ZUUKUKA Na. 2 2017 | Kiki Ekiri Emabega w’Amaanyi Agatali ga Bulijjo?
Leero, firimu ne programu za ttivi nnyingi zibaamu abantu abakozesa amaanyi agatali ga bulijjo, gamba ng’abafuusa oba abakola eby’obulogo.
Olowooza otya? Ebintu ebyo birimu akabi konna?
Magazini eno eya “Zuukuka!” eraga ensonga lwaki leero abantu bangi bettanira nnyo ebintu ebirimu amaanyi agatali ga bulijjo era eraga ensibuko y’amaanyi ago.
OMUTWE OGULI KUNGULU
Lwaki Abantu Bettanira Ebintu Ebirimu Amaanyi Agatali ga Bulijjo?
Lwaki abantu bettanira nnyo ebintu ebirimu eby’obulogo, eby’obusamize, abantu abaliko emyoyo emibi, oba ebirimu emizimu?
OMUTWE OGULI KUNGULU
Kiki Bayibuli ky’Eyogera ku by’Obusamize?
Wadde ng’eby’obusamize abantu bangi babitwala ng’ebitalina mutawaana, Bayibuli eraga nti bya kabi nnyo. Kiki Bayibuli ky’eyogera ku by’obusamize?
KYAJJAWO KYOKKA?
Engeri Enjuki gy’Egwa ku Kintu
Okukoppa engeri enjuki gy’egwa ku kintu kisobola kitya okuyamba bannassaayansi okulongoosa mu tekinologiya wa loboti ezibuuka?
EBIYAMBA AMAKA
Muzadde Wo bw’Afa
Okufiirwa omuzadde kiruma nnyo. Kiki ekiyinza okuyamba abaana okwaŋŋanga embeera eyo?
Abaana Abalina Ennaku olw’Okufiirwa ab’Eŋŋanda Zaabwe
Bayibuli yayamba etya abavubuka basatu nga bafiiriddwa bazadde baabwe?
ENSI N'ABANTU
Ka Tugendeko e Sipeyini
Sipeyini erimu ebintu bingi eby’enjawulo era n’abantu ab’enjawulo. Obadde okimanyi nti Sipeyini ye nsi esinga okukola buto ava mu mizeyituuni mu nsi yonna.
BAYIBULI KY'EGAMBA
Omusaalaba
Abantu bangi Omusaalaba bagutwala ng’akabonero ak’Ekikristaayo. Ddala Yesu yafiira ku musaalaba? Abayigirizwa ba Yesu baakozesanga omusaalaba mu kusinza?
Wandyagadde Okuyiga Ebiri mu Bayibuli?
Laba bye weetaaga ne by’oteetaaga okusobola okutegeera ebiri mu Bayibuli.
Ebirala Ebyajulizibwako mu Magazini Eyakubibwa mu Kyapa
Ddala Dayimooni Gyeziri?
Badayimooni be baani? Bava wa?