BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU
Nnayiga nti Yakuwa Musaasizi era Asonyiwa
-
YAZAALIBWA: 1954
-
ENSI: CANADA
-
EBYAFAAYO: YALI MUFERE, ERA NG’AKUBA ZZAALA
OBULAMU BWANGE BWE BWALI:
Nnakulira mu kitundu ekimu ekitaali bulungi mu byanfuna ekisangibwa mu kibuga Montreal. Bwe nnali ow’emyezi mukaaga egy’obukulu, taata yafa era maama n’aba nga y’alina okutulabirira mu buli kimu. Twazaalibwa abaana munaana era nze muggalanda.
Okuva mu buto, nnakozesanga ebiragalalagala, nnakubanga zzaala, nneenyigiranga mu bikolwa eby’obukambwe, era nnakolagananga n’abamenyi b’amateeka. Ku myaka kkumi egy’obukulu, nnatandika okukolera bamalaaya n’abo abawola ssente nga ŋŋenda gye baabanga bantumye. Nnalimbanga nnyo era nnanyumirwanga nnyo okukumpanya abantu n’okubafera. Gwali gunfuukidde muze.
We nnawereza emyaka 14, nnali nfunye obukodyo bungi obw’okufera abantu. Ng’ekyokulabirako, nnagulanga mu bungi amasaawa, ebikomo, n’empeta ebyabanga bisiigiddwako zzaabu ne mbiyolako akabonero akalaga nti byakolebwa mu zzaabu, oluvannyuma ne mbitunda ku nguudo ne mu bifo awasimbibwa ebidduka okumpi n’amaduuka amanene. Nnanyumirwanga nnyo okufuna ssente ez’oku mukeeka mu ngeri eyo. Mu butuufu, lumu nnakola ddoola 10,000 mu lunaku lumu lwokka!
Ku myaka 15, nnagobebwa mu kifo ekimu ekikuumirwamu abaana ababa bazizza emisango, ne mba nga sirina wa kusula. Nnasulanga mu maka ga mikwano gyange, ku nguudo ne mu bifo ebirala ng’ebyo.
Olw’okuba nnaferanga nnyo abantu, poliisi yankwantanga n’embuuza akana n’akataano. Naye olw’okuba ebyamaguzi bye nnatundanga tebyanga bibbe, saatwalibwanga mu kkomera. Wadde kyali kityo, nnatanzibwanga nnyo olw’okukumpanya, olw’okweyita kye ssiri, n’olw’okutunda ebintu mu ngeri emenya amateeka. Olw’okuba nnali sirina gwe ntya, abawola ssente bantumanga ne mbabanjiza ssente zaabwe. Ekyo kyateekanga obulamu bwange mu kabi, era emirundi egimu nnagendanga n’emmundu. Oluusi n’oluusi n’agendanga n’abamenyi b’amateeka.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:
Lwe nnasooka okuwulira ku bikwata ku Bayibuli nnalina emyaka 17. Mu kiseera ekyo nnali mbeera n’omuwala gwe nnali ŋŋanza eyatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Naye olw’okuba nnali ndowooza nti Bayibuli ekugira nnyo, nnamuleka ne ntandika okubeera n’omuwala omulala gwe nnali njogereza.
Kyanneewuunyisa nnyo omuwala ow’okubiri naye bwe yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, era ekyo kyaleetawo enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwange. Yakola enkyukakyuka mu bulamu bwe, era nnakwatibwako nnyo kubanga yatandika okuba ow’ekisa era omugumiikiriza. Bwe nnayitibwa okugenda ku Kizimbe ky’Obwakabaka ekya Abajulirwa ba Yakuwa nnakiriza. Nnasangayo abantu abaali bambadde obulungi era nga ba kisa era bannyaniriza bulungi. Nnali sibeerangako mu bantu ng’abo! Okuva mu buto nnali mpulira ng’ab’ewaka tebanjagala era tebanfaako. Naye Abajulirwa ba Yakuwa banfaako nnyo era bandaga okwagala. Bwe bansaba okunjigiriza Bayibuli nnakkiriza.
