OKUKUBAGANYA EBIROWOOZO
Lwaki Tusaanidde Okujjukira Okufa kwa Yesu?
Ekitundu kino kiraga engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bakubaganyaamu ebirowoozo n’abantu abalala. Ka tugambe nti Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Megan azze mu maka ga Sarah.
“MUKOLENGA BWE MUTYO OKUNZIJUKIRANGA”
Megan: Sarah, weebale kujja ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu Kristo wiiki ewedde. * Omukolo wagulaba otya?
Sarah: Omukolo gwali mulungi, naye ebimu ku byayigirizibwa saabitegeera bulungi. Abantu bangi bakuza amazaalibwa ga Yesu ku Ssekukkulu n’amazuukira ge ku Ppaasika, naye simanyi nsonga lwaki mmwe mujjukira kufa kwe.
Megan: Kyo kituufu nti okwetooloola ensi yonna abantu bangi bakuza Ssekukkulu ne Ppaasika, naye ffe Abajulirwa ba Yakuwa tukitwala nti kikulu nnyo okujjukira okufa kwa Yesu. Bw’oba olinawo eddakiika ntonotono, nsobola okukulaga ensonga lwaki kikulu nnyo okujjukira okufa kwe.
Sarah: Osobola okundaga.
Megan: Ensonga lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bajjukira okufa kwa Yesu eri nti ye kennyini yalagira abagoberezi be okukikola. Lowooza ku ebyo ebyaliwo mu kiro ekyasembayo nga Yesu tannattibwa. Ojjukira ekijjulo ekyasembayo kye yalya ng’ali wamu n’abayigirizwa be?
Sarah: Yee, nkijjukira.
Megan: Bayibuli ekiyita Eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Ku ky’ekiro ekyo, Yesu yawa abagoberezi be ekiragiro. Nkusaba osome kye yabalagira wano mu Lukka 22:19.
Sarah: Wagamba nti: “Era n’atoola omugaati, ne yeebaza, n’agumenyamu, n’agubawa ng’agamba nti: ‘Guno gukiikirira omubiri gwange ogugenda okuweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga nze.’”
Megan: Weebale nnyo. Weetegereze ekiragiro Yesu kye yabawa mu sentensi esembayo: “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga nze.” Ate era nga Yesu tannagamba bagoberezi be kumujjukiranga, yababuulira ekyo kyennyini kye basaanidde okumujjukirako. Yagamba nti obulamu bwe bwali bugenda kuweebwayo ku lw’abagoberezi be. Yesu era yayogerako ku nsonga eyo nga bwe kiragibwa mu Matayo 20:28. Olunyiriri olwo lugamba nti: ‘Omwana w’omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza n’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.’ Mu bufunze, eyo ye nsonga lwaki ffe Abajulirwa ba Yakuwa tukuŋŋaana buli mwaka okujjukira okufa kwa Yesu, kwe kugamba okujjukira ssaddaaka Yesu gye yawaayo. Okufa kwa Yesu kujja kusobozesa abo abakola Katonda by’ayagala okufuna obulamu obutaggwaawo.
LWAKI EKINUNULO KYALI KYETAAGISA?
Sarah: Ntera okuwulira ng’abantu bagamba nti Yesu yatufiirira tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo. Naye ddala ekyo kisoboka?
Megan: Sarah, si ggwe wekka eyeebuuza ekibuuzo ekyo. Ekinunulo kya ssaddaaka ya Yesu
njigiriza ya buziba, naye y’emu ku njigiriza eziri mu Kigambo kya Katonda ezisinga okuba ez’omuwendo. Okyalinawo ku kadde?Sarah: Yee.
Megan: Kale. Ntera okusoma ku bikwata ku kinunulo kya Yesu, era ŋŋenda kugezaako okukinnyonnyola mu ngeri ennyangu.
Sarah: Kale.
Megan: Okusobola okutegeera obulungi ekinunulo, tulina okusooka okumanya ekyabaawo Adamu ne Kaawa bwe baajeemera Katonda mu lusuku Adeni. Ka tusome Abaruumi 6:23. Wandyagadde okusoma ekyawandiikibwa ekyo?
Sarah: Yee. Kigamba nti: “Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo Katonda ky’agaba bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.”
