera omusanvu n’obunnabbi obulala obukwata ku nnaku ez’enkomerero tukiraba nti busonga ku mwaka 1914. Abajulirwa ba Yakuwa bakakafu nti Yesu yatandika okufuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda mu 1914, era nti ennaku ez’enkomerero zaatandika mu mwaka ogwo. *

John: Nja kwongera okubyekenneenya nsobole okubitegeera obulungi.

Cameron: Ekyo kirungi. Nga bwe nnakugamba ku luli, nange kyantwalira ekiseera okubitegeera obulungi. Naye ndowooza bye tukubaganyizzaako ebirowoozo bikuyambye okukitegeera nti wadde ng’omwaka 1914 tegwogerwako butereevu mu Bayibuli, ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza ebikwata ku mwaka ogwo byesigamiziddwa ku Bayibuli.

John: Kituufu, era kinneewuunyisa okulaba nti buli kye muyigiriza teba ndowooza yammwe wabula kiba kyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Naye kye nneebuuza, lwaki obunnabbi buno si bwangu kutegeera? Lwaki Katonda teyakiraga butereevu mu Bayibuli nti Yesu yanditandise okufuga mu ggulu mu 1914?

Cameron: Ekyo kibuuzo kirungi nnyo. Mu butuufu, waliwo ebintu bingi mu Bayibuli ebitayogerwako butereevu. Naye lwaki kyetaagisa okufuba okusobola okutegeera ebintu ebimu ebiri mu Bayibuli? Ekyo kye tujja okwogerako lwe nnaakomawo.

John: Kale. Nneesunga lw’onodda.

Waliwo ekibuuzo kyonna ekikwata ku Katonda oba ekikwata ku nzikiriza z’Abajulirwa ba Yakuwa kye weebuuza? Bwe kiba bwe kityo, tolonzalonza kubuuza Mujulirwa wa Yakuwa yenna gw’onooba osisinkanye. Ajja kuba musanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku nsonga ng’ezo.

^ par. 8 Abajulirwa ba Yakuwa balina enteekateeka ey’okuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere.

^ par. 8 Laba ekitundu ekirina omutwe, “Okukubaganya Ebirowoozo—Obwakabaka bwa Katonda Bwatandika Ddi Okufuga?—Ekitundu 1” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 1, 2014.

^ par. 12 E.E.T. kitegeeza ng’Embala Eno Tennatandika, ate E.E. kitegeeza Embala Eno.

^ par. 25 Laba ekipande ekirina omutwe, “Ekirooto kya Nebukadduneeza Ekikwata ku Muti.”