1 Katonda y’Atuleetera Okubonaabona?
Lwaki Kikulu
Abantu bangi tebaagala kuweereza Katonda olw’okuba balowooza nti y’aleeta okubonaabona.
Eky’Okulowoozaako
Mu ngeri emu oba endala, abakulu b’amadiini bangi bayigiriza nti Katonda y’atuleetera okubonaabona. Ng’ekyokulabirako, abamu bagamba nti:
Obutyabaga obugwawo Katonda y’abuleeta okubonereza abantu.
Abaana bafa olw’okuba Katonda yeetaaga bamalayika abalala mu ggulu.
Katonda abaako oludda lw’awagira mu ntalo, eziviiriddeko abantu okubonaabona ennyo.
Naye kyandiba nti abakulu b’amadiini bye bayigiriza ku Katonda si bituufu? Watya singa Katonda yabeesamba?
MANYA EBISINGAWO
Laba vidiyo Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? ku jw.org/lg.
Bayibuli ky’Egamba
Katonda si y’atuleetera okubonaabona.
Singa y’akuleeta, ekyo kiba tekikwatagana na ngeri ze ezoogerwako mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako:
“Amakubo [ga Katonda] gonna ga bwenkanya. . . . Mutuukirivu era mwenkanya.”—EKYAMATEEKA 32:4.
“Tekiyinzika Katonda ow’amazima okukola ebintu ebibi, tekiyinzika Omuyinza w’Ebintu Byonna okukola ekikyamu!”—YOBU 34:10.
“Omuyinza w’Ebintu Byonna tayinza kukola kitali kya bwenkanya.”—YOBU 34:12.
Katonda akyawa amadiini agamwogerako eby’obulimba.
Omwo mwe muli amadiini agayigiriza nti Katonda y’atuleetera okubonaabona n’ago ageenyigira mu ntalo n’ebikolwa eby’obukambwe.
“Bannabbi balagula bya bulimba mu linnya lyange. Sibatumye wadde okubalagira wadde okwogera nabo. Okwolesebwa okw’obulimba . . . n’obulimba obuli mu mitima gyabwe bye bababuulira.”—YEREMIYA 14:14.
Yesu yavumirira obunnanfuusi obuli mu madiini.
“Si buli muntu aŋŋamba nti, ‘Mukama wange, Mukama wange,’ y’aliyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala. Bangi abaliŋŋamba ku lunaku luli nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, era ne tukola ebyamagero bingi mu linnya lyo?’ Naye ndibaatulira nti: ‘Sibamanyangako mmwe! Muve we ndi mmwe abajeemu!’”—MATAYO 7:21-23.