EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | KATONDA ALINA NDOWOOZA KI KU NTALO?
Endowooza Katonda gye Yalina ku Ntalo mu Kyasa Ekyasooka
Abayudaaya abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali banyigirizibwa nnyo Abaruumi abaali babafuga. Okufaananako bajjajjaabwe Abayisiryiri, nabo baasaba Katonda enfunda n’enfunda abanunule mu mukono gw’Abaruumi. Oluvannyuma baawulira ebikwata ku Yesu, era ne beebuuza nti, Yandiba nga ye Masiya? Tekyewuunyisa nti bangi baali ‘basuubira nti omusajja oyo ye yali ow’okununula Isirayiri’ okuva mu mukono gw’Abaruumi. (Lukka 24:21) Kyokka Abayisirayiri tebaanunulwa. Mu kifo ky’ekyo, mu mwaka gwa 70 embala eno, eggye ly’Abaruumi lyazikiriza ekibuga Yerusaalemi ne yeekaalu.
Lwaki ku luno Katonda teyalwanirira Bayudaaya nga bwe yakolanga edda? Lwaki teyabalagira kulwanyisa Baruumi abaali babanyigiriza? Endowooza ya Katonda ku ntalo yali ekyuse? Nedda. Waliwo ekintu Abayudaaya kye baakola ekyanyiiza Katonda. Baagana okukkiriza nti Yesu, Omwana wa Katonda, ye Masiya. (Ebikolwa 2:36) N’olwekyo okutwalira awamu, Abayudaaya baafiirwa enkolagana gye baalina ne Katonda.
Katonda yali takyakuuma Bayudaaya awamu n’ensi yaabwe ensuubize nga bwe yakolanga. N’olwekyo okuva mu kiseera ekyo, Katonda teyaddamu kubawagira oba kubayamba mu ntalo. Yesu yagamba nti eggwanga lya Isirayiri lyafiirwa enkizo ey’okuba abantu ba Katonda. Enkizo eyo yaweebwa eggwanga eriggya oba ery’omwoyo, Bayibuli ly’eyita “Isirayiri wa Katonda.” (Abaggalatiya 6:16; Matayo 21:43) Ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta ye Isirayiri wa Katonda. Mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo abo abaafukibwako amafuta baagambibwa nti: “Kati muli ggwanga lya Katonda.”
Okuva bwe kiri nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali bafuuse “ggwanga lya Katonda,” yabalwanirira asobole okubanunula mu mukono gw’Abaruumi? Oba yabakkiriza okulwanyisa abalabe baabwe? Nedda. Nga bwe tulabye mu kitundu ekivuddeko, Katonda ye yasalangawo ekiseera entalo ze yabanga akkirizza lwe zaalinanga okulwanibwa. Katonda teyalwanirira Bakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka era teyabakkiriza kulwana ntalo, kubanga ekyo si kye kyali ekiseera kya Katonda okulwanyisa abantu ababi.
N’olw’ensonga eyo, okufaananako abaweereza ba Katonda abaaliwo edda, Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baalina okulinda ekiseera ekituufu Katonda lwe yandiggyeewo abalabe baabwe. Katonda teyabawa lukusa kulwanyisa balabe baabwe. Yesu Kristo naye teyalagira bagoberezi be kulwana ntalo. Yabagamba nti: “Mweyongere okwagala abalabe bammwe era n’okusabira abo ababayigganya.” (Matayo 5:44) Bwe yali ayogera ku kiseera Abaruumi lwe bandirumbye Yerusaalemi, Yesu yagamba abayigirizwa be obutasigala mu kibuga kulwana, wabula bakiddukemu. Ekyo kyennyini kye baakola.
Okugatta ku ekyo, omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Temuwooleranga ggwanga, . . . kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula,’ bw’ayogera Yakuwa.” (Abaruumi 12:19) Omutume Pawulo yali ajuliza ebigambo bya Katonda ebiri mu Eby’Abaleevi 19:18 ne Ekyamateeka 32:35. Nga bwe tulabye mu kitundu ekivuddeko, mu biseera eby’edda Katonda yawooleranga eggwanga ng’akkiriza abantu be okulwanyisa abalabe baabwe. N’olwekyo omutume Pawulo yalaga nti endowooza ya Katonda ku ntalo yali tekyukanga. Ne mu kyasa ekyasooka, entalo Katonda yali akyazitwala ng’engeri y’okulwanirira abantu be n’okumalawo ebikolwa ebibi. Kyokka nga bwe kyali mu biseera eby’edda, Katonda ye yasalangawo ekiseera entalo ezo we zaabeererangawo na baani abaazirwananga.
Awatali kubuusabuusa, Katonda teyakkiriza Bakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka okulwana entalo. Ate zo entalo ezirwanibwa mu kiseera kino? Katonda alina abantu b’akkiriza okulwana entalo mu kiseera kino? Kino kye kiseera ekituufu Katonda okulwanirira abaweereza be? Entalo ezirwanibwa mu kiseera kino Katonda azitwala atya? Ebibuuzo ebyo bigenda kuddibwamu mu kitundu ekiddako.