Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKY’OKUYIGA 4

Okuba ow’Obuvunaanyizibwa

Okuba ow’Obuvunaanyizibwa

KITEGEEZA KI OKUBA OW’OBUVUNAANYIZIBWA?

Abantu ab’obuvunaanyizibwa baba beesigika. Bwe babaako omulimu gwe bakola bafuba okugukola obulungi era bagumaliriza mu budde.

Omwana asobola okuyiga okuba ow’obuvunaanyizibwa ne bw’aba ng’akyali muto nnyo. Ekitabo Parenting Without Borders kigamba nti: “Abaana bwe baweza emyezi 15 baba basobola okukola ekyo bazadde baabwe kye babagamba okukola, ate bwe baweza emyezi 18 baba baagala okukola ekyo bazadde baabwe kye bakola. Mu bitundu bingi, abaana bwe baba wakati w’emyaka etaano n’omusanvu bazadde baabwe batandika okubalaga engeri gye bayinza okuyambako ku mirimu gy’awaka era wadde nga baba bakyali bato basobola okukola obulungi emirimu egitali gimu.”

LWAKI KIKULU OKUBA OMUNTU OW’OBUVUNAANYIZIBWA?

Mu bitundu ebimu, abavubuka abamu bava awaka nga baagala okubeera bokka naye oluvannyuma balemererwa ne baddayo okubeera ne bazadde baabwe. Ekyo oluusi kiva ku kuba nti baba tebaayigirizibwa ngeri ya kukwatamu ssente, kukola mirimu gy’awaka, oba okutuukiriza obuvunaanyizibwa abantu okutwalira awamu bwe balina okutuukiriza.

N’olwekyo, kikulu okutendeka omwana wo asobole okwetegekera obuvunaanyizibwa bw’anaafuna ng’akuze. Ekitabo How to Raise an Adult kigamba nti: “Abaana bo tolina kubakolera buli kimu okutuusa lwe baweza emyaka 18 olwo n’olyoka obata okugenda mu nsi.”

OKUYIGIRIZA OMWANA WO OKUBA OW’OBUVUNAANYIZIBWA

Muwe emirimu.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Kya muganyulo okukola omulimu gwonna ogw’amaanyi.”​—Engero 14:23.

Abaana abato baagala nnyo okukolera awamu ne bazadde baabwe. N’olwekyo, osobola okubaako emirimu gy’owa abaana bo okukola awaka.

Abazadde abamu tebaagala kuwa baana baabwe mirimu waka. Bagamba nti olw’okuba abaana baba n’eby’okukola bingi bye baba babawadde ku ssomero, bwe babongerako emirimu gy’awaka, baba bongedde okubatikka omugugu.

Naye abaana abakola emirimu awaka emirundi mingi bakola bulungi ne ku ssomero, kubanga emirimu gy’awaka gibayigiriza okuba abeetegefu okukola ekintu kyonna ekiba kibaweereddwa n’okukimaliriza. Ng’oggyeeko ekyo, ekitabo ekiyitibwa Parenting Without Borders kigamba nti, “Bwe tutakkiriza baana baffe kutuyambako ku mirimu nga bakyali bato era nga baagala okukola emirimu, kibaleetera okulowooza nti okuyamba abalala si kikulu . . . Ate era batandika okusuubira nti abalala be balina okubakolerera.”

Abaana bwe baba nga bakola emirimu awaka bayiga okufaayo ku balala mu kifo ky’okwefaako bokka. Abaana okukola emirimu kibayamba okukiraba nti nabo ba mugaso awaka era nti balina obuvunaanyizibwa bwe balina okutuukiriza.

Yamba abaana bo okukimanya nti bwe bakola ensobi balina okwolekagana n’ebivaamu.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Wulirizanga okubuulirirwa era okkirizenga okukangavvulwa, olyoke obe wa magezi gye bujja.”​—Engero 19:20.

Omwana wo bw’akola ensobi, gamba ng’okwonoona ekintu ky’omuntu, weewale okumubikkirira. Abaana basobola okukkiriza ebyo ebiva mu ekyo kye baba bakoze. Ng’ekyokulabirako, basobola okwetonda oboolyawo n’okusasula kye baba boonoonye.

Abaana bwe bategeera nti bavunaanyizibwa ku nsobi gye baba bakoze, kibayamba

  • okuba abeesimbu n’okukkiriza ensobi zaabwe

  • okwewala okwekwasa abalala

  • okwewala okwekwasa obusongasonga

  • okwetonda bwe kiba nga kituukirawo