Megan: Weebale nnyo. Ka twekenneenye ekyawandiikibwa kino. Ensonga esooka, ekyawandiikibwa kigambye nti: “Empeera y’ekibi kwe kufa.” Ekyo Katonda kye yagamba abantu abaasooka okutondebwa. Bwe bandyonoonye bandifudde. Kyo kituufu nti ku ntandikwa, tewaaliwo mwonoonyi. Adamu ne Kaawa baatondebwa nga batuukiridde, era n’abo bonna be bandizadde bandibadde batuukiridde. Abantu bandibadde tebafa. Adamu ne Kaawa n’abo bonna be bandizadde bandibadde n’essuubi ery’okubeera abalamu emirembe gyonna nga basanyufu. Naye bwe kityo si bwe kiri. Ojjukira ekyaliwo?
Sarah: Yee, nzijukira. Adamu ne Kaawa baalya ku kibala ekyabagaanibwa.
Megan: Kituufu. Era bwe baalya ku kibala ekyo, kwe kugamba bwe baasalawo okujeemera Katonda, baayonoona. Mu ngeri endala, bo bennyini baasalawo okufuuka abatatuukiridde oba aboonoonyi. Ekyo kyandivuddemu ebizibu eby’amaanyi bingi ebyandikosezza n’abo bonna be bandizadde.
Sarah: Awo sikutegedde?
Megan: Ka nkozese ekyokulabirako ekikwata ku kukuba amatoffaali. Wali olabyeko akatiba ke bakozesa okukuba amatoffaali?
Sarah: Yee. Nnali nkalabyeko.
Megan: Omuntu bw’akozesa akatiba akaakyama, kiki ekituuka ku buli toffaali ly’afulumya?
Sarah: Buli toffaali liba likyamye.
Megan: Mu ngeri y’emu, Adamu ne Kaawa bwe baasalawo okujeemera Katonda, baafuuka boonoonyi era abatatuukiridde. Era ekyo kyabaawo nga tebannazaala. Ng’amatoffaali gonna agakubirwa mu katiba akaakyama bwe gavaamu nga gakyamye, abaana baabwe bonna bandizaaliddwa n’ekibi. Mu Bayibuli, ekigambo “ekibi” kikozesebwa ku kikolwa eky’okwonoona ne ku butali butuukirivu bwe twasikira. N’olwekyo wadde nga nze naawe tetwayonoona, kubanga twali tetunnazaalibwa, Adamu ne Kaawa bwe baayonoona, abantu ffenna nga mw’otwalidde n’abaana be twandizadde baatusikiza obutali butuukirivu n’ekibi ebituviirako okufa. Nga bwe tusomye mu Abaruumi 6:23, empeera y’ekibi kwe kufa.
Sarah: Ekyo nga si kya bwenkanya! Abantu bonna ne babonaabona olw’ekibi kya Adamu ne Kaawa!
Megan: Oli mutuufu, si kya bwenkanya. Olw’okuba Katonda mwenkanya, yasalawo Adamu ne Kaawa baffe olw’ekibi kye baakola, naye ffe bazzukulu baabwe yatuwa essuubi. Katonda yakola enteekateeka ey’okuggyawo ekibi n’okufa. Eno ye nsonga lwaki ekinunulo kya ssaddaaka ya Yesu kyali kyetaagisa. Ddamu weetegereze Abaruumi 6:23. Oluvannyuma lw’okugamba nti “empeera y’ekibi kwe kufa,” ekyawandiikibwa kigamba nti: “Naye ekirabo Katonda ky’agaba bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.” N’olwekyo okufa kwa Yesu kwe kutusobozesa okununulwa okuva mu kibi n’okufa. *
EKINUNULO KYE KIRABO EKISINGAYO OBULUNGI KATONDA KYE YATUWA
Megan: Waliwo ensonga endala mu kyawandiikibwa kino gye njagala olowoozeeko.
Sarah: Nsonga ki?
Megan: Ekyawandiikibwa kigambye nti: “Ekirabo Katonda ky’agaba bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.” Okuva bwe kiri nti Yesu ye yabonaabona ku lwaffe era n’atufiirira, lwaki ekyawandiikibwa kigamba nti ekinunulo ‘kirabo Katonda ky’agaba’? Lwaki tekigamba nti, “ekirabo Yesu ky’agaba”? *
Sarah: Simanyi.
