Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obusosoze​—Obulina?

Obusosoze​—Obulina?

Obusosoze bulinga akawuka akaleeta obulwadde. Bukosa abo ababulina era bayinza n’obutamanya nti babulina.

Abantu basobola okusosola abalala nga basinziira ku ggwanga lyabwe, langi yabwe, ekika kyabwe, olulimi lwabwe, eddiini yaabwe, ekikula kyabwe, oba embeera yaabwe ey’eby’enfuna. Oluusi abantu baba n’endowooza embi ku balala nga basinziira ku myaka gyabwe, obuyigirize bwabwe, obusobozi bwabwe, oba endabika yaabwe. Wadde kiri kityo, basigala balowooza nti tebaliimu busosoze.

Kyandiba nti olina obusosoze? Bangi ku ffe tusobola okulaba abalala nti balina obusosoze. Naye kiyinza obutatubeerera kyangu kweraba nti tulina obusosoze. Ekituufu kiri nti ffenna tulimu obusosoze mu ngeri emu oba endala. Profesa omu mu mbeera z’abantu ayitibwa David Williams yagamba nti, abantu bwe baba n’endowooza etali nnungi ku bantu ab’ekiti ekimu, bwe basisinkana omuntu agwa mu kiti ekyo, “bamuyisa mu ngeri ya njawulo oluusi ne batakimanya na kukimanya nti bamuyisizza mu ngeri ya njawulo.”

Ng’ekyokulabirako, mu nsi Jovica gy’abeera, waliwo eggwanga erimu ery’abantu eritaagalibwa bantu abasinga obungi mu nsi eyo. Jovica agamba nti: “Nnalinga ndowooza nti tewali muntu wa ggwanga eryo ayinza kuba mulungi. Naye nnali sikimanyi nti obwo bwali busosoze. Nnali mmanyi nti bye nnali ndowooza ku bantu abo byali bituufu.”

Gavumenti nnyingi zissaawo amateeka okulwanyisa obusosoze mu langi n’obusosoze obw’engeri endala. Wadde kiri kityo, obusosoze bweyongera bweyongezi. Lwaki? Kubanga amateeka ago gakugira bukugizi ebyo abantu bye bakola. Naye tegasobola kukugira ndowooza z’abantu na nneewulira zaabwe, ate ng’obusosoze busibuka mu ndowooza z’abantu ne mu mitima gyabwe. Naye ddala kisoboka okumalawo obusosoze?

Ebitundu ebiddako bigenda kulaga ebintu bitaano ebiyambye abantu bangi okweggyamu obusosoze.