Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekifo ekyokeddwa ennyo akasana ekirimu ekimera kimu kyokka.

BEERA BULINDAALA!

Ekyeya eky’Amaanyi—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Ekyeya eky’Amaanyi—Bayibuli Ekyogerako Ki?
  •   “Lipoota okuva mu China eraga nti omwaka guno China ebaddemu ebbugumu eritabangawo, n’ekiseera ekikwata eky’okusatu mu kubeeramu enkuba entono ennyo.”—The Guardian, Ssebutemba 7, 2022.

  •   “Ensi ezimu mu Afirika, zigenda kubaamu ekyeya eky’amaanyi ennyo omwaka ogw’okutaano ogw’omuddiriŋŋanwa.”—UN News, Agusito 26, 2022.

  •   “Ebitundu bibiri bya kusatu ebya Bulaaya byolekedde okubaamu ekyeya eky’amaanyi ennyo ekibadde kitabangawo mu myaka 500.”—BBC News, Agusito 23, 2022.

 Abakugu bangi balabula nti ekyeya eky’engeri eyo kijja kweyongera bweyongezi. Waliwo essuubi lyonna nti embeera eneetereera? Ekyo Bayibuli ekyogerako ki?

Ekyeya n’Obunnabbi bwa Bayibuli

 Bayibuli yalagula nti mu kiseera kyaffe:

  •   “Walibaawo . . . enjala . . . mu bifo ebitali bimu.”Lukka 21:11.

 Emirundi mingi ekyeya kiviirako enjala. Okubonaabona n’okufa ebireetebwa enjala bituukiriza obunnabbi bwa Bayibuli.—Okubikkulirwa 6:6, 8.

Ensonga lwaki ekyeya kyeyongera bweyongezi

 Bayibuli etubuulira ensonga enkulu lwaki ekyeya kyeyongedde nnyo. Egamba nti:

  •   “Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye.”Yeremiya 10:23.

 Ekyo kitegeeza nti abantu ku bwabwe tebasobola ‘kweruŋŋamya.’ Okusalawo okubi abantu kwe bakola oluusi kuviirako ekyeya n’ebbula ly’amazzi.

  •   Bannassaayansi bangi bakkiriza nti ebikolwa by’abantu bye biviiriddeko ebbugumu okweyongera ennyo mu nsi, era ekyo kiviiriddeko ekyeya okweyongera.

  •   Omululu n’enkola za gavumenti embi, biviiriddeko okusaanyaawo ebibira, okwonoonebwa kw’empewo, n’okukozesa obubi eby’obugagga eby’omu butonde. Ekyo kitadde mu kabi emigga n’ennyanja.

 Kyokka Bayibuli etuwa essuubi.

Waliwo essuubi lyonna nti mu maaso embeera eneetereera?

 Bayibuli esuubiza nti Katonda ajja kukola ku kizibu ky’ebbula ly’amazzi. Anaakikolako atya?

  1.  1. Katonda ajja ‘kuzikiriza abo aboonoona ensi.’ (Okubikkulirwa 11:18) Ajja kugonjoola ekizibu ky’ebbula ly’amazzi ng’aggyawo abantu ababi era ab’omululu aboonoona obutonde bw’ensi.—2 Timoseewo 3:1, 2.

  2.  2. “Ettaka ekkalu lirifuuka kidiba kya mazzi.” (Isaaya 35:1, 6, 7) Katonda ajja kuggyawo ebizibu ebireeteddwa ekyeya era afuule ensi olusuku lwa Katonda olulabika obulungi. Mu lusuku lwa Katonda olwo, tejja kubaayo bbula ly’amazzi.

  3.  3. “Olabirira ensi, ogisobozesa okubala ennyo era n’okubaamu eby’obugagga bingi nnyo.” (Zabbuli 65:9) Katonda ajja kuwa ensi omukisa, era buli muntu ajja kuba asobola okufuna emmere ennungi n’amazzi amayonjo.