Megan: Katonda ye yatonda Adamu ne Kaawa, era ye gwe baajeemera mu lusuku Adeni. Ateekwa okuba nga yanakuwala nnyo abantu ababiri be yasooka okutonda bwe baamujeemera. Naye amangu ddala Yakuwa yalaga engeri gye yandigonjoddemu ensonga eyo. * Yakola enteekateeka Yesu ajje ku nsi, azaalibwe ng’omuntu atuukiridde, era oluvannyuma aweeyo obulamu bwe ng’ekinunulo. N’olwekyo, enteekateeka y’ekinunulo Katonda ye yagikola era kirabo okuva gy’ali. Waliwo ekintu ekirala ekiraga nti ekinunulo kirabo okuva eri Katonda. Wali olowoozezza ku ngeri Katonda gye yawuliramu nga Yesu attibwa?
Sarah: Nedda, sikirowoozangako.
Megan: Mu luggya lwo ndabamu ddole n’obumotoka bw’abaana. Olina abaana?
Sarah: Yee, nnina abaana babiri. Omuwala n’omulenzi.
Megan: Ng’omuzadde, lowooza ku ngeri Yakuwa Katonda, Kitaawe wa Yesu ow’omu ggulu, gye yawuliramu ku lunaku Yesu lwe yattibwa. Olowooza yawulira atya bwe yalaba Omwana we gw’ayagala ennyo ng’akwatibwa, ng’asekererwa, era ng’akubibwa ebikonde? Ate era olowooza yawulira atya ng’alaba Omwana we akomererwa era ng’afiira mu bulumi obutagambika?
Sarah: Ateekwa okuba nga yalumwa nnyo. Ekyo mbadde sikirowoozangako!
Megan: Kyo kituufu nti tetumanyi ngeri yennyini Katonda gye yawuliramu ku lunaku olwo. Naye tumanyi nti alina enneewulira, era tumanyi ensonga lwaki yaleka ebyo byonna okutuuka ku Mwana we. Ensonga eyo eragibwa bulungi mu kyawandiikibwa ekimanyiddwa ennyo, Yokaana 3:16. Nkusaba osome ekyawandiikibwa ekyo?
Sarah: Kigamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.”
Ekinunulo kye kirabo ekisingayo okwoleka okwagala kwa Katonda
Megan: Weebale nnyo. Weetegereze engeri ekyawandiikibwa gye kitandiseemu. Kigambye nti: “Katonda yayagala nnyo ensi.” Ekyo kitegeeza nti olw’okuba Katonda atwagala nnyo, yatuma Omwana we ku nsi atufiirire. Awatali kubuusabuusa, ekinunulo kye kirabo ekisingayo okwoleka okwagala kwa Katonda. Era eyo ye nsonga lwaki buli mwaka Abajulirwa ba Yakuwa baba n’omukolo ogw’okujjukira okufa kwa Yesu. Otegedde ensonga lwaki kikulu okujjukira okufa kwa Yesu?
Sarah: Yee, weebale kunnyinnyonnyola bulungi.
Waliwo ekibuuzo kyonna ekikwata ku Katonda oba ekikwata ku nzikiriza z’Abajulirwa ba Yakuwa kye weebuuza? Bwe kiba bwe kityo, tolonzalonza kubuuza Mujulirwa wa Yakuwa yenna gw’onooba osisinkanye. Ajja kuba musanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku nsonga ng’ezo.
^ lup. 5 Omulundi gumu buli mwaka, Abajulirwa ba Yakuwa baba n’omukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu. Omwaka guno, omukolo ogwo gujja kubaawo ku Lwokutaano, Apuli 3.
^ lup. 32 Ekitundu nga kino ekijja okufulumira mu katabo kano gye bujja, kijja kulaga engeri ssaddaaka ya Yesu gy’etusobozesa okununulwa okuva mu kibi, n’ekyo kye tusaanidde okukola okuganyulwa mu kinunulo ekyo.
^ lup. 36 Bayibuli eraga nti Katonda ne Yesu ba njawulo. Okumanya ebisingawo, laba essuula 4 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
^ lup. 38 Laba Olubereberye 3:15.