ABAANA
12: Ebiruubirirwa
KYE KITEGEEZA
Ekiruubirirwa si kirooto bulooto, kwe kugamba, si kintu kye wandyagadde kibeewo naye nga tokikoleredde. Ebiruubirirwa ebya nnamaddala byetaagisa omuntu okuba n’entegeka ennungi, okuba omwetegefu okukola enkyukakyuka, n’okukola n’obunyiikivu.
Ebiruubirirwa ebimu bitwala ekiseera kitono okubituukako (ennaku ntonotono oba wiiki ntonotono), ebirala bitwala ekiseera kiwanvuko (myezi), ate ebirala bitwala ekiseera kiwanvu ddala (omwaka gumu oba okusingawo). Okusobola okutuuka ku biruubirirwa ebitwala ekiseera ekiwanvu ddala, oba olina okusooka okutuuka ku biruubirwa ebitwala ekiseera ekimpi oba ekiwanvuko.
ENSONGA LWAKI KIKULU
Okutuuka ku biruubiriwa kiyamba omuntu okwekkiririzaamu, kinyweza emikwano, era kyongera ku ssanyu ly’alina.
Okwekkiririzaamu: Bwe weeteerawo ebiruubirirwa ebitonotono n’obituukako kikuyamba okwekakasa n’osobola okweteerawo ebiruubirirwa ebineneko. Era kikuyamba obutatya kwaŋŋanga kusoomooza kw’oyolekagana nakwo buli lunaku, gamba ng’okupikirizibwa banno.
Emikwano: Abantu batera okwagala okubeera n’abo abeeteerawo ebiruubirirwa, kwe kugamba, abo abamanyi kye baagala era nga bamalirivu okukituukako. Ate era engeri emu abantu gye bayinza okunywezaamu omukwano kwe kukolera awamu okutuuka ku kiruubirirwa kye kimu kye baba nakyo.
Essanyu: Bw’oteekawo ebiruubirirwa era n’obituukako, muli owulira essanyu.
“Njagala nnyo okweteerawo ebiruubirirwa. Binnyamba okuba nga buli kiseera nnina kye nkolerera. Era bw’otuuka ku kiruubirirwa kyo, owulira essanyu lingi bw’olowooza ku by’oyiseemu okukituukako.”—Christopher.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Atunuulira embuyaga talisiga, n’oyo atunuulira ebire talikungula.”—Omubuulizi 11:4.
KY’OYINZA OKUKOLA
Bino wammanga bisobola okukuyamba okweteerawo ebiruubirirwa era n’obituukako.
Kola olukalala. Kola olukalala lw’ebiruubiriwa bye wandyagadde okweteerawo era obisengeke okusinziira ku bye wandyagadde okusooka okutuukako.
Kola enteekateeka. Ku buli kiruubirirwa kye weeteerawo kola bino wammanga:
-
Ssaawo ebbanga lye wandyagadde okumala ng’okola okutuuka ku kiruubirirwa kyo.
-
Lowooza ku mitendera gy’ojja okuyitamu okukituukako.
-
Lowooza ku biyinza okukuziyiza okukituukako n’engeri gy’oyinza okubyaŋŋangamu.
Tandikirawo okukikolerera. Tolinda kusooka kumanya buli kalonda azingirwamu olyoke otandike okukolerera ekiruubirirwa kyo. Weebuuze, ‘Kiki kye nsaanidde okusookerako okukola okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyange?’ Kikole. Buli luvannyuma lwa kiseera, weekebere olabe w’otuuse.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Enteekateeka z’abanyiikivu zivaamu ebirungi.”—Engero 21:5.