Nnyinza okugamba nti bye nnali njiga mu Bayibuli byamponya okufa. Nze ne bannange babiri twali tuteekateeka kubba nsobole okusasula amabanja gange aga zzaala agaali gaweza ddoola ezisukka mu 50,000. Naye kirungi nti ssaagenda nabo! Bwe baagenda okubba, omu yakwatibwa ate omulala n’attibwa.
Bwe nneeyongera okuyiga Bayibuli, nnakiraba nti waliwo enkyukakyuka nnyingi ze nnali nneetaaga okukola. Ng’ekyokulabirako, nnayiga ebyo ebiri mu 1 Abakkolinso 6:10, awagamba nti: ‘Ababbi, ab’omululu, abatamiivu, abavumi, n’abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.’ Bwe nnasoma olunyiriri olwo ne ndowooza ku bintu ebibi bye nnali nkola, nnatandika okukulukusa amaziga. Nnakiraba nti nnali nnina okukyusiza ddala obulamu bwange. (Abaruumi 12:2) Nnali mukambwe, mulimba, era nga njagala nnyo okulwana.
Naye bwe nnali njigirizibwa Bayibuli, nnakitegeera nti Yakuwa musaasizi era asonyiwa. (Isaaya 1:18) Nnasaba nnyo Yakuwa nga mmwegayirira annyambe okukyusa empisa zange. Yannyamba era mpolampola nnasobola okukyusiza ddala empisa zange. Emu ku nkyukakyuka ez’amaanyi nze ne muganzi wange ze twakola kwe kuwandiisa obufumbo bwaffe mu mateeka.
Nkyali mulamu leero olw’okukolera ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza
Nnalina emyaka 24 egy’obukulu era nga nze ne mukyala wange tulina abaana basatu. Nnalina okunoonya omulimu ogukkirizibwa mu mateeka. Kyokka, nnalina obuyigirize butono era nga sirina muntu asobola kunsemba kuweebwa mulimu. Nnaddamu ne nsaba nnyo Yakuwa, oluvannyuma ne ntandika okunoonya omulimu. Nnagambanga abagaba emirimu nti nnali njagala kukyusa nneeyisa yange nsobole okuba omukozi omunyiikivu. Abamu nnabagamba nti njiga Bayibuli era nti njagala kubeera muntu wa buvunaanyizibwa. Bangi baagaana okumpa omulimu. Naye oluvannyuma, omu ku bagaba emirimu bwe nnamala okumunnyonnyola embeera gye nnali mpiseemu, yagamba nti: “Simanyi nsonga lwaki, naye muli mpulira nti nnina okukuwa omulimu.” Nnakiraba nti Yakuwa yali azzeemu okusaba kwange. Oluvannyuma lw’ekiseera, nze ne mukyala wange twabatizibwa ne tufuuka Abajulirwa ba Yakuwa.
ENGER GYE ŊŊANYUDDWAMU:
Nkyali mulamu leero olw’okukolera ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza n’olw’okweyisa ng’Omukristaayo. Nze n’ab’omu maka gange tuli basanyufu. Olw’okuba ndi mukakafu nti Yakuwa yansonyiwa, omuntu ow’omunda takyannumiriza.
Mmaze emyaka 14 mu buweereza obw’ekiseera kyonna, nga nnyamba abantu okuyiga Bayibuli by’eyigiriza, era gye buvuddeko, mukyala wange yanneegattako mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Mu myaka 30 egiyise, nsobodde okuyamba bakozi bannange abawerera ddala 22 okufuuka abaweereza ba Yakuwa. Nkyagenda mu bifo ebirimu amaduuka amanene, naye si kufera bantu nga bwe nnakolanga! Ŋŋendayo okubabuulira ku ebyo ebiri mu Bayibuli n’okubawa essuubi ery’okubeera mu nsi empya etalibaamu bafere!